
PULEZIDENTI Museveni agugumbudde abalamuzi ku nsala yaabwe mwe baasaliddewo okusuuza ababaka eky’emyaka omusanvu gye baabadde beeyongezza n’agamba: “Abalamuzi ssi be bafuga ensi eno..., oba weebali oba tebaliiwo Uganda ejja kugenda mu maaso.” Museveni yagambye nti ababaka ba Palamenti singa baali bagendera ku magezi g’aludde ng’abawa, okwenywereza mu balonzi, eby’okukyusakyusa mu Konsitityusoni byandibadde byanguwa kubanga byandikoleddwa Palamenti ng’eri wamu n’abantu, olwo Abalamuzi ne basigala mu bbanga. Bino biri mu bubaka bwa Pulezidenti Museveni bwe yawadde ku nsala Abalamuzi gye baawadde ku Lwokuna mwe baasaliddewo nti kyali kikyamu era kimenya Konsitityusoni ababaka okweyongeza ekisanja okuva ku myaka 5 okudda ku 7 kyokka ne bakkiriza okuggyawo ekkomo ery’emyaka 75 ku muntu ayagala okwesimbawo ku bwapulezidenti. Mu ngeri eteri yaabulijjo, Museveni obubaka buno yabuwandiise nga mu kifo ky’erinnya lye yataddeko nti “By Ssaabalwanyi in South Africa”, ekitegeeza nti bwawandiikiddwa Ssaabalwanyi ng’asinziira e South Afrika. Yagambye nti abalamuzi bandifunye eky’okuyiga ku ngeri NRM gye yeeriisizza enkuuli mu kulonda kwa LC1 ne II ekiraga obuganzi. Abalamuzi, Museveni yabalumbye nti bava nnyo ku mulamwa mu kifo ky’okutunuulira ensonga ez’okukyusa mu Konsitityusoni, baawabye ne badda mu kwesiba ku ‘ngeri ki’ kye yagambye nti ye ng’omulwanirizi w’eddembe okwo kubeera kubula. Ku byavdde mu kalulu k’e Bugiri ne Munisipaali endala yayozaayozezza NRM okuwangulira waggulu kyokka n’agugumbula Bannabyabufuzi be yayise abataliimu nsa abeesibye ku byobufuzi eby’okusosola mu madiini n’amawanga. For more click here - https://www.youtube.com/playlist?list...
Museveni atabukidde abalamuzi abaasuzizza ababaka eky'emyaka 7 || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 4 Likes | 4 Dislikes |
| 344 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 31 Jul 2018 |
trending uganda youtube
trending ugandan gospel music
trending uganda music 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan hairstyles
trending ugandan movies
trending uganda inside story
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music 2019
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan videos
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
trending ugandan music this week
trending ugandan artists
trending ugandan music
trending ugandan songs 2018
trending uganda youtube channel
trending ugandan entertainment news
trending ugandan celebrity news
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét