
Stay updated! 🔔 Subscribe Now https://goo.gl/EgnKzy GEN. GIRIGOOLI #MugishaMuntu awanguddwa mu kuvuganya ku bwa ssentebe bwa #FDC e Namboole nga yaakamala okuta akaka n’alangira abakulembeze b’ekibiina omuli ne Col. Kiiza #Besigye obutavaayo bulambalamba kubeera mabega we ng’akola emirimu. #Muntu yawanguddwa eyali omubaka w’e Kumi mu Palamenti, Patrick Amuriat eyafunye obululu 641 kyokka nga ye (Muntu) abadde mu ntebe okumala emyaka ettaano yafunye 463. Abalala abaavuganyizza ye munnamatteeka Moses Byamugisha eyafunye 03 n’omusuubuzi Matsiko Dan Malcom n’afuna 02 bwokka. Muntu abamu ku bammemba bababadde bamulumiriza okutta ekibiina kuba ‘muwombeefu’ ng’enkola ye teraga bulungi lyanyi FDC ly’erina kussa ku gavumenti ng’eyita mu kuguguba (defiance) omuli okwekalakaasa n’ebirala . Patrick Amuriat eyawangudde ava mu bitundu by’e Teso era bwe yabadde akuba kampeyini yagambye nti ‘’tosobola kuweeweeta nnakyemalira n’omugoba mu buyinza n’olwekyo akkiririza mu nkola y’okuguguba ng’okozesa eryaanyi (defaayansi)’’. Enkola eno efaanana n’eya Col. Besigye gye yakozesanga ng’akyali pulezidenti w’ekibiina era ne mu nkung'aana za Amuriat ez’okuyigga obululu ezimu abadde azibeerako. Muntu ng’ali mu kampeyini yasoose kuta kaka nti abamulumiriza okutta ekibiina bamulanga bwemage amaanyi gaakyo gaabadde geeragira bulungi mu bungi bwa bannamawulire abaabaddewo. N’agamba nti abagamba nti baagala okumalawo ‘entalo’ eziri mu kibiina balina okusooka okumanya ensibuko yaazo. Yawadde eky’okulabirako nti emirundi gy’azze yeesimbawo ng’awangulwa Besigye ye (Muntu) abadde adda mabega we n’amuwagira okutwala ekibiina maaso kyokka ye bwe yawangula Obwapulezidenti mu 2012 kino tekyakolebwa be yawangula badda mu kumulwanyisa ng’ekiseera ekisinga kimaliddwa mu bino. Kyokka Besigye yagambye nti tekyabadde kya bwenkanya Muntu okumussa mu bya kampeyini ze ye (Besigye) mw’atavuganyizza. N’agamba nti kituufu abadde agenda ku nkung’ana za Amuriat ez’olwatu ez’okuyigga obululu ng’ayogera ku nsonga ndala eziruma eggwanga ng’ebyokukyusa akawaayiro k’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti wamu n’ettaka era nti tagambako muntu n’omu nti ‘’londa Amuriat’’. ‘’Okunnumba olw’okugenda mu nkung’aana za Amuriat ssi kya bwenkanya wadde sinyiize kuba nnina eddemba lyange okuwagira gwe njagala.’’ Besigye bwe yagambye. For more #Agomumpapula episodes https://www.youtube.com/playlist?list... #Kaweesi #AndrewFelixKaweesi #Uganda #UgandaPolice #Police #TrendingUganda #Trending #ChristineMbabazi #Bobiwine Kamusungusungu, Agomumpapula agajjudde ebisoko, engero n'okugeraageranya. nyumirwa oluganda !!
Patrick Amuriat awangudde Mugisha Muntu ku bwa Pulezidenti bwa FDC || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 5 Likes | 5 Dislikes |
| 2,221 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 25 Nov 2017 |
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music
trending ugandan music 2019
trending ugandan gospel music
trending ugandan hairstyles
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan movies
trending ugandan gospel songs
trending ugandan celebrity news
trending ugandan gossip
trending ugandan videos
trending ugandan music this week
trending uganda music 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan artists
trending uganda youtube
trending ugandan mp3 songs
trending uganda youtube channel
trending ugandan entertainment news
trending uganda inside story
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét