
Click here https://www.youtube.com/playlist?list... for more episodes OMUGENZI Cranmer Kalinda yeegasse ku basajja emmekete ng’omugenzi Polof. Lawrence Mukiibi ne Mulindwa Muwonge, abakazi bwe batandise okusomba abaana nga we bwazibidde eggulo, abaana 25 be baabadde baakaleetebwa bamaama ab’enjawulo. Omu ku bawala ba Kalinda abakulu, Dr. Fiona Kalinda, yakubirizza bamaama bonna gye bali okuleeta abaana babakumeekume babeere bumu nga abooluganda. Ku baana bano kuliko abasajja abakulu n’abakazi abakulu ate n’abato ddala abali wansi w’emya etaano. Mu bamu ku baana abaaleteddwa kwe kuli; Daudi Katudde, ng’ono ye mulenzi omukulu mu luggya, F. Kalinda, S. Kalinda, E. Muwanga, D. Mugambe, R. Muwanga ne J. Kalinda. Abalala kuliko JM Kalinda, J. Mbolanyi, S. P. Nakandi, D. Nalubowa, nga bano be baasobose okutegeerekeko amannya. Abaana bano bali ne bannyaabwe mu bitundu eby’enjawulo. Omu ku bannamwandu ayitibwa Betty Muhaye yalaze obweraliikirivu ku ngeri gy’agenda okulabiriramu abaana be ababiri bba be yamulekedde. Muhaye agamba nti baasisinkana n’omugenzi Kalinda mu zimu ku kampeyini za Pulezidenti Museveni ne basiimagana era ekyaddirira kuzaala baana bano n’asaba pulezidenti Museveni abadduukirire bakuze abaana bano. Mwannyina wa Kalinda, Beatrice Nampiima yategeezezza nti ekituufu mwannyina alese abaana bangi era tamanyidde ddala muwendo mutuufu kubanga mulimu n’abalongo kyokka n’alaga essuubi nti bajja kubakuza mpola. MUSEVENI AWEEREZZA OBUBAKA Mu bubaka Pulezidenti Museveni bwe yaweerezza mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu kkanisa ya St. Stphen e Kabowa, yayogedde ku mugenzi ng’akoledde ennyo NRM. Obubaka buno yabutisse minisita wa Kampala, Beti Kamya n’agamba nti Kalinda amumanyi nnyo kye yava amuwa ebifo eby’enjawulo mu gavumenti ye. Agambye nti Kalinda ng’oggyeeko okubeera omuwabuzi we, abadde mukwano gwe ng’omuntu, era asaaliddwa nnyo okuviibwako omuntu ow’omugaso bwatyo. Asaasidde bamulekwa n’abeemikwano n’abakubagiza n’amabugo ga bukadde 10 gayambeko mu nteekateeka z’okuziika. Okusaba kwetabiddwaamu abakulembeze mu biti eby’enjawulo okwabadde; eyaliko meeya wa Kampala mu myaka gya 1990 Christopher Mukasa Iga, nga ku mulembe gwe ne Kalinda yali kansala akiikirira Makindye mu lukiiko lwa KCC. Amwogeddeko ng’omusajja omukozi, awaayo omutima gwe n’amaanyi ge gonna okutuukiriza obulungi ekyo ky’aba akutteko ate omwetoowaze. “Emirimu gya Kalinda gyeyolekedde mu ebyo by’alese akoze, wadde afudde, naye asigaddewo nga mulamu olw’emirimu emirungi gy’akoledde eggwanga,” Iga bwe yagambye. Mmengo esiimye Kalinda Meeya wa Lubaga, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo akiiridde Mmengo mu kusabira omugenzi, mu bubaka obuvudde e Mmengo basiimye Kalinda olw’okutumbula Buganda ng’ayita mu kusomesa n’okutumbula olulimi Oluganda ng’akozesa ekitone kye eky’okuwandiika ebitabo. Baagambye nti, Kalinda atadde ettoffaali ddene, mu kuzimba Obwakabaka n’ekitiibwa kya Buganda ng’ayita mu kutumbula olulimi oluganda.
Cranmer Kalinda musajja mmekete nga Mukiibi, Baakaleeta abaana 28 || Ebibadewo mu Ggwanga Lero - YouTube |
| 1 Likes | 1 Dislikes |
| 1,058 views views | 85,279 followers |
| People & Blogs | Upload TimePublished on 10 Aug 2017 |
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gossip
trending uganda youtube
trending ugandan music 2019
trending ugandan gospel music
trending ugandan gospel songs
trending ugandan entertainment news
trending uganda inside story
trending ugandan music 2018
trending ugandan movies
trending ugandan music
trending ugandan artists
trending ugandan videos
trending ugandan celebrity news
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan songs 2018
trending uganda youtube channel
trending ugandan hairstyles
trending uganda music 2018
trending ugandan music this week
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét