
For more episodes https://www.youtube.com/playlist?list... JOHN Luswata Ssebugwawo, taata wa Nnabagereka wa Buganda akwatiddwa n’aggalirwa ku poliisi ng’alangibwa okukozesa olukujjukujju n’atunda ettaka emirundi ebiri, ng’akolagana n’abamu ku booluganda lwe. Dr. Ian Ssendawula, omutuuze w’e Kitende ku luguudo lw’e Ntebe ye yagenze ku poliisi n’aloopa abooluganda basatu okuli; John Luswata Ssebugwawo (taata wa Nnabagereka), Edmund Ssebugwawo n’omulala eyategeerekeseeko erya Steven. Dr. Ssendawula agamba nti ku ntandikwa ya February wa 2017, yatuukirira abooluganda abo abasatu ne bamuguza poloti y’ettaka eweza obugazi bwa ffuuti 100 ku 100 ku bukadde 28 nga kuliko n’ekyapa. Ettaka lino lisangibwa ku kyalo Bufulu - Nkumba, okuliraanira ddala ekikomera ky’amaka g’omutaka omugenzi Nelson Edmond Nkalubo Ssebugwawo jjajja wa Nnabagereka. Kyokka ekyaggya Ssendawula enviiri ku mutwe, agenda okudda ku ttaka lye baamuguza oluvannyuma lwa wiiki bbiri, n’asangako abazimbako. Eyali azimba yamutegeeza nti wano yali yagulawo dda, era ng’abantu be bamu be baamuguza. Bwe yatuukirira abaamuguza, baasalawo okutuuza olukiiko nga famire ya Ssebugwawo, kyokka baagenda okwekenneenya ekyapa nga tekikwatagana na poloti gye baali batunze. Oluvannyuma lw’okukizuula ng’ebyapa tebikwatagana, Dr. Ssendawula yabasaba bamuddize ssente ze asobole okunoonya ettaka eddala ly’agula. Kyokka abakwate baatandika okumubuzaabuza nga bwe bamutegeeza agumiikirize kuba baali bajja kumufunira ettaka eddala. Ebiwandiiko biraga nti Edmund Ssebugwawo, taata wa Nnabagereka omuto ne John Luswata be baateeka omukono ku biwandiiko ebikyusa ekyapa. Bano famire be yawa obuyinza okulabirira ettaka eddene erya famire ya Ssebugwawo esinga ettaka eddene e Nkumba. Ensonga bwe zaawanvuwa, Ssendawula yasalawo okuzitwala ku poliisi kuba baali bamutambuzza obwoya kujula kumuggwa ku ntumbwe, nga tebamuwa ssente ze wadde okumulaga poloti endala gye baali bamusuubizza. Ku Lwokutaano poliisi yaliimisizza abavunaanibwa bonna n’ebakwata omu ku omu n’ebaggalira e Mpala oluvannyuma gye baggyiddwa ne bongerwayo ku poliisi y’e Ntebe. John Luswata, azaala Nnabagereka baamukwatidde mu kibuga ky’e Ntebe ng’ava mu kalwaliro okuliraana ofiisi z’ekitongole ky’eby’amazzi ekya National Water and Sewerage Cooperation. Edmund Ssebugwawo, ng’ono alina n’obutuuze e Bungereza baamuggye mu takisi eyabadde edda e Ntebe. Steven naye bwatyo yasangiddwa mu bitundu by’e Ntebe. Abasibe bonsatule bagguddwaako emisango okuli; okufuna ssente mu lukujjukujju n’okusaalimbira ku ttaka ly’omuntu lye bamanyi nti baalitunda. Dr. Ssendawula yategeezezza nti kati ayagala kumuddiza ssente ze zonna mu buliwo, kuba bamutambuzza ekisusse. Abooluganda lw’abasibe baasiibye ku poliisi nga basala entotto ez’okufunamu ssente basobole okuyimbula abantu baabwe. Dr. Ssendawula yaweze okutwala abasibe mu kkooti, bagasimbagane n’omulamuzi singa balemererwa okumuwa ssente ze obukadde 28. Omusango guno guli ku fayiro nnamba SD46/28/07/27. EBIZZE BIBAAWO Guno si gwe mulundi ogusoose omukulu Luswata okufuna obuzibu mu by’ettaka azze abeera mu misango egy’enjawulo egikwata ku kutunda poloti ku ttaka lya kitaawe era ensonga emirundi mingi ziggweera ku poliisi nga b’akaayana nabo bamuwawaabidde. Omutaka Ssebugwawo naye we yafiira ng’alina abantu bangi b’agugulana nabo ku ttaka lye abamu ng’abavunaana kulyesenzaako mu bukyamu. Famire eno kumpi ye nnannyini ttaka ly’e Nkumba lyonna okuli n’ebyalo ebirala nga Bunono ne Katabi okutuukira ddala e Kasenyi ku mwalo.
Taata wa Nnabagereka bamukutte lwa ttaka || Amawulire agabadde mu week - YouTube |
| 14 Likes | 14 Dislikes |
| 4,172 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 13 Aug 2017 |
trending ugandan songs 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gossip
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2018
trending ugandan music 2019
trending ugandan artists
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music
trending uganda inside story
trending ugandan gospel music
trending uganda music 2018
trending uganda youtube channel
trending ugandan movies
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music this week
trending ugandan videos
trending uganda youtube
trending ugandan gospel songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét