
PULEZIDENTI Museveni awagidde eky’abasajja okusikirwa abaana abawala n’agamba nti emirembe gikyuse era eby’obuwangwa ebimu bisaanidde okukyuka. ‘’Olwo bwemba ssaazaala balenzi obusika nga mbulekera abaana b’enganda zange (abalenzi) ne bwe baba tebaliimu mpeke ?’’ Museveni bw’abuuza. Kino kidiridde eyali Katikkiro we Polof. Apolo Nsibambi okusikirwa omwana omuwala nga bwe yalaama kyokka waliwo abamu ku b’ekika ky’effumbe n’abalala abaagguggubira ku by’obuwangwa bya Buganda abaamunenya olw’ekikolwa ekyo. Ab'ekika baawa famire nsalessale ekyuse ekyasalibwawo Nsibambi. Kyokka ne beerema. Museveni abadde ayogera ku mukolo gwa bajeti ya 2019/2020 ku Serena Hotel mu Kampala agambye nti ; ‘’ Nze nzikiririza nnyo mu by’obuwangwa kyokka njagala Afrika enywevu. Ebyobuwangwa byonna bisaanidde okukubwamu tooki. Tetusaanye kutunuulira kya kuba ng’ekikolwa ekikoleddwa kiriwo mu matteeka kyokka wabula tulina n’okulaba oba kikola amakulu. Edda Abanyonkole (n’abamawanga amalala) tebasikizanga mwana muwala olw’okutya nti aba agenda kufumbirwa bweru wa kika. Eyo embeera yali bwetyo mu kiseera ekyo naye kati ebintu bikyuse abantu balina kulowooza ku banaayamba kwongera ku buggagga.’’ Bw’agambye . Agambye nti eby’okulekera abakulu b’ebika okulonda abasika byadiba dda. Museveni era agambye nti takiririza mu kutta baatakkaanya nabo n’agamba nti singa yakikolanga osanga yandibadde takolagana na baana b’abagenzi Obote, Okello Lutwa , Kiwanula n’abalala. ‘’Naye kati nsobola okukolagana nabo era n’aba Andrew Kayiira nandikolaganye nabo singa bali munda mu ggwanga’’ Museveni bwe bw’agambye. Ebikulu mu bajeti ya 2019/2020 Ebyokwerinda bissidwaako obuwumbi 1,500 nga bino muzingiramu n’ebyokutegeka okulonda kwa 2021 MINISITA w’ebyensimbi Matia Kasaija ayanjudde bajeti ya butabalika 40 n’agamba nti egendereddwaamu kulaba nga Bannayuganda bongera okubeera mu bulamu obweyagaza. Kasaija asomye bajeti ng’asinziira ku Serena Hotel mu Kampala olweggulo lwa leero era agambye nti ku zino obuwumbi 2,829 zakukung’anyzibwa kuva munda mu ggwanga ate 9,433 obuwumbi za mu bagabi b’obuyambi. Era n’alangirira emisolo okuva ku bintu ebiva ebweru nga bisobola okukolebwa wano mu ggwanga gigenda kulinnyisibwa. Ebimu ku bigenda okulinyisibwako kuliko eby’okulya ebiva ebweru, abakazi bye bakozesa mu kwewunda okugeza wiigi n’ebirala. Waliwo n’emisolo egigenda okussibwa ku nju ezipangisibwa. Ebyamakolero bisiddwaako omugatte gwa obuwumbi 428.68 ng’ezimu ku zino zigenda okubunyisa amasannyalaze mu bibangirizi by’amakkolero, okuzimba ebibangirizi by’amakolero n’okussaawo embeera ey’okwongera okugasobozesa okufulumya ebintu eby’okutunda ebweru wamu n’ebyokutumbula sayansi n’obuyiiya. Ebyokwerinda bissidwaako obuwumbi 1,500 nga bino muzingiramu n’ebyokutegeka okulonda kwa 2021 bissiddwaako obuwumbi 232 nga bino bibariddwa mu bitundu ebiyamba okutereeza embeera y’ebyenfuga mu ggwanga. Akatabalika kamu n’obukadde kikumi bya kuyamba mu kubunyisa mazzi mayonjo. Ate obutabalika bubiri n’obukadde 600 za kutumbula byabulamu. Engeri ebitongole gye bigabanyeemu bajeti ya 2019/2020 Omugatte; 40.4 TRILLION Sayansi ne tekinologiya- 159billion Ebyobulambuzi- 175 billion Enkulaakulana- 218 billion Okuddukanya ebitongole ebyolukale- 789 billion Amazzi n’obutonde bw’ensi- 1 trillion Amateeka- 1.6 trillion Ebyobulamu- 2.5 trillion Ebyamasannyalaze- 2.9 trillion Ebyokwerinda n’obutebenkevu- 3.6 trillion Okusasula amabanja 10.6 trillion Emirimu n’ebyentambula - 6.4 trillion Ebyenjigiriza- 3.2 trillion Gavumenti ez’ebitundu- 2.8 trillion Embalirira- 1.9 trillion Ebyobulimi- 1 trillion Emirimu gya gavumenti- 908 billion Palamenti- 688billion Ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga- 193 billion Obusuubuzi n’amakolero- 171 billion 20) ICT 123 billion
Museveni awagidde Apolo Nsibambi okusikiza omuwala, N'ebikulu mu bajeti ya 2019/2020 - YouTube |
| 6 Likes | 6 Dislikes |
| 396 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePremiered on 14 Jun 2019 |
trending ugandan gossip
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music this week
trending uganda music 2018
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music
trending uganda inside story
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda youtube
trending ugandan gospel music
trending ugandan entertainment news
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity news
trending ugandan videos
trending uganda youtube channel
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music 2018
trending ugandan music 2019
trending ugandan hairstyles
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét