
OMUSERIKALE PPC John Byamugisha abadde akolera ku poliisi ya Wellspring e Bweyogerere, anywedde omwenge n'amala n'akuba omwana amasasi agamuttiddewo. Bino byabaddewo essaawa 6:00 ez'ekiro bwe yakubye John Opio 22, eyali asomera ku Jorum High School e Kabalagala S6 amasasi asatu kyokka olwamaze n'asuulawo emmundu n'adduka. Julius Okello muganda wa Opio yategeezezzza nti yasoose kuwulira ssasi n'atafaayo kyokka yagenze okuwulira n'eryokubiri n'eryokusatu. "Oluvannyuma nafulmye wabweru ng'oluyoogaano lweyongera ng'ate bwe mpulira abogera ku linnya John. "Bwe nnatuuseewo nga muganda wange Opio y'ali mu kitaba ky'omussayi. Yansabye mutwale mu ddwaaliro era wano we naggyiddemu essaati ne musiba olubuto olw'ebyenda ebyabadde bivuddeyo." Okello bwe yategeezezza Bukedde. Baamusoosezza mu ddwaaliro l'omu Ggwattiro abaamulemereddwa ne bamusindika e Mulago kyokka teyawonye. Oluvannyuma abatuuze baakubidde atwala poliisi y'e Bweyogerere, Karim Magid n'atuuka awaabadde obuzibu n'aggyawo emmundu n'anoonya ne Byamugisha n'amutwala n'amusibira ku poliisi e Kira. Omulambo gwatwaliddwa okuziikibwa e Masindi Buliisa. Abatuuze oluvannyuma baagenze ewa Byamugisha gy'abadde asula ne batikka ebitundu bye byonna ne babitwala ku poliisi.
Owa poliisi atamidde n'akuba omuyizi essasi n'amutta || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 5 Likes | 5 Dislikes |
| 1,907 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 27 Apr 2018 |
trending ugandan music this week
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube
trending ugandan hairstyles
trending ugandan gospel music
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2019
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda youtube channel
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music 2018
trending uganda music 2018
trending ugandan artists
trending ugandan gossip
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan videos
trending uganda inside story
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét