
EDWARD Kisuze 44, agambibwa okukaka omuwala akaboozi asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road n’asomerwa emisango ebiri n’amusindika e Luzira okutuusa nga May 10. Kisuze eyabadde anekedde mu ssuuti ye enzirugavu, yatuusiddwa ku kkooti mu bugombe bwa poliisi nga balinga abatwala omukungu era ku ssaawa 10:20 ez’akawungeezi, yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi James Eremye Mawanda. Baamusomedde emisango ebiri okuli ogw’okugezaako okusobya ku mukazi n’ogw’okutigaatiga ebitundu by’omukazi ebyekyama. Kigambibwa nti, emisango gino, yagizza nga April 13, 2018 mu ofiisi ye nnamba 507 ku kizimbe kya Senate mu Makerere. Omusango ogusooka baasomye nti, Kisuze yagezaako okunyumya akaboozi ne Njoroge Racheal Njeri nga tafunye lukusa kuva gy’ali. Emisango gyonna, Kisuze yagyegaanyi oludda oluwaabi olwakulembeddwamu Vioal Tusingwire ne lutegeeza kkooti nti, okunoonyereza kwabadde kuwedde. Munnmateeka wa Kisuze, Kenneth Munungu yazze n’abantu bana okuli Jonathan Muyingo, Robert Ssemanda, Stephen Ssemugera mikwano gya Kisuze okuva e Ndejje Mirimu gy’asula ne Dickson Ndaga muganda we bamweyimirire. Omuwaabi wa Gavumenti yategeezezza omulamuzi nti, yabadde alina ebiragiro obutakkiriza kusaba kwa Kisuze okw’okweyimirirwa n’agamba nti betaaga obudde okwekenneenya empapula ezoogera ku bantu abaagala okumweyimirira omulamuzi n’alagira nti kkooti yaakuddamu nga May 10. Mu kkooti n’omuwala Racheal Njoroge Njeri avunaana Kisuze yabaddemu. For more click here - https://www.youtube.com/playlist?list...
Omusomesa agambibwa okukaka omuyizi w'e Makerere akaboozi atuuyanidde mu kaguli || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 8 Likes | 8 Dislikes |
| 2,218 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 5 May 2018 |
trending ugandan music
trending ugandan gossip
trending ugandan music 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music 2019
trending ugandan gospel music
trending ugandan gospel songs
trending ugandan movies
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity news
trending uganda youtube channel
trending uganda inside story
trending uganda youtube
trending ugandan hairstyles
trending ugandan videos
trending ugandan music this week
trending ugandan entertainment news
trending uganda music 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan songs 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét