
AB'EBYOKWERINDA e South Africa bakutte omusajja Agaba omu ku bateeberezebwa okwenyigira mu kuwamba n’okutta Susan Magara. Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, Gavumenti ya wano bwe yafunye amawulire g’okukwatibwa kwa Agaba, n’esindika abasirikale e South Africa okulaba engeri Agaba gy'azzibwa mu Uganda ku by’okuttibwa kwa Magara. Kigambibwa nti, Agaba amanyi bulungi famire ya Magara era kino yakyeyambisa okukolagana n’abatemu abaawamba n’okutta omugenzi. Ab’omu famire ya Magara balumiriza nti, eddoboozi eryali mu butambi obw’enjawulo obwali busaba ssente n’okulagirira abazadde we baasuula akaveera akaalimu engalo z’omugenzi lyali lya musajja ono Agaba. Omulambo gwa Magara gwazuulwa nga February 24, 2018, enkeera waalyo Agaba lwe yalinnya ennyonyi n’agenda e South Africa okusinziira ku biwandiiko ebyafuniddwa. Agaba ono yali amaze ebbanga ng’abeera South Africa oluvannyuma lw’okudduka mu Uganda ng’amaze okuzza emisango omwali n’okuwamba omuwala omu. Kyokka ensonda mu poliisi zaategeezezza nti wakyaliwo obuzibu okuzza Agaba mu Uganda kubanga amawanga g’ombi South Africa ne Uganda tegalina ndagaano ya kuwaanyisiganya basibe noolwekyo enteeseganya ziyinza okutwala akabanga akawerako okusobola okuzza omusajja ono mu Uganda. Wabula ensonda mu poliisi zaagaanyi okunnyonnyola engeri Agaba gye yatwatiddwaamu n’okwogera ekkomera mw'akuumirwa mu kiseera kino nga bagamba nti, kiyinza okutaataaganya enteeseganya ezigenda mu maaso okuzza Agaba mu Uganda. Omulimu omutuufu Agaba gw'akola e South Africa tegumanyiddwa kyokka abadde atera okukomawo mu Uganda ng’abeera mu bulamu bwa kuyiwaayiwa ssente omuli okucakalira mu bifo eby’ebbeeyi n’okuvuga mmotoka okuli amannya ge.
Pato Patrick Agaba eyali mu lukwe okutta Susan Magara bamukwatidde South Africa || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 60 Likes | 60 Dislikes |
| 21,543 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 16 Mar 2018 |
trending uganda inside story
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity news
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music 2018
trending ugandan music
trending ugandan music 2019
trending ugandan music this week
trending ugandan videos
trending uganda youtube
trending uganda music 2018
trending ugandan gossip
trending ugandan hairstyles
trending ugandan songs 2018
trending uganda youtube channel
trending ugandan entertainment news
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gospel music
trending ugandan mp3 songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét