
Ochola olubadde okutuula mu ntebe n'akyusa basajja ba Kayihura: Ababadde ku katebe babawadde ebifo ebisava OMUDUUMIZI wa poliisi omupya Martin Okoth Ochola olutudde mu ntebe n’akolerawo enkyukakyuka mu bamu ku basajja Gen. Kale Kayihura be yali yateeka mu bifo n’abaako ne baggya ku katebe n’abatuma emirimu. Mu nkyukakyuka ze yakoze ezaateereddwaako omukono gwa Haji. Moses Balimwoyo dayirekita w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z’abaserikale mu poliisi, Ochola yakyusizza abaserikale 88 abali wakati w’eddaala lya Senior Superintendent of Police (SSP) ne Assistant Superintendent of Police (ASP). Mu baserikale abaakyusiddwa, mulimu abamu ku basajja ba Kayihura emmundu emmenye b’abadde yeesiga mu mirimu egitali gimu. Ochola abakutte n’abakasuka mu bitundu eby’enjawulo. Abamu babadde bamaze emyaka egisoba mu etaano ku poliisi ze babadde bakolerako Mu baserikale abaakyusiddwa mulimu; SP Bernard Mugerwa gwe yasindise okuduumira poliisi y’e Butalejja. Ono abadde DPC w’e Kabalagala okuva mu 2013 yamusikizza Edrisa Kyeyune. Mugerwa ye yaddira Francis Chemusto mu bigere oluvannyuma lwa Kayihura okulagira Chemusto akwatibwe ku misango gy’omuserikale w’ekitongole ekikuumi eky’obwannannyini okukuba mukama we essasi. Okuva olwo, Mugerwa y’abadde omuduumizi wa poliisi y’e Kabalagala era nga Kayihura abadde amwesiga mu bintu bingi. Abaduumizi ba poliisi endala okuli CPS, Katwe, Old Kampala, Kawempe, Jinja Road, Kira Road n’endala bazze bakyusibwa wabula nga Mugerwa amurekawo. Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, Mugerwa abadde takyusibwa si lwa kuba muserikale akola obulungi wabula olw’obugonvu n’obuwulize eri mukama we. Omulala eyakyusiddwa, ye SP Godfrey Kahebwa, Kahebwa ye yali omuduumizi wa poliisi ya Kampala South mu kalulu ka 2016. Yakwatibwa n’aggulwako emisango gy’okuduumira abaakuba abawagizi ba Dr. Kizza Besigye emiggo mu kkooti ewozesa abaserikale ba poliisi abasiiwuuse empisa. Basooka ne bamukuba akatebe wabula oluvannyuma n’asindikibwa mu kutendekebwa e Bwebajja. Ono kkooti yali ewabudde nti asalibweko amayinja adde ku ddaala lya ASP okuva ku SP wabula tekyakolebwa. Mu Kampala, yali mu kifo kya muduumizi wa poliisi ya Kampala South etwala Katwe ne CPS wabula Ochola yamusindise mu kifo kya muduumizi wa poliisi y’e Soroti. Ye eyali omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, amuzzizza mu kifo kino oluvannyuma lw’omwaka mulamba ng’ali ku katebe. Geoffrey Ssebuyungo eyali yasindikibwa mu kitongole kya KCCA okumyuka akulira ebikwekweto, oluvudde mu kutendekebwa naye asindikiddwa okuduumira poliisi y’e Bugiri. Abalala mulimu; George Mpungu amusindise akulire okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Busoga East, Godfrey Ninsiima asindikiddwa kuduumira poliisi y’e Lamwo, Hashim Kasinga amusindise Butambala, Philimon Ameru Kayihura gwe yali yagoba e Bukomansimbi olw’ebijambiya aleeteddwa mu Kampala okukulira poliisi ya Old Kampala, Grace Nyangoma abadde aduumira poliisi ya Old Kampala atwaliddwa Pader ate Shifah Kiribwa abadde akola nga omuduumizi wa poliisi ya Kira Divizoni, akakasiddwa ku kifo kino. Richard Mwijukye abadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Kajjansi, asindikiddwa mu kitongole kya poliisi ekinoonyereza ku baserikale abasiiwuuse empisa n’amusikiza Uthman Magezi. John Mwaule abadde ku misomo asindikiddwa Rukiga, Hilary Mukiza abadde e Kajjansi amusindise Sheema. Enkyukakyuka zino, zitwaliddemu n’abaserikale ba poliisi y’ebidduka. Dickens Tweheyo, atwaliddwa Kamuli, Edwin Ayebare atwaliddwa Ntoroko, Yolamu Tumwebaze atwaliddwa Kyegegwa, Norman Muhanguzi atwaliddwa Hima, Evas Ninsiima atwaliddwa Lwengo n’abalala. Balimwoyo mu kiwandiiko kye yaweerezza abaduumizi ba poliisi z’ebitundu abaserikale gye basindikiddwa ne gye bavudde yategeezezza nti, enkyukakyuka zino za mbagirawo abaserikale abakyusiddwa balina okugenda mu bitundu gye basindikiddwa mu bwangu ddala.
OMUDUUMIZI wa poliisi omupya Martin Okoth Ochola akyusiza basajja ba Kayihura || BINSANGAWANO - YouTube |
| 32 Likes | 32 Dislikes |
| 7,943 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 7 Mar 2018 |
trending uganda youtube
trending ugandan music 2019
trending ugandan videos
trending ugandan gospel music
trending ugandan gossip
trending uganda music 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan mp3 songs
trending uganda inside story
trending ugandan celebrity news
trending ugandan hairstyles
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music this week
trending ugandan music
trending uganda youtube channel
trending ugandan gospel songs
trending ugandan artists
trending ugandan music 2018
trending ugandan movies
trending ugandan entertainment news
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét