
Stay updated! 🔔 Subscribe Now https://www.youtube.com/c/trendinguganda KITATTA nga tannasimbibwa mu kkooti y’amagye e Mbuya, poliisi yasoose kutegeeza nti tewali bujulizi bwonna bumugatta ku musango gw’okutemula omukozi wa Case Hospital, Francis Ekalungar. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilian Kayima yasinzidde mu lukuh− haana lwa bannamawulire olwatudde ku makya eggulo ku CPS mu Kampala n’agamba nti abantu munaana be bali ku fayiro eyo era kw’abo Abdallah Kitatta taliiko. Mu kusooka fayiro yabaddeko abantu mukaaga wabula ne bagattako abantu abalala babiri ne bawera munaana. Kayima yagambye nti abali ku fayiro kuliko Muzamiru Mawa, Resty Gorreti Nalunga, Huzairu Kiwalabye, Deo Iga, David Bizimani, Kikandi Rukundo ssaako n’abakuumi ba Case Hospital babiri Vincent Chandia ne Francis Mulema nga bavunaanibwa emisango ebiri okuli okutta wamu n’ogw’obubbi nga fayiro yaabwe yaweerezeddwa ew’omuwaabi wa gavumenti okugyekenneenya era bw’anakkaanya n’ebirimu, abo omunaana batwalibwe mu kkooti. Kiwalabye muganda wa Kitatta era gwe baasooka okukwata ne balyoka bakima ne Kitatta. Waasoose kubeerawo kusika muguwa wakati wa poliisi n’amagye ku fayiro ya Kitatta. Amagye gaabadde gaagala Kitatta ateekebwe ku fayiro eyo nga galaga nti obujulizi weebuli kyokka nga poliisi erina okwongerayo fayiro ew’omuwaabi wa gavumenti eraga nti tewali bujulizi ku Kitatta era n’esalawo aleme kugattibwako. Kayima yagambye nti omusango gwe bamanyi nga poliisi oguvunaanibwa Kitatta gwa kugezaako kulemesa kukwata bantu amagye be gaali geetaaga ng’abasinga baali bammemba ba Bodaboda 2010. Yategeezezza nti poliisi yafunye okwemulugunya okuva mu bavuzi ba bodaboda 35 abalumiriza aba Bodaboda 2010 okubatuusaako ebisago nga okwemulugunya kwabwe bakutwalidde avunaanyizibwa ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano Johnson Olal. For more #Agomumpapula episodes https://www.youtube.com/playlist?list... #Kaweesi #AndrewFelixKaweesi #Uganda #UgandaPolice #Police #TrendingUganda #Trending #ChristineMbabazi #Bobiwine Kamusungusungu, Agomumpapula agajjudde ebisoko, engero n'okugeraageranya. nyumirwa oluganda !!
Tewali bujulizi buluma Abdalla Kitatta ku by’okutta owa Case Hospital - Poliisi || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 3 Likes | 3 Dislikes |
| 579 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 30 Jan 2018 |
trending ugandan songs 2018
trending uganda youtube
trending ugandan artists
trending ugandan gospel music
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan hairstyles
trending uganda inside story
trending ugandan gossip
trending uganda music 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity news
trending ugandan videos
trending uganda youtube channel
trending ugandan music 2019
trending ugandan music
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music this week
trending ugandan gospel songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét