
Stay updated! 🔔 Subscribe Now https://goo.gl/EgnKzy OMUBAKA wa munisipaali y’e Mityana, Francis Zaake Butebi akukkulumidde abasawo b’e Uganda n’ategeeza nti taba kugenda mu Amerika kufuna bujjanjabi yali waakufa mu myezi esatu. Zaake yategeezezza nti oluvannyuma lw’okukubwa omutwe mu palamenti nga September 27, 2017 abasawo abatuula ku kakiiko ka Uganda Medical Board baawandiika ebbaluwa eraga nti agudde eddalu era nga yeetaaga kutwalibwa Butabika ajjanjabwe. Ebbaluwa eno yateekebwako omukono gwa Dr. Nakku ow’eddwaaliro ly’e Butabika. Kyokka ekyamwewuunyisa Zaake bwe yatuusibwa mu Amerika mu bakugu abasingawo, baamutegeeza nti yali waakufa aba kutuusa December nga tannakolwako. Mu kiseera kino wadde yakomawo Olwokutaano lwa wiiki ewedde, awummuddemu kuba akyawulira obulumi mu mutwe. Abasawo mu Amerika baasobodde okugogola kacica yenna eyabadde alegamye mu mutwe n’asobola okukendeeza ku bulumi obwali bumuli obubi. Abasawo mu Amerika baakizuula nga yafuna ‘Traumatic brain injury’ nga buno obulwadde bukwata obwongo singa bubeera bukoseddwa. Dr. David Basangwa, akulira eddwaaliro ly’abalwadde b’emitwe e Butabika yannyonnyodde nti obulwadde buno bukwata ku bwongo nga busobola okuva ku muntu okufuna akabenje oba okulumizibwa okulala. Obulwadde buno era busobola okukwata ku muntu nga buva ku birowoozo ebingi ebiyinza okuva ku nsonga z’omukwano oba endala nga eza bizinensi. Omulwadde ow’ekika kino asobola okufuna obuzibu bw’okweraliikirira n’okutya ennyo. E Butabika bamuwa eddagala awamu n’okumubudaabuda n’asobola okuddamu okutereera. Basangwa yagambye nti omuntu bw’abeera ng’afunye okulumizibwa olw’okukubwa oba okufuna akabenje, abeera alina kutwalibwa mu ddwaaliro nga Mulago n’alongoosebwa. Nga January 18, 2018, Zaake lwe yalagiddwa okuddayo mu ddwaaliro lya Mercy Hospital mu kibuga Minnesota ekya Amerika addemu okwekebejjebwa. Zaake alumiriza nti waaliwo olukwe olwali lukoleddwa kuba n’ebbaluwa okuva mu Uganda Medical Board yalwawo okufuluma. Kyokka ne bwe yafuluma yali tematiza bye yali ennyonnyola, era nga kyamubuukako abasawo mu Amerika okumutegeeza nti aba kuyisaawo emyezi esatu nga tebamukozeeko yali waakufa. Ssente ezaasobye mu bukadde 250 ezaamujjanjabye zaasasuliddwa kitaawe, Emmanuel Sembuusi Butebi n’emikwano. Ekikolwa kye yakola okuggyamu omusipi n’akuba abaserikale abaali balumbye palamenti yakiwolerezza n’agamba nti: “bw’olabanga embeera nga ncankalamu naawe beera mucankalamu. Siri mulalu nti nnyinza okumala gaggyamu musipi ne nkuba abantu abatalina kye bankoze”. Wadde nga Zaake yali asuubizza nga bw’agenda okutalaaga ekitundu ky’akiikirira nga yeebuuza ku balonzi, kyokka akyakiyimirizza asobole okugondera amateeka g’abasawo abaamulagidde asooke awummule. Baamutegeezezza nti obulumi bw’akyawulira busuubirwa okuwona December w’anaggweerako. For more #Agomumpapula episodes https://www.youtube.com/playlist?list... #Kaweesi #AndrewFelixKaweesi #Uganda #UgandaPolice #Police #TrendingUganda #Trending #ChristineMbabazi #Bobiwine Kamusungusungu, Agomumpapula agajjudde ebisoko, engero n'okugeraageranya. nyumirwa oluganda !!
Mbadde waakufa mu myezi esatu - Omubaka Zaake || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 3 Likes | 3 Dislikes |
| 372 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 10 Dec 2017 |
trending uganda youtube channel
trending uganda music 2018
trending ugandan artists
trending uganda youtube
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music this week
trending ugandan celebrity news
trending ugandan gospel music
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
trending ugandan videos
trending uganda inside story
trending ugandan music
trending ugandan music 2019
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music 2018
trending ugandan hairstyles
trending ugandan movies
trending ugandan songs 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét