
ABDALLAH Kitatta bamuvunaanye emisango etaano mu kkooti y’amagye. Emisango ena ekibonerezo kyagyo kya kuwanikibwa ku kalabba ate omusango omulala kusibwa mayisa. Amagye okumuvunaana kisaabuludde entegeka za poliisi okuleka Kitatta ebweru ku misango gy’okutemula Francis Ekalungar eyali omubazi w’ebitabo mu Case Hospital. Poliisi yabadde etegeezezza nti egenda kuvunaana abantu munaana kyokka nga Kitatta taliiko kubanga tebafunye bujulizi bumulumiriza butereevu mu by’okutta Ekalungar. Kyokka eggulo, kkooti y’amagye esookerwako eya Unit Disciplinary Court etuula ku kitebe ky’amagye ekikessi ekya CMI, yatudde ng’ekulirwa Col. Tom Kabuye. Kitatta eyalabise nga munakuwavu baamusomedde emisango okuli ogw’okusangibwa n’ebintu by’amagye okuli emmundu n’ebirala ebikozesebwa mu lutalo. Oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebintu ebyo, Kitatta ne banne baabadde balina kuvunaanibwa mu kkooti y’amagye. Kyategeezeddwa nti amagye oluvannyuma lw’okukwata Kitatta ne banne nga January 20, gaayaza ewa Kitatta ne mu ofiisi za Bodaboda 2010 ne basangayo ebijambiya, emmundu bbiri, ebyambalo by’amagye n’ebissi ebirala. Oluvannyuma, Omumyuka w’omwogezi w’amagye Lt Col Deo Akiiki yategeezezza nti Kitatta baamukutte n’emmundu ssatu okuli ennene SMG ng’eriko ennamba UE4467/1998 ne pisito bbiri. Pisito emu nnamba UGAOL00753421813 n’endala nnamba GEPOIDES2008. Era baasanzeeyo amasasi 30 nga tegali mu mmundu. Okwo gattako ebintu by’amagye ebirala. Amagye gaategeezezza nti emisango gijja kulambululwa oluvannyuma, kyokka gyonna awamu giri etaano. Lt Col Deo Akiiki yafulumizza ekiwandiiko n’annyonnyola nti kkooti omwasimbiddwa Kitatta ne banne terina buyinza kubawozesa kubanga emisango gyabwe gya nnaggomola olwo fayiro etwalibwe mu kkooti y’amagye e Makindye. Baasindikiddwa ku limanda e Kigo okutuusa nga February 9, lwe banadda mu kkooti. Abalala abaavunaaniddwa ne Kitatta kuliko omuserikale wa poliisi, Sowali Ngobi ne ssentebe wa Bodaboda 2010 e Lubaga ayitibwa Joel Kibirige. Kyategeezeddwa nti emmundu zino zaazuuliddwa nga zaakozesebwa mu buzzi bw’emisango egitali gimu mu Kampala n’ebitundu ebirala. Kyokka muganda wa Kitatta ayitibwa Huzair Kiwalabye n’abalala okuli Muzamir Mawa ddereeva wa Dr. Ssebbaale akulira Case Hospital, Kikandi Muhindo, David Bizimani, Deo Yiga ne Resty Nanyondo tebaavunaaniddwa. Bano bali ku musango mulala ogw’okutta Ekalungar. Mikwano gye Kitatta okuli baddereeva ba takisi abeegattira mu kibiina kya Uganda Transporters Development Agency (UTRADA) ekikulemberwa Mustapha Mayambala n’aba NRM e Lubaga baakedde ku kkooti okulaga obumu ne Kitatta oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti yabadde waakuvunaanibwa kyokka amagye ne gatamutwalayo. Baabadde bategese n’empapula okumweyimirira. For more Ebibadde mu #Ggwanga episodes click here https://www.youtube.com/playlist?list... #Kaweesi #AndrewFelixKaweesi #Uganda #UgandaPolice #Police #TrendingUganda #Trending #ChristineMbabazi #Bobiwine !! #SaveUgMusic #SaveUgandaMusic #TaataSam #MaamaSam #Katusekemu #MathiasWalukagga #Walukagga #SaveUgMusic #SaveUgandaMusic, #SaveUgandanMusic #TrendinginUganda #EddySendi #EdwardSendi #MosesRadio #MozeRadio #Kasuku #TalkandTalk #RadioandWeasle #DjMichael #EddyKenzo #Kasuku #Wolokoso #Gossip, #UgandanGossip, #Olugambo, #EbibaddemuGgwanga, #Kogikuteko
ABDALLAH Kitatta bamuvunaanye emisango 5: Gya nnaggomola || Ebibadde mu Ggwanga - YouTube |
| 15 Likes | 15 Dislikes |
| 4,147 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 30 Jan 2018 |
trending ugandan artists
trending ugandan gospel music
trending uganda youtube
trending ugandan videos
trending uganda inside story
trending ugandan gospel songs
trending ugandan celebrity news
trending ugandan hairstyles
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda youtube channel
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music this week
trending uganda music 2018
trending ugandan gossip
trending ugandan music 2018
trending ugandan music 2019
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét