
OMUGAGGA Simpson Birungi ayimbuddwa oluvannyuma lw’ennaku 45 ng’akuumirwa mu kaduukulu k’ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya Internal Security Organization (ISO). Birungi yayimbuddwa ku Mmande ku ssaawa 8:00 ez’emisana ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli. Ku Ssande, aba ISO baakutte Birungi nebamukwasa poliisi ne fayiro yonna gye babadde bamulinako esobole okugoba ku byokumutwala mu kkooti. Eggulo ku Mmande ku ssaawa nga 8:00 ez’emisana, Birungi aba poliisi baamuyimbudde adde ewuwe ku kakalu ka poliisi ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Okusinziira ku nsonda mu ISO, “akakalu ddembe lya bwebange eri omuntu yenna abeera avunaanibwa, ekya poliisi okumuta, tekitegeeza nti yeggyeeredde.” Birungi yakwatibwa ISO nga June 4, ku bigambibwa nti yamanya ku muliro ogwayoca abaana b’e Buddo 20 mu April wa 2008 n’okufa kw’eyali manaje we Stephen Asaba. Okuva olwo abadde akuumirwa mu mikono gya ISO. Nga June 13, muka Birungi, Sheila Birungi yatwala ekiwandiiko mu kkooti enkulu mu Kampala ng’asaba ewalirize Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda okumutwala mu kkooti oba okumuyimbula nga tavunaaniddwa kubanga essaawa 48 ezikkirizibwa mu mateeka okusiba omuntu zaali ziweddeko. Nga June 19, omulamuzi Musa Ssekaana yayisa ekiragiro Birungi okuyimbulwa kyokka Kaka n’ategeeza nti, tasobola kumuta kubanga amulinako obujulizi obumala ku misango gy’amuvunaana. Bino nga tebinnabaawo, Birungi poliisi yasooka n’emuyimbula nga June 7 oluvannyuma lw’abanene abamu okukuba amasimu nga balagira poliisi ne ISO okuyimbula Birungi kyokka baali baakamuta ate ISO n’eddamu okumukwata ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli. Fayiro ya Birungi ebaddeko okusika omuguwa okwamaanyi wakati w’abamu ku baserikale ba poliisi n’aba ISO.
Owa Movit Simpson Birungi agambibwa okutta abana b'e Budo junior ayimbuddwa || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 5 Likes | 5 Dislikes |
| 775 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 17 Jul 2018 |
trending ugandan movies
trending uganda music 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music 2019
trending ugandan gospel music
trending ugandan music this week
trending uganda inside story
trending ugandan music
trending uganda youtube
trending ugandan entertainment news
trending ugandan celebrity news
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube channel
trending ugandan videos
trending ugandan songs 2018
trending ugandan hairstyles
trending ugandan gossip
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét