
OMUBAKA Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) olwamaze okulayizibwa n’alinnuya ennyonyi emututte e Turkey okubaako emirimu gy’akola. Bobi agenze ne mukyala we era basuubira okuyitirako mu Amerika gy’asuubira okusisinkana mikwano gye abeeko by’asakira ab’e Kyaddondo East abaamulonze okubakiikirira. Bobi Wine bwe yabadde mu bikujjuko by’okuwangula akalulu kano ebyabadde ku Ssaza e Kasangati, yeeyamye okukolagana ne banne be yawangula mu kalulu k’omubaka wa Kyaddondo East. Yabadde ku bikujjuko oluvannyuma lw’okulayizibwa ebyabadde ku kisaawe ky’eggombolola y’e Kasangati ku Ssaza ku Lwokubiri. Okukakasa bino, ababiri ku be yavuganya nabo, okwabadde Sowedi Kayongo ne mu bikujjuko bino era ne balinnya ne ku siteegi okuyozaayoza Bobi Wine. Muwada bwe yaweereddwa akazindaalo yagambye nti; “ Eno essaawa ya kukola, si ya njawukana ate okuva lwe nakizuula nti ebigendererwa bya Kyagulanyi bye bimu n’ebyange nasalawo obutagenda mu maaso na kuwawaabira akakiiko k’ebyokulonda olwa vvulugu eyalimu.” Ate Sowedi Kayongo yagambye nti tasobola kuwakanya byava mu kulonda wabula n’asaba Kyagulanyi amwebuuzengako kubanga amusinga mu myaka. Bobi Wine yatuuse ku Ssaze ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi, wabula kyamutwalidde eddakiika 50 okuva ku geeti okutuuka awaabadde weema mwe yabadde alina okutuula olw’abantu abangi abaabadde bamulindiridde nga bwe bamuyozaayoza. Mu weema yayaniriziddwa bannabyabufuzi omwabadde mubaka Micheal Kabaziguruka (Nakawa), Meeya w’e Kasangati, Tonny Ssempeebwa, Sowedi Kayongo, Meeya Charles Sserunjogi (Kampala Central) n’abalala.
Bobi Wine afunye ddiiru e Turkey, Massa ne muganzi we babakubye amasasi - AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 17 Likes | 17 Dislikes |
| 5,177 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 14 Jul 2017 |
trending ugandan gospel music
trending ugandan gossip
trending ugandan artists
trending ugandan music
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan entertainment news
trending ugandan videos
trending ugandan music 2018
trending ugandan music 2019
trending ugandan music this week
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda music 2018
trending ugandan hairstyles
trending uganda inside story
trending uganda youtube
trending ugandan celebrity news
trending ugandan movies
trending ugandan songs 2018
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube channel
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét