
AMAGYE agali mu kufeffetta abawamba n’okutta abawala, gakutte obutambi 16 okuli amaloboozi g’abatemu. Ebyakazuulwa biraga ng’abatemu emirundi egimu bapangisibwa okuwamba n’okutta abawala oba bo bennyini (abatemu) okuwamba omuwala bafune ssente okuva mu famire ye. Abawala abawambiddwa olw’okufuna ssente, emirundi egimu abatemu tebaba na kigendererwa kya kubatta wabula bafa lwa kutulugunyizibwa, okukubwa kalifoomu omungi oba okubatta olw’okutya nti bajja kulonkoma abatemu oba okuwa abeebyokwerinda amawulire agayinza okubayamba okutuuka ku batemu. Obumu ku butambi kuliko amaloboozi g’abatta Rose Nakisekka 17, ow’e Masaka eyawambibwa ku Ppaaka ya takisi Enkadde mu Kampala. Obutambi kuliko amaloboozi wakati w’abatemu, Nakisekka ne bazadde ba Nakisekka. Omulambo gwasangiddwa Nalumunye mu kiveera nga guvunze, era abatemu baali bamaze okutegeeza famire y’omuwala nti bamusse, omulambo bagutadde mu kiveera omuli akapapula kwe bawandiise amannya n’ebikwata ku Nakisekka. Baali basuubizza okugusuula mu bikajjo e Kawolo - Lugazi, kyokka ne bakwatibwa nga tebannaguggya Nalumunye mu kimu ku bifo we battira abawala. Nakisekka yaziikiddwa eggulo e Sembabule. AKATAMBI AKASOOKA Kaliko amaloboozi Nakisekka lwe yawambibwa ne bakubira kitaawe essimu. Omusajja akozesa essimu ya Nakisekka okukubira kitaawe Fred Kasagga. Taata wa Nakisekka: Halo, halo… Omutemu: Mzee. Nakisekka omumanyi? Ffe tumulina wuuno yogera naye… Nakisekka: Taata ndi n’abasajja. Bampambye. Bakambwe nnyo. Balina ebiso n’ebissi ebirala. Baagala ssente okundeka oba si ekyo bagenda kunzita. Omutemu: Mzee yanguya okutuwa obukadde 10. Totummalira biseera. Zituwe mu ssaawa mukaaga zokka, bwe ziggwaako tujja kukulaga awali omulambo gwa muwala wo. Kasagga: Ndi musajja mulimi sirina ssente. Omutemu: Vva mu by’okusaaga. Omuwala atubuulidde ssente muzirina. Kasagga: Omuwala alabika ayogedde kwetaasa. Tetuzirina. Omutemu: Ggwe onoomanya ebinaddirira. AKATAMBI AKOOKUBIRI Omutemu akuba essimu enkeera: Mzee obudde buggwaayo. Tonyooma mulimu gwaffe. Si ggwe osoose okutusasula ssente. bw’oba ojjukira omuwala eyawambibwa omulambo ne gusuulibwa e Mutundwe? Abavubuka baffe twasooka ne tubawaako obukadde bubiri n’ekitundu. Oluvannyuma nga bamaze ddiiru, twabongera ssente endala noolwekyo okubasaba ssente tuba tetwejalabya. MU KATAMBI AKOOKUSATU Kasagga yatya n’asalawo ne famire ne bafuna Hassan Mwanda, okwogerezeganya n’abatemu ku ssimu. Yasooka kutya ng’alowooza nti abeebyokwerinda bayinza okumukwata naye ne bamussa mu musango. Kyokka oluvannyuma yaguma. Omutemu: Halo, halo? Hassan: Ffe be musaba ssente tuli baavu. Tetulina gye tuggya bukadde 10. Omutemu: Totubuulira mandaazi. Muwala wo si gwe tusoose okuwamba, ndowooza oli mupya mu Uganda, tokimanyi nti n’okutta tutta. Olabika towuliranga ku muwala gwe basse. Olabika tolina ttivvi, wadde leediyo ebigenda mu maaso tobimanyi. Ogira ova ku ssimu, tulina omulimu omulala. Katugumalirize tujja kukuddira. Bannyini muwala ono nabo bavevenga nga ggwe. Tujja kumutta era ojja kumanya. Bwe tunaamutta, owuwo y’addako! (Ekiro ekyo Agataliiko Nfuufu gaafulumya mawulire nga famire ya Kasagga etuuzizza olukiiko n’okusaba abantu ssente nga zonna bafunye emitwalo 25). Enkeera abatemu ne bakuba essimu: Halo, halo? Ssebo, amawulire twagalabye ge mwatutte ku Bukedde kituufu muli baavu. Obukadde 10 tubasaliddeko mutuwe butaano. Hassan: Bassebo, mwongere okusala ku ssente. Tujja kunoonya kakadde kamu. (Hassa yategeezezza Bukedde nti ze baasonze kwagattiddwaako ez’omubaka omukyala akiikirira Kalungu, Aisha Sekidde ne baweza 1,500,000/-. Oluvannyuma lw’abatemu okubawa ennamba y’essimu baazisindise). Omutemu: Muweereze endala 150,000/- n’eziziggyayo Hassan: Tubawadde ze tulina. Omutemu: Kino kiyamba mmwe. Ssente si zaffe. Za kugula kiveera tuzingemu omulambo gwammwe. Twamukubye kalifoomu mungi. Tetwagala kwongera kumala budde. Obudde bwaffe mubwonoonye nga mututeganya olw’obusente. KU KATAMBI AKALALA Omutemu: Mulabika mulowooza owammwe gwe tusookeddeko okutta? Tulina emirimu mingi gye tutambuza ate nga tusooka kugissaamu ssente zaffe mpitirivu. Omuwala gwe twakatta ne tumusuula e Nalukolongo, temwamulaba? Ono ow’e Jinja e Mbiko naye temwategedde byamuguddeko? Mulabika temulina ttivvi. Bombi bafu. (Hassan yategeezezza Bukedde nti olwo amaanyi ne gabaggwaamu).
OKUWAMBA n'okutta abawala, Bagudde ku butambi 16 okuli amaloboozi gabatemu, Butiisa || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 8 Likes | 8 Dislikes |
| 2,452 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 24 May 2018 |
trending uganda youtube channel
trending ugandan celebrity news
trending uganda inside story
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music 2019
trending ugandan movies
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music this week
trending ugandan music 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gospel music
trending ugandan music
trending ugandan gossip
trending uganda youtube
trending uganda music 2018
trending ugandan videos
trending ugandan hairstyles
trending ugandan artists
trending ugandan entertainment news
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét