
Oluyimba luno lwe yatuumye FREEDOM yalufulumizza ku ntandikwa ya wiiki eno era olwamaze okulukolera olutambi (vidiyo), n’alinnya ennyonyi n’agenda e South Afrika okuyimba mu bivvulu bina ebitegekeddwaayo. Nga tannafuluma ggwanga, yalese abawagizi be batandise okulukuba n’okulusaasaanya ku mikutu gya yintaneeti, kyokka egimu ku mikutu gya TV ne leediyo gibadde gitandise okulukuba, abakungu okuva mu bitongole bya Gavumenti ne baluyimiriza nti bakyalwetegereza. Emu ku ttivvi eyakedde okulukuba eggulo, yassiddwaako akazito obutaddamu kulukuba era ensonda mu poliisi zaategeezezza nti ne Bobi Wine bamulinze akomewo okuva e South Afrika bamuyite ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli bamukunye ku bigambo ebirumba Pulezidenti Museveni ne Gavumenti ya NRM bye yataddemu. Eggulo ssentebe w’akakiiko akafuga ebiweerezebwa ku mpewo (UCC), Godfrey Mutabaazi yagambye nti bakyetegereza era bwe banaabifuna obulungi bagenda kuvaayo balangirire mu butongole kyokka n’akubiriza abayimbi okwewala okuyimba ennyimba ezikuma omuliro mu bantu. Ebimu ku bikulu by’atadde mu luyimba luno, bye bifaananyi ebiraga engeri ebitongole bya Gavumenti ebikwasisa amateeka naddala poliisi gye bizze bitulugunya n’okukozesa amaanyi ku bakulembeze ne bannansi mu ngeri etesaana. Ekimu ku bitundu kiraga loodi meeya Erias Lukwago ng’akwatiddwa bubi ebitundu by’ekyama ate n’abamu ku Bannakampala nga bakubwa n’okutikkibwa ku kabangali za poliisi mu ngeri etyoboola eddembe lyabwe. Poliisi ezze eyimiriza omuyimbi Bobi Wine okuyimba mu bivvulu eby’enjawulo ng’egamba nti ayingizaamu ebyobufuzi era gye buvuddeko baamuyise e Kibuli ne bamukunya ku bye yayogerera mu kivvulu kye e Busaabala. For more #Agomumpapula episodes https://www.youtube.com/playlist?list... #Kaweesi #AndrewFelixKaweesi #Uganda #UgandaPolice #Police #TrendingUganda #Trending #ChristineMbabazi #Bobiwine Kamusungusungu, Agomumpapula agajjudde ebisoko, engero n'okugeraageranya. nyumirwa oluganda !! #FrankGashumba #Freedom, #BobiwineFreedom
Bobi wine Gavumenti emutaddeko akazito ku luyimba "FREEDOM" lwe yafulumizza || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 29 Likes | 29 Dislikes |
| 6,718 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 4 Nov 2017 |
trending uganda youtube
trending ugandan gospel songs
trending ugandan songs 2018
trending ugandan gospel music
trending ugandan entertainment news
trending ugandan videos
trending ugandan artists
trending ugandan movies
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music
trending uganda youtube channel
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan celebrity news
trending uganda music 2018
trending ugandan music this week
trending ugandan music 2018
trending uganda inside story
trending ugandan hairstyles
trending ugandan gossip
trending ugandan music 2019
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét