
POLIISI ekutte Kanyama agambibwa okukuba omuyimbi Moses Ssekibogo amanyiddwa nga Moze Radio bwe baali mu bbaala ya De Bar e Ntebe Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy y'akwatiddwa abasirikale okuva ku poliisi ye Katwe abakulembeddwamu DPC Frantile Lwamusaayi ku Ssande akawungeezi bwe bamukukunudde e Kyengera gy'abadde yekwese okuva Moze Radio bwe yakubibwa. Lwamusaayi yagambye nti okukwata Wamala ono kyadiridde omuntu omu okubawa amawulire nti waliwo omuntu ateeberezebwa okuna nga yeeyasse Moze ali wamukwano gwe gye yeekwese e Kyengera. Olwatusiddwa ku poliisi e Katwe Wamala yagiddwako sitatimenti n'annyonnyola ebyaliwo ku bbaala ya De Bar e Ntebe omuyimbi Moze Radio weyafunira obuzibu obugambibwa nti yakubibwa. Wamala yagambye nti baali mu bbaala eno nga batudde ku mmeeza okwali Omuyimbi Moze Radio, Washington nga akwata nnyimba, Hassana Lukwago ne George e Egesa ne wabaawo okuwanyisiganya ebigambo. Yagambye nti Moze Radio yasomooza bonna abaali ku mmeeza nti alina okulaga nti alina ssente ez’okugula omwenge era n'ategeeza nti altalina abaviire kwekuggyayo emitwalo 10 era n'alagira n'abalala basse ssente ku mmeeza. Yategeezezza nti obuzibu bwatandikira ku Moze kuwanyisiganya bigambo ne Egesa era n'amuyiira omwenge gw’ekika kya Black Lebel nga wano webayitira bakanyama okumufulumya. Yagambye nti waliwo eyalina okumusasula ssente ze n'asalawo okuva ku bbaala eno nga bwe yatuuka wabweru yasanga Radio ali kuttaka nga n’abantu bakungaanye. Yannyonyodde nti yasalawo okuva ku bbaala eno okweyongerayo kyokka yalemeddwa okunyonyola engeri Moze Radio gye bamufulumyamu okuva ku mmeeza kwe yali ne banne. Yegaanyi ebyokukuba Moze Radio ekyamuviirako okufa kyokka n'agamba nti nga wayise ennaku bbiri nga omugenzi aweereddwa ekitanda natandika okuwulira ebiyitingana nti yeyamukubye kwekusalawo okugenda ewa Mukwano e Kyengera okubeera eyo okutuusa poliisi bwe yamukutte. Abasirikale olw'akutte Wamala bamututte ku poliisi e Katwe n'akola sitatimenti oluvanyuma n'atwalibwa ku poliisi e Ntebe awali fayiro y’omusango
Godfrey Wamala Agambibwa okutta Moze Radio akwatiddwa || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 222 Likes | 222 Dislikes |
| 73,978 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 5 Feb 2018 |
trending ugandan gossip
trending ugandan movies
trending uganda youtube
trending ugandan songs 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda youtube channel
trending uganda inside story
trending ugandan music
trending ugandan artists
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2019
trending ugandan gospel music
trending ugandan hairstyles
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan celebrity news
trending uganda music 2018
trending ugandan music this week
trending ugandan videos
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét