
KAMPEYINI z’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Arua Munisipaali ekyalimu omugenzi Col. Ibrahim Abiriga zaakomekerezeddwa eggulo ku Mmande n’enkung'aana gaggadde ssatu ezaasannyalaza emirimu mu kibuga kino. Abeesibyewo kuliko; Nusura Tiperu (NRM), Bruce Musema (FDC), Jaffar Alekua (Jeema) Kennedy Madira (DP) n’abatalina bibiina; Kassiano Wadri, Francis Elton Nyero, Sunday Anguandia, Alfred Nyakuni, Jackson Atima, Simon Avutia, Safi Bavuga ne Robert Ejiku. Okuvuganya okw’amaanyi kuli wakati wa Tiperu, Wadri ne Musema. Nga Besigye ne Bobi Wine bazzeemu okwegera eryanyi. Besigye awagira Bruce Musema ate Bobi Wine awagira Kassiano Wadri. Pulezidenti Museveni yakubye olukuhhaana gaggadde mu kibangirizi ekya Arua Boma Ground mu divizoni ya Arua Hill n’asabira Tiperu akalulu nti gw’ajja okukolagana naye nga bwe kyali n’omugenzi Abiriga okukulaakulanya ekitundu. Olukung'aana lwa Pulezidenti Museveni lwetabiddwaako ebikonge bya NRM omwabadde baminisita n’abakulembeze ku kitebe ky’ekibiina bonna nga basabira Tiperu akalulu. Nga Pulezidenti tannakuba lukuhhaana, enkambi ya Tiperu yasoose kubuguma oluvannyuma lwa Swadic Angupale eyawangulwa mu kamyufu ka NRM okulangira nga bwe yeegasse ku Tiperu. Avunaanyizibwa ku by’amawulire mu NRM, Rogers Mulindwa, omumyuka wa Ssaabawandisi wa NRM Richard Todwong baakoze omulimu munene okumatiza Angupale okwerabira enjawukana ezaali mu kamyufu awagire Tiperu, NRM ewangula ab’oludda oluvuganya BESIGYE NE BOBI WINE BAZZEEMU OKWAWUKANA Besigye kampeyini yazikubidde Musema nga yabadde n’ebikonge bya FDC okwabadde Pulezidenti wa FDC, Patrick Amuriat, Ssaabawandisi Nandala Mafabi n’abalala. Omubaka wa Kyaddondo East Sentamu Kyagulanyi ‘Bobi Wine’ ali ku Wadri nga baakubye olukung'aana gaggadde olwetabiddwaako ebikonge okuva ku ludda oluvuganya okuli aba DP n’aba FDC abeewaggudde. Abamu ku ba FDC abeewaggudde kuliko; Maj. Gen. Mugisha Muntu, Paul Mwiru bagamba nti Wadri i alina omukululo mu byobufuzi wa muzinzi era ajja okusobola okugatta oludda oluvuganya mu Palamenti. Bobi Wine yagambye nti wadde Wadri musajjamukulu, yasazeewo okumuwagira kubanga bbo ng’abavubuka abaali mu kaweefube ow’okukyusa obukulembeze, beetaaga abantu abakulu okubabugiriza EBYOKWERINDA BINYWEZEDDWA Poliisi eyongedde abaserikale mu Arua okunyweza obutebenkevu okuzinziira ku mumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Patrick Onyango.
Kampeyini z'e Arua zaawudde Besigye ne Bobi Wine || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 15 Likes | 15 Dislikes |
| 3,563 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 14 Aug 2018 |
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music 2019
trending ugandan music this week
trending uganda inside story
trending ugandan gossip
trending ugandan movies
trending ugandan hairstyles
trending ugandan videos
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube channel
trending ugandan artists
trending ugandan gospel music
trending ugandan gospel songs
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music
trending ugandan songs 2018
trending uganda youtube
trending ugandan celebrity news
trending uganda music 2018
trending ugandan entertainment news
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét