
For more #Binsangawano click here - https://www.youtube.com/playlist?list... ABAFUMBO abattinganye ku Lwomukaaga baasoose kweroopa ku poliisi. Ensonda mu poliisi zaategeezezza nga abafumbo, Peter Baguma ne Prossy Nayebare bwe baasoose okweroopa ku poliisi ya Kira Road nga Baguma alumiriza mukyalawe Nayebare okumubba laptop ate ye n’amuloopa omusango gw’okumutwalako omwana atali wuwe n’amukweka. Omusango guli ku fayiro 31/02/04/2018. Kigambibwa nti poliisi oluvannyuma lw’okuwuliriza okwemulugunya kw’abafumbo bano yasalawo okubakkakkanya n’esaba Baguma aleete omwana wa Nayebare gwe yali akwese, kyokka nti Baguma n’asaba poliisi okumukkiriza agende ne Nayebare gye yali alese omwana we amumukwase. Ensonda zaategeezezza nti bino byasoose kubaawo Lwamukaaga emisana ng’abafumbo bano tebannatuuka ku mbeera yakwekyawa kwetta. Omu ku baserikale eyategeerako ku nsonga zaabwe ataayagadde kwatuukiriza mannya , yategeezezza nti poliisi oluvannyuma lw’okukkiriziganya ne Baguma, abafumbo baasalawo okugenda mu kibuga Baguma awe Nayebare omwana we. Kigambibwa nti eno gye baava oluvannyuma lwa Baguma okutuuka eyo ate ne yeekyusiza Nayebare n’atamuwa mwana. Nayebare yasalawo n’amwesonyiwa n’agenda e Mpereerwe, kyokka Baguma n’amusanga n’amufumita ekiso ekyamuttiddewo naye ne yetta. Baguma ku Lwokutaano yalese awandiise ekiwandiiko ng’agezaako okunnyonnyola ekyamuleetedde okukola ettemu lino. Mwabaddemu ensonga eziwera okuli; obuswavu eri bakadde b’omuwala obutatuukiriza kye yali yeeyama okugenda gye bali amwanjule so nga ne munne yali ayingiddemu omuze gw’okubaliga. Mu kiwandiiko kino era yasabye aba famire okukkiriza buli mwana anaaleetebwa nti wuwe kubanga abadde na bangi. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigyire yavumiridde ekikolwa kya Baguma kyokka nga bakyagenda mu maaso n’okubuuliriza ku nsonga zino.
Babano ABAFUMBO abattinganye,baasoose kweroopa ku poliisi || BINSANGAWANO - YouTube |
| 18 Likes | 18 Dislikes |
| 3,688 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 12 Apr 2018 |
trending ugandan music 2019
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan artists
trending uganda youtube
trending ugandan celebrity news
trending ugandan entertainment news
trending ugandan hairstyles
trending ugandan movies
trending ugandan videos
trending uganda inside story
trending uganda music 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gossip
trending ugandan gospel music
trending ugandan music this week
trending ugandan music
trending uganda youtube channel
trending ugandan gospel songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét