
Jackie Wolfson nnannyini kibiina ky’obwannakyewa ekya ‘Shule Foundation’ ye yagobeddwa mu Uganda oluvannyuma lw’okukwatibwa ab’ebyokwerinda ku bigambibwa nti yabadde talina mpapula zimukkiriza kukolera mu Uganda. Ofwono Opondo, omwogezi wa gavumenti yakakasizza ekya Wolfson okuzzibwa mu Amerika gye bamuzaala era ono agamba nti kino kyavudde ku Wolfson kumenya mateeka agafuga abagwiira abakolera mu Uganda bwe yatandika okukolera kuno nga tafunanga lukusa okuva ku minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga. Ofwono yannyonnyodde nti, Wolfson yajja mu ggwanga mu 2014 ng’omulambuzi era abadde atera okufuluma nga bw’akomawo kyokka mu kunoonyereza okubadde kukolebwa ono baakizudde nti abadde alina emirimu gy’akola kuno ng’ayita mu kibiina kye ekya ‘Shule Foundation’. Wolfson yatikkiddwa ku nnyonyi ya KLM era mu Uganda yavuddemu ku Ssande ku ssaawa 5:45 ez’ekiro. Abakungu ba gavumenti bazze beemulugunya ku bibiina by’obwannakyewa bye balumiriza okuteeka ssente mu booludda oluvuganya gavumenti. Wolfson abadde mukwano gwa Bobi Wine era babadde batera okwetaba ku mikolo bombi. Baasemba okulabwako bombi ku kivvulu kya Chaka Chaka ekyali ku wooteeri ya Serena mu Kampala mu gwomusanvu omwaka guno. KANYAMA WA BOBI BAMUVUNAANYE Kkooti eggulo yagaanye okuyimbula kanyama wa Bobi Wine n’emugatta mu babaka ba palamenti n’avunaanibwa gwakulya mu nsi lukwe. Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe yasimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Ggulu n’aggulwako omusango gw’okulya mu nsi olukwe. Ne ddereeva w’ekimotoka ki guleeda ekyali kisibiddwaako obuwero obumyufu ekigambibwa nti kye kyasooka okukola akajagalalo Musa Ssenyange naye yavunaaniddwa wamu ne Ssebuufu nga baagattiddwa ku babaka ba palamenti abataano ssaako abantu abalala 27. Omulamuzi Musa Ssekaana owa kkooti enkulu ewulira emisango gy’engassi ku Mmande yalagira Ssebuufu ayimbulwe awatali kakwakkulizo wabula omuwaabi wa gavumenti Julius Ochen yategeezezza omulamuzi Yunus Ndiwalana nti ekiragiro ekyayisibwa kyali kiragira ayimbulwe okuva mu kaduukulu gye yali aggaliddwa mu bukyamu. Puliida wa Ssebuufu Tonny Kitara yatageezezza omulamuzi nti abebyokwerinda be balemesa ekiragiro kya kkooti eky’okuyimbula Eddy Mutwe nga kino kirinnyirira eddembe ly’omuwawaabirwa. Ate e Kamwokya, poliisi yagobaganye ne bannabyabufuzi wamu n’abavubuka ba Ghetto aba ‘People Power’ abaatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire poliisi lw’eggamba nti lwabadde lumenya mateeka. Olukiiko luno lwakulembeddwa omuyambi wa Loodi Meeya, Aidah Nakuya ne Vincent Ssemanda akulira abaana ba Ghetto e Kamwokya. For more #BINSANGAWANO click here https://www.youtube.com/playlist?list... #Bobiwine, #ShuleFoundation, #AnneWhitehead, #JackieWolfson
Omuzungu abadde akolagana ne Bobi Wine bamugobye mu Uganda || BINSANGAWANO - YouTube |
| 21 Likes | 21 Dislikes |
| 2,724 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 12 Sep 2018 |
trending ugandan artists
trending ugandan hairstyles
trending ugandan celebrity news
trending uganda music 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music 2018
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube channel
trending ugandan gossip
trending ugandan music
trending ugandan videos
trending ugandan music this week
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda inside story
trending ugandan music 2019
trending uganda youtube
trending ugandan gospel music
trending ugandan movies
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét