
BUKYA bbiici ya Bobi Wine eya One Love e Busaabala eggulwawo mu December wa 2009 temalangako kivvulu ku ssaawa 6:00 ez’ekiro era essaawa ezo Busaabala abeera atandika butandisi okutaba wabula poliisi egitaddeko akakwakkulizo ak’obutasussa ssaawa 6:00 ez’ekiro. Obukwakkulizo ku kivvulu ky’e Busaabala buddiridde poliisi okuyimiriza ebivvulu bya Bobi Wine e Kamuli, Mbale kw’ossa enkuhhaana ze yabadde alina okubeeramu mu bukiikakkono ne Kasese. Mu kivvulu kya Bobi Wine ekya Specioza ku Ssande, okuwera ssaawa 6:00 ebyuma byonna birina okuba nga bivuddeko abantu nga batandise okufuluma. Olwa kkampeyini eziwakanya emyaka ezaakazibwako ‘Togikwatako’, Bobi Wine ng’amannya ge amatuufu ye Robert Kyagulanyi era omubaka wa Kyaddondo East z’azze yeetabamu n’okutambuza ebivvulu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’ayogererayo ebyobufuzi ng’ali ne bannabyabufuzi abalala, poliisi era egaanyi munnabyabufuzi yenna okwetaba mu kivvulu kino. Kyokka yakkirizza Bobi Wine okubeerayo wadde naye munnabyabufuzi wabula naye n’emussaako akakwakkulizo akaamulumye ennyo. Talina kwogera kintu kyonna kya byabufuzi okuggyako okuyimba enyimba ze adde e Magere. Poliisi yamusuubizza okumuwa ebyokwerinda, ekifo kye n’abanaagendayo kyokka nga kino kitegeeza nti, tebajja kukkiriza banaayambala buwero bumyufu obulaga kkampeyini ya ‘Togikwatako’ abawakanya okukwata ku ssemateeka okukyusa ennyingo 102(b) okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti era poliisi ya kubeera ku mulyango. Bannabyabufuzi n’abalimu olw’ebyobufuzi si baakuyingira ne Bobi Wine baamulagidde obutayimba nnyimba zirimu byabufuzi. DPC wa poliisi y’e Katwe, Frantile Lwamusaayi ye yakulembedde olukiiko olwatudde ku bbiici eyo ku Lwokusatu ne lumuwa amateeka ago. Poliisi yategeezezza nti ekivvulu ekyo kibadde kitegekeddwa n’ekigendererwa ky’okukunga abantu abawakanye eky’okuggyawo ekkomo ku myaka. Mu kuyimiriza ekivvulu ky’e Kamuli, poliisi yayuzizza n’ebipande ebiranga Bobi Wine era ne bategeeza nti, kyabadde kitegekeddwa ng’abategesi tebagoberedde mateeka agafuga enkungaana (Public Order Management Act) ate bannabyabufuzi abawakanya ebbago ly’ekkomo ku myaka baabadde bategese okujja mu kivvulu ekyo bakunge abantu. Ekivvulu ky’e Kamuli kibadde kyakubeerawo wiiki ejja nga October 20, kyokka Bobi Wine akyalemeddeko nti, waakugendayo kubanga baagoberera amateeka nga bakitegeka era alumiriza poliisi nti y’ekola ebitali mu mateeka ng’etimbula ebipande bye. Ekivvulu kibadde kirina kubeera mu kisaawe ky’e Kamuli.
Poliisi etadewo obukwakkulizo obukakali ku kivvulu kya Bobi Wine || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 2 Likes | 2 Dislikes |
| 1,247 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 13 Oct 2017 |
trending ugandan music 2018
trending ugandan songs 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan hairstyles
trending ugandan celebrity news
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gossip
trending ugandan gospel music
trending uganda inside story
trending ugandan movies
trending ugandan artists
trending ugandan videos
trending uganda youtube channel
trending uganda music 2018
trending ugandan music
trending uganda youtube
trending ugandan music 2019
trending ugandan music this week
trending ugandan entertainment news
trending ugandan gospel songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét