
EBY’OKUZZA omuvubuka Patrick Agaba (PATO) omu ku bateeberezebwa okwenyigira mu kuwamba n’okutta Susan Magara okuva e South Africa bikalubye. Agaba yakwatiddwa e South Afrika nga kigambibwa ali ku misango gya kutta Magara kyokka omu ku baserikale ba poliisi ali mu kunoonyereza ku kufa kwa Magara yagambye nti, kituufu Agaba bamwetaaga kubanga baakizudde nti alina akakwate wabula kkooti e South Africa emuvunaana misango mirala. Yagambye nti, balina enteekateeka z’okumusabayo e South Africa wabula emitendera gye balina okuyitamu mingi nnyo okusobola okumuzza mu Uganda. Era balina kuyita mu kkooti ewalirize Gavumenti ya South Africa okumukwasa Uganda. Oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okukwatibwa kwa Agaba, Gavumenti wiiki ewedde yasindise abasirikale e South Africa okulaba nga Agaba azzibwa mu Uganda kyokka ensonda zaategeezezza nti bano baasanze obuzibu olwa Agaba ng’ayita mu bannamateeka be okuba nti babadde bamaze okuteekayo empapula ze eziwakanya gavumenyi y’e South Africa okumuwaayo akomezebwewo kuno. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima yagambye nti, essaawa eno, ensonga za Agaba tasobola kuzoogerako kubanga bakkaanya n’abanoonyereza okusooka okumaliriza fayiro balyoke bawe lipooti eri eggwanga. Ku by’okumusabayo e South Africa yagambye nti ogwo mulimu gw’abali mu kunoonyereza beetaaga okuwa obudde bakole omulimu gwabwe awatali kutaataaganyizibwa. Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti wakyaliwo obuzibu okuzza Agaba mu Uganda kubanga amawanga gombi South Africa ne Uganda tegalina ndagaano ya kuwaanyisiganya basibe noolwekyo enteeseganya ziyinza okutwala akabanga akawerako. Ekirala ekyongedde okukalubya ebintu, gy’emisango gy’okubba emmotoka n’okufera bannansi ba South Africa egyamuggulwako, nga gavumenti ya South Africa erowooza nti bw’emukwasa Uganda, abantu baayo abaaferebwa kiyinza okubakaluubiriza okufuna obwenkanya. EMITENDERA POLIISI GY’ERINA OKUYITAMU OKUMUZZA; Ensonda okuva mu poliisi y’ensi yonna mu Uganda zannyonnyodde emitendera Gavumenti ya Uganda bw’eba erina omusibe yenna gw’eyagala mu ggwanga eddala gy’egirina okugobererwa. Gavumenti erina okusooka okukakasa nti omuntu gw’eyagala alina omusango gwe yazza nga si gwa byabufuzi, tegwekuusa ku mawanga yadde eddiini, omusango gulina kubeera guli mu kiti kya naggomola oba ogwagala okwefaananyiriza (Criminal), teguteekwa kubeera gwa ngassi nga eyaguzza adduka mateeka kumukwata (Fugitive). Ekyo bwe kiggwa, omuwaabi wa Gavumenti (DPP) alina okuteekateeka fayiro n’etwalibwa mu kkooti ya Uganda, omulamuzi n’ategeezebwa nti omuvunaanibwa ali bweru wa ggwanga era yeetaagibwa. Omulamuzi atwalayo akadde n’asooka yeetegereza ensonga bw’agizuulamu eggumba ng’omuwaawaabirwa alina okukomezebwawo, ng’alyoka akola ebbaluwa esaba omuntu oyo akwatibwe (International Arrest Warrant). Ebbaluwa bw’eva ew’omulamuzi, agiweereza ewa Ssaabawolereza wa Gavumenti okukakasa nti tewali nsobi ekoleddwa naye bw’akizuula nti ensonga erimu eggumba, ng’awandiikira minisitule y’ensonga z’ebweru (Foreign Affairs). Minisita bw’amala okwekkaanya fayiro, awandiikira minisitule y’ensonga z’ebweru mu ggwanga gye babeera baagala okuggya omusibe (South Afrika mu nsonga eno). Minisita w’e South Afrika, naye awandiikire kkooti. Omulamuzi bw'akizuula nti omusibe (Agaba) ddala yazza omusango e Uganda nga kkooti emwetaaga avunaanibwe okusinziira ku mateeka ga Uganda, addamu n’awandiikira minisitule y’ensonga z’ebweru e South Afrika minisita n’awandiikira poliisi. Poliisi y’e South Africa erina okukwata Agaba emuwe ministule y’ensonga z’ebweru e South Afrika eyo y’erina okumukwasa poliisi ya Uganda avunaanibwe. Kino kye kyakoleddwa ne ku mubaka Tony Kipoi.
Olutalo lw'okuzza Patrick Agaba (PATO) 'eyatta' Suzan Magara lukalubye || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 12 Likes | 12 Dislikes |
| 5,350 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 20 Mar 2018 |
trending uganda youtube channel
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music this week
trending ugandan videos
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan movies
trending ugandan music
trending ugandan artists
trending ugandan gospel music
trending uganda music 2018
trending uganda inside story
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music 2018
trending ugandan music 2019
trending uganda youtube
trending ugandan mp3 songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét