
Taata wa Sheebah afudde n’aleka ekiraamo ekikakali: Akolimye AHAMADA Kimali Musoke afiiridde ku myaka 76. Agenze okufa nga yeevuma okuzaala omuwala gw’agamba nti amuweebudde olw’enneeyisa ye n’ennyambala. Omugenzi Kimali yazaala abaana 30 era nga mu baana bano mwe muli n’omuyimbi Sheebah Karungi Kigambibwa nti, musajjamukulu nga tannafa yasooka kulagira muwala we Sheebah Karungi okukomya okwambala enkunamyo n’amusaba okudda mu kika kye ebintu Sheebah by’atatwala nga ensonga era kino kyanyiiza muzeeyi n’atuuka n’okumubuusabuusa oba ddala kituufu Sheebah muwala we era nga y’amuzaala. Kimali yayita omukyala ategeerekeseeko erya Kabazungu ng’ono ye maama wa Sheebah okumutangaaza ku buzaale bwa Sheebah era n’amutegeeza ng’omwana bwali owuwe ddala. Swaibu Senfuka mutabani wa Kimali omukulu era mukulu wa Sheebah yategeezezza abakungubazi ku Ssande nga February 11, nti muzeeyi w’afiiridde ng’azaalukuse Sheebah olw’enneeyisa ye n’ennyambala ye. Yabadde mu kuziika kitaabwe ku kyalo Namiyagi mu Divizoni y’e Wakisi mu Munisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe n’agamba nti, wiiki bbiri eziwedde muzeeyi bwe yamutuma agambe Sheebah akomewo amwetondere wabula Sheebah n’agaana era wano muzeeyi n’amutegeeza nga bwe yejjusa okuzaala Sheebah Karungi kubanga talina kalungi k’amufunyeemu wabula okumufuula ekisekererwa buli w’abadde ayita. KITAAWE AFUDDE AKOLIMYE “Sheebah Karungi muganda waffe ddala era amannya ge amatuufu ye Samari Njagala Karungi era ng’ono yasikira ssengaffe omu nga naye ye yali Njagala Karungi kwe kumuwa amannya ago, naye muzeeyi w’afiiridde ng’akolimye era yangamba ngambe Sheebah nga bw’atagenda kuzaala mwana yenna ng’akyali mu ntumbwe ya Kimali era bw’abeera ayagala okuzaala anoonyeeyo kitaawe omulala atali ye”, Swaibu bwe yategeezezza nti kitaabwe bwe yamulaamira. Omugenzi abadde mulwadde wa sukaali ne puleesa era ng’abadde ajjanjabirwa Kasangati. Yafudde ku Ssande ekiro n’aziikibwa ku Mmande mu maka ge e Namiyagi. Abakungubazi bangi beetabye mu kuziika omugenzi wabula nga ye muwala we Sheebah teyalinnyeeyo mu kuziika kitaawe wadde nga ye maama we, Kabazungu yabaddeyo. Bakira abakungubazi beewuunya olw’omuyimbi obutaziika kitaawe ate abalala ne bamunenya olw’obutalongoosa maka ga kitaawe ng’ate alina ssente. Bo bannyina b’omugenzi era nga bassenga ba Sheebah baategeezezza nga Sheebah bwe yava ewa kitaawe nga wa myaka mwenda era yakula ne nnyina Kabazungu era nga kitaawe w’afiiridde nga tayagala na kuwulira ku nnyimba za muwala we. “Baaba waffe nga bw’abeera akyadde ewuwo n’oteekako ttivvi ng’eriko oluyimba lwa Sheebah afuluma mu nnyumba nga bw’ayomba ng’omuwala bwe yamuweebuula n’okuswaza eddiini y’Obusiraamu kubanga tekkiriza kwambala nkunamyo n’okwetonaatona okuyitiridde,” Rose Mbowa ssenga wa Sheebah bwe yategeezezza. Rovinsa Nakinobe naye nga ssenga wa Sheebah yategeezezza nga Sheebah bwe yeesamba ekika kye era nga bo bamulabira ku ttivvi mpozzi ne mu bivvulu gy’abeera abikubye ne bagendayo. Bassenga beegayiridde Sheebah akomewo mu kika kye kubanga gy’azaalibwa. Baganda ba Sheebah baagaanye endowooza ya bassenga era ne bamusaba okukomyawo amannya ga Samari Njagala Karungi anoonyeeyo ekika ekirala kubanga bbo tebaagala kubeera na bahhanda ababeesittaza. Baganda ba Sheebah okubadde Nakakande Salama baategeezezza nga bwe batayagala ssente za Sheebah wadde okumukotoggera wabula abaswazizza ekimala kubanga ne lwe baafiirwa jjajjaabwe, Sheebah bwe yagenda okuziika yasigala mu mmotoka ye teyagivaamu. Omugenzi yazaala abaana 30 ng’abawala baliko 10 ng’abasigadde basajja era nga Sheebah ye mwana owa 27 mu baana b’omugenzi era ng’ono yakula ne maama we Kabazungu e Kawempe. Swaibu, mukulu wa Sheebah annyonnyodde nga bwe yagezaako okutabaganya omugenzi ne muwala we Sheebah, wabula Sheebah n’amutegeeza nga ye bwe yakyawa kitaawe olw’okugaana okumuweerera ng’asoma. Mu kuziika omugenzi tewaabaddeyo wadde omuyimbi yenna ekintu ekyewuunyisizza abakungubazi so ng’abamu kye baabadde beesunga mu lumbe. Aba famire nga bakulembeddwaamu mutabani w’omugenzi omukulu, Swaibu Ssenfuka, baatuuzizza olukiiko olw’okutema empenda ku ngeri gye balina okugoba Sheebah mu kika. Wabula nnyina wa Sheabah bwe yatuukiriddwa yagambye nti osanga muwala we yandiziise kitaawe kyokka okufa n’okuziika we byabeereddewo ng’ali bweru wa ggwanga era Bukedde yakubye ku ssimu ze zonna nga teziriiko.
Taata wa Sheebah afudde Akolimye, Tojja kuzaala mwana lwa kwambala nkunamyo || Ebibadde mu Ggwanga - YouTube |
| 37 Likes | 37 Dislikes |
| 6,683 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 14 Feb 2018 |
trending ugandan videos
trending uganda inside story
trending ugandan songs 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan celebrity news
trending ugandan entertainment news
trending ugandan gossip
trending uganda music 2018
trending ugandan music 2019
trending ugandan music
trending ugandan artists
trending uganda youtube
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music this week
trending ugandan hairstyles
trending ugandan movies
trending ugandan gospel music
trending uganda youtube channel
trending ugandan music 2018
trending ugandan gospel songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét