
Aba PAKISITAN beegaanyi omuyimbi Angella Katatumba okubeera omubaka waabwe mu Uganda ne bategeeza nti, ofiisi y’omubaka wa Pakistan mu Uganda ekola mu bukyamu, kubanga yavaawo okuva Boney Katatumba lwe yafa. Bamugaanyi n’okuddamu okulinnya e Pakistan. Mu bbaluwa Abapakistani gye baayisizza mu kitebe kyabwe e Kenya, nga March 13, 2018, ng’eriko omukono gw’omubaka wa Pakistan e Kenya, Taral Raza baategeezezza nti, ofiisi y’omubaka wa Pakistani mu Uganda eddukanyizibwa Angella Katatumba ya kifere era teteekeddwa kukola ku lwa Gavumenti ya Pakistan. Ebbaluwa baagiwandiikidde minisitule y’ensonga z’ebweru mu Uganda ne bategeeza nti, Katatumba talina lukusa lwonna kukolera bannansi ba Pakistani biwandiiko byonna ne bategeeza ne ofiisi evunaanyizibwa ku bantu abayingira n’abafuluma obutakkiriza kiwandiiko kyonna kivudde wa Katatumba. Ebbaluwa egamba nti, “okuva Boney Katatumba eyali omubaka wa Pakistan mu Uganda lwe yafa mu February wa 2017, ofiisi y’omubaka wa Pakistani mu Uganda yaggalwawo okutuusa Pulezidenti wa Pakistani Mamnoon Hussain lw’alironda omuntu omulala okudda mu ofiisi eno. Ofiisi y’omubaka wa Pakistan mu Uganda, etwalibwa ekitebe ekiri e Nairobi era emirimu gyonna ofiisi eno gy’ekola, ofiisi y’omubaka wa Pakistan e Kenya y’eba egivunaanyizibwako”. Boney Katatumba yali yalondebwa Pervez Musharaf eyali Pulezidenti wa Pakistan, okubeera omubaka wa Pakistan mu Uganda olw’ensonga nti, Pakistan yali terina busobozi kubeera na kitebe mu Uganda. Ow’okuba nti yali mugagga, ate ng’amanyi abantu bangi naddala ebikonge mu Gavumenti, yafuna omukisa ogwo. Bwe yafa, muwala we Angella n’asalawo amusikire ku kifo kino Abapakistan kye bagamba nti ekifo si kya nsikirano era be balina okukironderamu omuntu gwe baba baagadde. Katatumba bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti, akimanyi ekifo kino si kya nsikirano wabula kitaawe, yamulonda mu 2007 okubeera omumyuka we. Yategeezezza nti, kitaawe ne bwe yatambulanga emitala w’amayanja, nga yasigala mu ofiisi okuddukanya emirimu. Yagambye nti, kitaawe bwe yafa, yagenda ku Minisitule y’ensonga z’ebweru mu Uganda n’asaba okusigala ng’akola ng’omubaka wa Pakistan mu Uganda okutuusa lwe banaalonda omulala. Yagasseeko nti, kino kyajja nga mukisa gy’ali okubeera muwala wa Katatumba ate emyaka 10 n’abeera ng’amutendeka bwateekeddwa okweyisa mu ngeri ey’ekikungu. N’agamba nti, yatwalako ebbaluwa ku kitebe kya Pakistan e Kenya ng’asaba omulimu ogwali ogwa kitaawe wabula omubaka wa Pakisitaani e Kenya n’amutegeeza nti ebbaluwa yali agifunye kyokka tagenda kugiweereza Pakistan kubanga baagala Musiraamu y’aba abeera mu kifo era ne balonda Omupakistan Anjaad kyokka ebisaanyizo ne bimuggyamu. Katatumba baamugaana okugenda e Pakistan, omubaka wa Pakistan e Kenya eyalina okumuwa viza bwe yagimumma nga n’okutuusa kati tagimuwanga. Okubeera omubaka w’eggwanga ng’eggwanga eryo telirinaamu kitebe, oteekeddwa kubeera munnansi waalyo nga kino kye kyalemesa Anjaad gwe baali bawadde omulimu guno.
Aba PAKISITAN beegaanyi omuyimbi Angella Katatumba okubeera omubaka waabwe mu Uganda || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 2 Likes | 2 Dislikes |
| 459 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 17 Apr 2018 |
trending ugandan music this week
trending ugandan hairstyles
trending uganda youtube
trending ugandan gospel music
trending ugandan gossip
trending ugandan mp3 songs
trending uganda music 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan celebrity news
trending ugandan movies
trending ugandan music
trending uganda inside story
trending ugandan music 2019
trending uganda youtube channel
trending ugandan videos
trending ugandan artists
trending ugandan gospel songs
trending ugandan songs 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét