
GEN. Kale Kayihura w’ateredde poliisi ng’eri mu kattu olw’obutaba na ssente zimala okuddukanya emirimu gyayo. Kino kireetedde poliisi okubeera n’abaserikale abatono mu bitundu omuli abantu abangi n’obutaba na baserikale mu bitundu ebimu. Etteeka lya ‘Police Principal Act 2014’, liragira buli kitundu ekirimu abantu abasoba mu 500, okubeera ne ofiisi ya poliisi ey’etongodde erimu boofiisa abakola ku butujju, eby’amaka, omuliro n’ebirala. Emisango Emisango 159,663, poliisi ekyaginoonyerezaako ng’egimu ku gikyagaanyi okuggwa kiyinza okuba nga giva ku baserikale okuba abatono, ebbula lya ssente ng’abaserikale bali 40,352 tebasobola kumala obukadde bwa Bannayuganda 60,000 b’erina mu ggwanga Ssente za poliisi Wadde nga Gen. Katumba Wamala we yakwasizza Kayihura ofiisi mu 2005, poliisi yali efuna obuwumbi 84 n’obukadde 600 nga kati zaalinnya okutuuka ku buwumbi 540, kyokka nga zikyali ntono bw’ozigeraageraanya n’okusoomooza okuliwo. Ekitebe kya bambega ekikulu e Kibuli kifuna ssente ng’ate emisango gye kikolako giba minene nga girimu obutitimbe bwa ssente. Anoonyereza ku musango ogwa ssente ennyingi yandibadde aweebwa ensako nnenne n’ayongera ku musaala gw’afuna kuba owa poliisi asookerwako afuna 360,000/- buli omwezi. Enguzi Emisaala emitono egisasulwa abaserikale abakola ku misango egy’amaanyi kiyinza okubanga kye kibaleetedde okulya enguzi. Wadde abantu abamu bagamba nti omuntu eyalayira okukola omulimu yandibadde agutuukiriza awatali kwekwasa nsonga yonna. Mu lukiiko olugatta poliisi n’abakulembeze b’ebyalo olwatuula ku ttendekero lya St Peter’s Technical Institute e Mubende mu 2017, Kayihura yakkiriza okusoomooza okuliwo na ddala ku nguzi nti ne bw’anaaba aggyiddwa ku buduumizi bwa poliisi si kyanguenguzi okuggwaawo okuggyaako ng’abagiwa abapoliisi balekedde awo. Embeera Yunifoomu abaserikale bazziddamu olw’okubulwa obudde obuzooza nga ssente entono zibasuza mu kanyigo wadde Kayihura alese aluse pulojekiti ey’okuzimba amayumba 10,000. Enkuba bw’etonnya ejjula okubatwala nga kino kyalabika ku poliisi y’e Nateete enkuba bwe yatonnya ebyambalo by’abajaasi n’ebitwala kumpi kutwaliramu n’emmundu. Bakyala ba bapoliisi gye buvuddeko baagaaniddwa okukola obuduuka mu baalakisi okuli Nsambya, Naguru ne Ntinda obubaddenga bubayamba okufuna akasente nga poliisi egamba nti baali bakozesa ebintu bya poliisi naddala amasannyalaze.
GEN. Kale Kayihura Poliisi agirese mu kattu || BINSANGAWANO - YouTube |
| 5 Likes | 5 Dislikes |
| 1,062 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 16 Mar 2018 |
trending ugandan songs 2018
trending ugandan videos
trending ugandan entertainment news
trending uganda inside story
trending uganda youtube
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gospel music
trending ugandan music 2018
trending ugandan hairstyles
trending ugandan gossip
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music 2019
trending ugandan music
trending ugandan artists
trending uganda music 2018
trending ugandan music this week
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube channel
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity gossip
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét