
AMAGYE gaazizza amaka ga Gen. Kale Kayihura ag’e Muyenga omulundi ogwokuna okuva lwe yakwatibwa nga June 13, 2018 ku faamu ye ku kyalo Katebe mu Ggombolola y’e Kasagama mu disitulikiti y’e Lyantonde. Okuva lwe yakwatibwa, kati ennaku 26 eziyise, amagye gazze gaaza ennyumba ya Kayihura okubaako ebintu bye gazuula ebitali bimu. Omulundi ogwasembayo, baasangayo ekyuma ekirumika essimu ekiteeberezebwa nti yali akyeyambisa okulumika amasimu g’abazzi b’emisango abaamaanyi. Ku Lwokutaano akawungeezi, amagye okwabadde bambega ba ISO, CMI n’eggye erikuuma Pulezidenti (SFC) baatutte Kayihura mu maka ge ne baddamu okugafuuza okubaako bye bazuula. Emirundi egyasooka, Kayihura teyaliiko nga bagaaza era okusinziira ku nsonda, waliwo ebintu bye bataasobola kwekebejja bulungi n’ebimu bye baasangayo, tebaabiggyaayo olw’ensonga tewaaliwo muntu asobola kuteeka mukono ku biwandiiko bikakasa nti bitwaliddwa kuva mu maka ga Kayihura. Kino, kiddiridde amagye okulumba ekifo aba MTN we batereka likodi z’amasimu ne baggyayo ebyuma bina ku Mmande ya wiiki ewedde okuteeberezebwa nti, kwe kuli likodi z’amasimu boofi isa ba poliisi ge baakuba ku lunaku lwe batta Kaweesi. Kigambibwa nti, amasimu ga boofi isa ba poliisi babiri n’eya Kaweesi gaasiimuulwa byonna ebyali bigoogereddwaako nga March 16 ne 17, 2017 era amagye okulumba ekifo kya MTN, gaabadde gateebereza nti, waliwo bwino gwe baabadde basobola okufuna okuva ku byuma bino. Kyokka, waabaddewo n’ebigambibwa nti, amagye gaabadde ganoonya bwino ku by’okukumpanya emisolo oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okutegeeza nti, amakampuni g’amasimu galina engeri gye geebalamamu emisolo. Ensonda zigamba nti, mu bimu ku bintu bye baggye ku MTN, baakizudde nga kyetaagisa okuddayo ewa Kayihura okwaza amaka ge. Okuddamu okwaza amaka ge, kyakoleddwa mu ngeri ya bwegendereza era baasoose kuggyawo bantu bonna okuli n’abaserikale ababadde bakuuma amaka gano ne babaako we babatwala oluvannyuma Kayihura ne bamuyingiza, okwaza ne kutandika. Kyatutte ebbanga eriwerako era okusinziira ku nsonda, baavuddeyo mu matumbi budde kyokka tekyategeerekese oba bye baabadde beetaaga baabizudde. For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥
AMAGYE gaazizza amaka ga Kayihura ag’e Muyenga omulundi ogwokuna || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 6 Likes | 6 Dislikes |
| 2,878 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 9 Jul 2018 |
trending uganda youtube channel
trending ugandan gospel music
trending ugandan gospel songs
trending ugandan celebrity news
trending ugandan entertainment news
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan hairstyles
trending uganda youtube
trending uganda music 2018
trending ugandan artists
trending ugandan music 2018
trending ugandan music 2019
trending ugandan songs 2018
trending ugandan movies
trending ugandan videos
trending ugandan gossip
trending uganda inside story
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music this week
trending ugandan music
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét