
OLWALEERO Bobi Wine (Robert Kyagulanyi Ssentamu) lwalayizibwa ku bubaka bwa Palamenti obwa Kyaddondo East. Bobi Wine okwetegekera omukolo yakutandise na kugabula bakakuyege be abaamunoonyeza akalulu nga yabasisinkanye ku bbiici ye eya One Love e Busaabala ku Mmande, eno gye yasinzidde n’alangirira enteekateeka z’omukolo gw’olwaleero nga bwe zigenda okutambula. Yagambye nti olwaleero asimbula mu kitundu kyakiikirira ku ssaawa 2:00 ez’oku makya, ng’awerekerwako abawagizi 20,000 batambuze bigere okutuuka ku Musanvu (we bookera embuzi), olwo abantu abasinga obungi bakome awo. Abantu 5,000 bajja kusigala bamuwerekera okutuukira ddala mu kibuga, nga bano abasuubira kumulindira ku National Theatre ye ayingire mu Palamenti alayizibwe ku ssswa nga 8:30 ez’olweggulo olwo amangu ddala afulume yeegatte ku bawagizi be abanaaba bamulindidde ku National Theatre. Bajja kusimbula boolekere e Kasangati ku kisaawe w’ategese omukolo gw’okwebaza abalonzi, oguliko okulya n’okunywa era ayise aboogezi ab’enjawulo okumwebalizaako abalonzi . Ku mukolo guno wajja okulambululira byategese okukolera abantu ba Kyaddondo East oluvannyuma lw’okumulonda. Yagambye nti okumanya yeetegekedde omukolo guno, abantu be tebamumanyidde mu masuuti wabula yaguze essuuti ey’ebbeeyi egya mu mukolo kw’agenda okukwatira ‘Brief case’ okufaananira ddala ng’omubaka omujjuvu. Bobi Wine yagambye nti ayise abayimbi bangi ne bannakatemba okumusanyusizaako abagenyi be okukeesa budde abantu nga banywa, balya n’okusala endongo etagenda kusirika. Yasuubizza nti abantu abanaaba tebasobodde kutuuka mu kifo kino, akoze entegeka ezibasanga mu bitundu byabwe nayo ategekereyo obubaga okubeebaza.
AGOMUMPAPULA - MP. Bobi wine (Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu) bamulayiza leero - YouTube |
| 12 Likes | 12 Dislikes |
| 975 views views | 85,279 followers |
| People & Blogs | Upload TimePublished on 11 Jul 2017 |
trending ugandan movies
trending uganda youtube channel
trending ugandan gospel music
trending uganda inside story
trending ugandan entertainment news
trending uganda music 2018
trending ugandan music this week
trending ugandan gospel songs
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music
trending ugandan gossip
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music 2018
trending ugandan hairstyles
trending uganda youtube
trending ugandan videos
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music 2019
trending ugandan songs 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét