
https://www.youtube.com/playlist?list... FDC erangiridde ‘olutalo’ oluzingiramu okusaba essaala n’okwekalakaasa nga bawakanya eby’okukyusa Konsityusoni okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kye balumiriza nti kigenderera kulemeza Pulezidenti Museveni mu buyinza okutuusa lw’alifa. Basabye bannaddiini okuli ne Paapa okuvaayo okwogera ku nsonga zino ne basuubiza n’okukolagana n’ebibiina by’obufuzi ebivuganya gavumenti okuli DP n’aba NRM abakiwakanya okulaba nga Konsityusoni tekyusibwa. Ebikonge by’ekibiina okwabadde Ssabawandiisi Nandala Mafabi,akolanga pulezidenti Alice Alaso ne ssentebe wakyo Wasswa Biriggwa bino be baabitegeezezza bannamawulire e Najjanankumbi mu Kampala. Era ne boogerera Pulezidenti Museveni amafukuule nga bamugerageranya n’eyali Pulezidenti Idi Amin eyerangirira nti yali agenda kuba Pulezidenti okutuusa okufa. Alaso yategeezezza nti ekibiina kigenda kuddamu essaala eza buli wiiki ez’okusabira eggwanga okulaba nga Konsityusoni tekyusibwa. N’agamba nti ekibiina kigenda kutalaaga eggwanga nga kikunga abantu okulwanyisa eby’okukyusa Konsityusoni okuggyamu akawayiro 102 (b) akaggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. Nandala Mafabi yagambye nti Lwokuna bagenda kwekunga beekalaase nga batwala ekiwandiiko mu palamenti nga bawakanya eby’okukyusa akawayiro kano. Ate Biriggwa n’agamba nti okukyusa akawayiro kujja kuleetawo okuyiwa omusaayi mu ggwanga. ‘’Tusaba bannaddiini okuli abalabirizi, abasumba ba Klezia ne Paapa okutwegatako okulwanyisa ekikolwa ky’okukyusa Konsityusoni’’ Mafabi bwe yagambye. Biriggwa yalangidde ababaka ba palamenti abawagira okukyusa Konsityusoni nti balina omulugube ogubaletera okulowooza ku kukkusa embuto zaabwe. Ate Mafabi n’agamba nti abamu ku bawagira bino ‘’akawunti’’ zaabwe mu bbanka ‘’nkalu’’ nga bwavu bwe bubakoza bino. Abamu ku babaka ba NRM bategeka okuleeta ekiteeso nga basaba sipiika olukusa abakkirize okuleeta ebbago ly’etteeka ly’okukyusa Konsityusoni baggyemu ekkomo ku myaka gy’obukuku 75 eyagala obwa Pulezidenti gy’alina okukomako.
TOGIKWATAKO - ebyokuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti || Ebibadewo mu Ggwanga - YouTube |
| 6 Likes | 6 Dislikes |
| 1,496 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 19 Sep 2017 |
trending ugandan celebrity news
trending ugandan songs 2018
trending ugandan gossip
trending ugandan videos
trending uganda inside story
trending uganda youtube
trending uganda youtube channel
trending ugandan music 2019
trending ugandan artists
trending ugandan music this week
trending uganda music 2018
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gospel music
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music
trending ugandan movies
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét