
OMUVUBUKA Brian Isiko eyali akwana omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Kabarole Sylvia Rwaboogo ayaniriziddwa nga muzira ne bamuwaana okuteeka ekyalo kyabwe eky’ e Nsube mu disitulikiti y’e Jinja gy’azaalwa ku maapu. Zibadde ssawa 11:00 n’atuuka wakati mu nnamuttikwa w’enkuba ng’ali mu mmotoka ekika kya Super Custom nnamba UAJ 797J olwo abooluganda n’abatuuze abaabadde bamulindiridde ne bamwaniriza wakati mu mizira n’enduulu. Yabadde ne maama we Rachael Nakuya n’abehhaanda nga baatuukidde mu maka ga mukulu wa kitaawe Matende gye bategese emikolo. Emikolo gitandise n’okusaba era omusumba Henry Mudhungu aw’Ekkanisa y’Abadiventi e Nsuube ye yakulembedde okusaba kuno. Yasabye abavubuka okuwa abantu ababasinga emyaka ebitiibwa. Ate ssentebe wa LC1, Stephen Nsagala ye olusituse okwogera awaanye Isiko okuteeka ekyalo kyabwe ku maapu. Agambye nti buli kintu ekibadde kigenda mu maaso ku Isiko nga kigenda butereevu ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo ne yintaneeti. “Kati ne Isiko sereebu! Isiko akulidde ku kyalo kino era tumumanyi nga omusajja omukakkamu, taata wabwe yabalekawo era maama waabwe y’atobye nabo”, Nsagala bwe yagambye. Yagambye nti osanga ekyamusikirizza okukwana omubaka y’embeera y’obwavu ey’okweyiiya gye balimu. Yagambye nti yadde byamuviiramu okusibwa, tebaviiriddeemu awo ng’abatuuze kubanga ekyalo kyabwe akitunze nga kati omuntu yenna bw’abuuza Nsuube bamanyi waliyo Isiko eyasibibwa olw’okukwana omubaka wa Palamenti. Asabye ebitongole eby’enjawulo ebibadde bimulwanirira okugenda mu maaso n’okumukwasizaako asobole okutuukiriza ekirooto kye eky’okubeera omubalirizi w’ebitabo. Ate maama we Nakuya yeebazizza famire ya Bukedde, omubaka Mariam Naigaga (mukazi) owa disitulikiti y’e Namutumba ebitongole ebirwanirizi by’eddembe abooluganda n’emikwano abamuyambyeko okulaba nga mutabani we ava mu kkomera. Ye Isiko talina kintu kyonna kye yayogedde. For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥
Brian Isiko Eyakwana MP Sylvia Rwabwogo afuuse Celebrity || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 7 Likes | 7 Dislikes |
| 2,048 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 6 Aug 2018 |
trending ugandan videos
trending ugandan music 2018
trending ugandan gossip
trending ugandan music this week
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music 2019
trending ugandan entertainment news
trending ugandan mp3 songs
trending uganda music 2018
trending uganda inside story
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music
trending ugandan artists
trending uganda youtube channel
trending ugandan hairstyles
trending uganda youtube
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gospel music
trending ugandan movies
trending ugandan songs 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét