
ABALAMUZI basatu aba kkooti enkulu mu Kampala, bawadde ensala yaabwe mu misango egibadde givunaanibwa Sheikh Yunous Kamoga eyali akulira Abatabbuliiki mu Uganga ne banne 13 n’ebamusingisaako gumu gwokka. Kamoga ne banne 5 okuli abdul Salam Ssekayanja, Murtad Bukenya, Siraje Kawooya, abdul Hamid Ssematimba ne Yusufu Kakande baabasingisizza omusango gw’obutujju ne babejeereza ku misango gy’okutemula Sheikh Hassan Kirya, Sheikh Mustapha Bahiga n’okugezaako okutta Sheikh Haruna Jjemba. Ate abalala munaana bebabadde bavunaanibwa nabo okuli; Musa Isa Mubiru, Twaha Ssekitto, Hamza Kasirye, Fahad Karungi, Hakim Kinene, Amir Kinene, George William Yiga ne Rashid Jjingo, bejjeerezeddwa era abalamuzi nebabategeeza nti tebalina musango gwonna. Munnamateeka waabwe, Mcdusman Kabega asabye abalamuzi nti engeri kkooti gyeyejeerezza abantube, babamuwe agende nabo era omu ku balamuzi n'amutegeeza nti waddembe okubatwala kyokka n’asaba n’ebintu by’ababiri ebyakwatibwa bibaweebwe ekitasobose mu budde obwo. Abasiraamu babadde bayitirivu ku kkooti nga balina essuubi nti eyali mukama waabwe bagenda kuddayo naye oba olyawo bamukolereyo akabaga wabula tekisobose era bannamateeka ababadde bawolereza Kamoga ne banne abataano, ababadde bakulembeddwa Fred Muwema, basigadde beetala ku kkooti nga banoonya kyebazaako. Okusinziira ku ngeri Abasiraamu gye babadde baagalamu obuwanguzi mu musango guno, n’esswala ezisinga bazisaalidde ku kkooti. Eby’okwerinda bibadde by’amaanyi nnyo abaserikale ababuli kkala nga beetala okuva kuno nga badda kuli nga bwebakutte emmundu ennene eziriko n’enjegere z’amasasi wamma ng’oyinza okugamba nti luno lutalo lwennyini.
Kamoga ne banne 5 babasingisizza ogw'obutujju - AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 8 Likes | 8 Dislikes |
| 1,216 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 22 Aug 2017 |
trending ugandan gossip
trending ugandan music this week
trending ugandan movies
trending ugandan gospel songs
trending uganda inside story
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music
trending uganda youtube
trending ugandan music 2019
trending ugandan gospel music
trending ugandan videos
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity news
trending uganda youtube channel
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda music 2018
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2018
trending ugandan mp3 songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét