
ABDULLAH Kitatta katono atomere emitayimbwa gy’akaguli ka kkooti y’amagye nga ssentebe waayo Lt. Gen. Andrew Gutti alagira azzibweyo e Makindye mu kkomera ly’amagye alinde olunaku lw’anazzibwa mu kkooti okuwulira ekinaaba kisaliddwaawo ku kusaba kwe okw’okweyimirirwa. itatta yatuuse mu kkooti ng’alabika ng’alina essuubi nti anakkirizibwa okweyimirirwa oluvannyuma lw’oludda oluwaabi olukulemberwa Maj. Raphael Mugisha okulemererwa okuwa ensonga ey’essimba lwaki teyeeyimirirwa. Nga bw’efuuse enkola ye, Kitatta yabadde mu mujoozi gwe ogwa kyenvu nga bulijjo, jjiini eya bbulu n’engatto enjeru ng’asibiddwa ku mpingu ne Tonny Kipoi Nsubuga, avunaanibwa ogw’okulya mu nsi olukwe. Baatuuse ku ssaawa 4:00 ez’oku makya. Yabadde mucamufu nnyo era olwafulumye mmotoka Toyota Hiace/kamunye mwe baamuleetedde, n’akubira abamu ku bafamire ye kajjambo. Omuwabuzi wa kkooti eno mu by’amateeka, Col. Gideon Kattinda yategeezezza kkooti nti si beetegefu kuwa nsala yaabwe kubanga tebannamaliriza kugikolako n’asaba olunaku olulala lwe banaagiwa. Munnamateeka wa Kitatta, Shaba Sanywa yasoose kutegeeza kkooti nti beetegefu okuwulira kkooti ky’esalawo ku kusaba kw’omuntu waabwe kwe yateekayo, kyokka oluvannyuma naye kyamuweddeko n’ategeeza nti kano kagenderere kulemesa muntu we kufuna bwenkanya. Kitatta yawanise omukono abeeko ky’ayogera mu kkooti wabula Gutti n’amutegeeza nti kyonna ky’ayagala okwogera, akitegeeze munnamateeka we Sanywa y’aba abigamba kkooti. Sanywa yategeezezza kkooti nti Kitatta ekirwadde kya sukaali kimuli bubi nti mu kkomera ly’amagye e Makindye tafuna bujjanjabi. BAMUSIBA NGA MUTUJJU Yayongeddeko nti Kitatta bamusiba nga mutujju, asibirwa mu kasenge akeekusifu nga talaba wadde ku kitangaala ekiva wabweru kyonna kw’ogatta obutafuna kaseera kugenda kusaala nga ye Omusiraamu bwatyo n’asaba azzibwe e Luzira gy’aba akuumirwa kubanga yo asobola okulaba bulungi abantu be n’okwetaaya. Sanywa era yagambye nti naye wadde munnamateeka wa Kitatta, mu kkomera tebamukkiriza kuyingira alabe embeera omuntu we mw’abeera. Bw’agendayo bayita musibe n’ayogera naye ate okumala ekiseera ekigere wakati mu bukuumi. Wano azzeemu ne yeegayirira kkooti, Kitatta atwalibwe e Luzira kyokka Lt. Gen Gutti n’amutegeeza nti olw’ensonga Sanywa naye kennyini z’amanyi obulungi Kitatta tayinza kutwalibwa Luzira ate n’e Makindye waliyo buli kimu ekyetaagisa. Kitatta akomezebwawo nga May 21, 2018 okuwa ensala ya kkooti. Avunaanibwa ne basajja be abalala 12 emisango gy’okusangibwa n’ebyambalo by’amagye, emmundu n’amasasi nga tebalina lukusa kubeera nabyo. Click here for more - https://www.youtube.com/playlist?list...
ABDALLAH Kitatta katono atomere emitayimbwa gy’akaguli ka kkooti,bimusobedde! || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 25 Likes | 25 Dislikes |
| 4,592 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 8 May 2018 |
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity news
trending ugandan movies
trending ugandan music this week
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda youtube channel
trending ugandan hairstyles
trending ugandan gospel music
trending ugandan music 2019
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan videos
trending ugandan music
trending uganda youtube
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
trending uganda inside story
trending ugandan music 2018
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending uganda music 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét