
FAMIRE ya Bobi Wine erumirizza poliisi nti eri mu kkobaane okupanga ebizibiti by’emmundu n’ekigendererwa eky’okussa emisango gy’okulya mu nsi olukwe ku muntu waabwe. Baagambye nti beewuunyizza okulaba poliisi ng’eyanjula ebizibiti okuli emmundu ebbiri ez’ekika kya SMG, poliisi z’egamba nti yazikwatidde mu kisenge kya Bobi Wine ku Pacifi c Hotel mu kibuga Arua. Eddie Yawe mukulu wa Bobi Wine yagambye nti, kino poliisi yakikoze okupanga omusango gw’okulya mu nsi olukwe ku mubaka Robert Kyagulanyi. Yawe yagambye nti: Bobi Wine takwatanga ku mmundu, tamanyi na bwe bagikuba era okumusibako emmundu ebbiri, bujulizi bwa nkukunala nti Gavumenti eyagala kumusibako musango omunene oguyinza n’okumutwaza mu kkomera okumala ebbanga eriwerako. Baagambye nti ebizibiti ebyogerwako byalagiddwa bannamawulire nga wayise ennaku bbiri bukya akwatibwa era baabadde n’obudde bwonna okutegeka ebizibiti byabwe. Yabuuzizza nti: wooteeri agatali maka ga muntu, oyinza kumatiza otya omuntu nti ebizibiti by’oleese ku Lwokusatu (eggulo) bya kasitoma eyali mu wooteeri ku Mmande? Yawagiddwa Barbie eyagambye nti ebyo bipange tebayinza kubikkiriza. Aba famire baasoose mu lukiiko lwa bannamawulire eggulo ku makya ku Ssemakookiro Plaza ne bategeeza nti, okusinziira ku mawulire ge bafuna, Kyagulanyi ne banne abalala bwe baakwatiddwa okuli n’ababaka ba palamenti Zaake Butebi, Paul Mwiru, Gerald Karuhanga n’abalala baatulugunyiziddwa ekisusse era baagala Gavumenti ebabawe babajjanjabe. Olukuççaana luno lwabaddemu aba famire ya Kyagulanyi abaakulembeddwa baganda be, Fred Nyanzi, Eddie Yawe, Stephen Ssentamu ne mukyala we Barbie Itungo Kyagulanyi. Lwabaddemu n’abeemikwano naddala abayimbi b’ekibiina kya Fire Base, bakyala baabwe ne bazadde ba Kyagulanyi okuva ku ludda lw’ebukojja ne munnamateeka we Andrew Karamagi. Baawadde essaawa 48 zokka Gavumenti okuyimbula Kyagulanyi bwe kigaana, bagenda mu kkooti ebawalirize okumuta awatali kakwakkulizo konna. For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥 #Museveni, #Bobiwine,#Arua #PeoplePower_OurPower, #PeoplePowerOurPower, #KassianoWadri,#Chameleone, #Museveni, #bebecool,#Bobiwine, #Trending, #TrendingUganda, #Gossip, #Wolokoso, #Olugambo, #News, #Politics, #Uganda, #Kampala,#Arua
Barbie Kyagulanyi muka Bobi wine arumirizza police ne Gavumenti okupanga obujulizi || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 86 Likes | 86 Dislikes |
| 21,031 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 16 Aug 2018 |
trending ugandan videos
trending ugandan movies
trending uganda youtube
trending ugandan artists
trending ugandan gospel music
trending ugandan music 2018
trending ugandan gospel songs
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music
trending ugandan gossip
trending ugandan songs 2018
trending ugandan celebrity news
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan mp3 songs
trending uganda youtube channel
trending ugandan entertainment news
trending uganda music 2018
trending uganda inside story
trending ugandan music 2019
trending ugandan music this week
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét