
Ensonda zaategeezezza nti abatemu abasse Kirumira babadde bawuliziganya bulungi n’abamu ku basibe abataayatuukiriziddwa mannya obutataataaganya kunoonyereza okukyagenda mu maaso. OLUKWE lw’okutemula ASP Muhammad Kirumira, kizuuliddwa nga lwalukibwa mu kkomera, abasibe gye baali baggalirwa ku misango gy’obutemu nga kigambibwa obujulizi obwabakwasa bwali bwabaweebwako omugenzi Kirumira. Ensonda mu kitongole ekikettera munda mu ggwanga ekya ISO zaategeezezza Bukedde nti, abatemu abasse Kirumira babadde bawuliziganya bulungi n’abamu ku basibe abataayatuukiriziddwa mannya obutataataaganya kunoonyereza okukyagenda mu maaso. KIRUMIRA GWE YAWA BWINO KU BABADDE BAMULONDOOLA ASISINKANYE MUSEVENI Mu kiseera kye kimu, omusajja ayogerwako nti omugenzi Kirumira yamubuulira ku bantu abaali bamulondoola okumutta, kyaddaaki asisinkanye Pulezidenti Yoweri Museveni n’amubuulira bwino yenna akwata ku batemu. Omusajja ayogerwako kigambibwa nti abatemu naye babadde bamulinnya akagere olw’enkolagana gy’abadde nayo ne Kirumira, era nga n’olumu yakwatibwa n’aggalirwa mu kkomera ly’e Nalufenya, ku biragiro by’eyali akulira Poliisi, Gen. Kale Kayihura, kyokka oluvannyuma n’amuta nga tatwaliddwa mu kkooti olw’obujulizi okubula. Kigambibwa nti Minisita w’obutebenkevu mu ggwanga, Gen. Elly Tumwine, ye yakulembeddemu omusajja ono n’amutwala ewa Pulezidenti ku makya g’Olwomukaaga, era n’amubuulira buli kimu nga bwe kyali. “Bantwala ku Lwamukaaga ne nsula mu kifo ekyekusifu oluvannyuma enkeera ne ndaba Pulezidenti wabula bye twayogedde bikyali bya kyama nga mu kiseera ekituufu nja kuba mbitegeeza eggwanga kuba obulamu bwange nabwo buli mu matigga olw’ensonga nti mbadde omu kuboogera kaati nga nnyanika abanene mu Poliisi ababadde bakozesa abatemu misoni enkambwe omuli n’okutemula abanene mu ggwanga,” eyasisinkanye Museveni bwe yagambye. Bino we bijjidde nga waliwo okunoonyereza okugenda mu maaso okuzuula ensonga lwaki eyali akola ku fayiro y’okutemula Joan Kagezi, ku poliisi ya Kira Road, yagobebwa kyokka nga ye yalina bwino yenna akwata ku musango guno. For more #AGOMUMPAPULA click here - https://www.youtube.com/playlist?list... #RIPKirumira, #MuhammadKirumira, #TrendingUganda,#BebeCool,#FreeBobiwine,#Museveni, #Bobiwine, #PeoplePower_OurPower, #PeoplePowerOurPower, #KassianoWadri,#Chameleone, #Museveni, #bebecool,#Bobiwine, #Gossip, #Wolokoso, #Olugambo, #News, #Politics, #Uganda, #Kampala,#Arua
Olukwe lw’okutta Kirumira baalulukidde mu kkomera || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 23 Likes | 23 Dislikes |
| 6,404 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 17 Sep 2018 |
trending ugandan artists
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music
trending ugandan music this week
trending ugandan gossip
trending uganda music 2018
trending ugandan gospel music
trending ugandan hairstyles
trending uganda youtube channel
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2019
trending ugandan songs 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda inside story
trending ugandan videos
trending ugandan movies
trending ugandan music 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét