
BIIBINO abadde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Edward Kale Kayihura by’agenda okusubwa olw’okumuggya mu kifo ekyo. Ebyentambula; Y’abaddenga asalawo ekika ky’entambula ye munda mu ggwanga.+ Emirundi egisinga, abadde atambuza ennyonyi za poliisi zi namunkanga. Poliisi erina namunkanga nnya era emu ku zo ebaddengawo okutambuza omukulu ku mirimu. Abadde atambula n’emmotoka ssatu oba nnya nga kisinziira gy’alaga n’abantu b’atambudde nabo kyokka ez’etteeka nga ziri ssatu. Kubeerako Land Cruiser mw’atambulira ng’eriko n’ebitiibwa omuli bbendera ya poliisi. Kabangali bbiri ez’abakuumi mu maaso n’endala emabega. Eyokuna ebeerako bw’aba alina abagenyi b’atambudde nabo oba nga yeetaaze abayambi abawerako gy’alaga. Obukuumi; Abakuumi be babadde babalonda mu magye n’abamu abalina obukugu obw’enjawulo. Emmundu ezibadde zimukuuma ezisinga zibadde za njawulo nga zeezo ezigendamu amasasi 50 so ng’eza bulijjo ezisinga zigendamu 30. Obukuumi bumuweebwa awaka, mu kyalo gy’azaalwa, n’abafamire ye omuli abaana, omukyala ne bazaddebe. Ofiisi; Erimu buli kimu nga kisasulirwa Gavumenti okuva ku kizimbe mw’eri n’abayambi baamwo abasukka mu bataano. Ssente; Ofiisi ye ebadde efuna ssente mu buli bajeti esomwa buli mwaka eziyitibwa ‘classified’ ezitalagibwako nsaasaanya. Kigambibwa nti ziri obuwumbi buna. Eng'endo z’ebweru;Tikiti y’ennyonyi ey’ekikungu buli lw’agenda emitala w’amayanja ku mirimu gya Gavumenti alina kutambula nga mukungu. Tikiti gy’atambulirako ekubisaamu eya bulijjo emirundi egiwera. Obujjanjabi; Obubwe, obw’omukyala n’abaanabe. Omusaala; Kayihura abadde afuna 6,868,005/- buli mwezi ng’afunirako n’obusiimo obuwera. Buli lw’abadde atambula emitala w’amayanja, abadde alina okufuna akasiimo omuli ssente ezimulabirira. Kino kikolebwa buli lw’aba tasuze mu makage ng’ali ku mulimu. Ennyumba; Gavumenti emusasulira ennyumba, amazzi n’amasannyalaze. Gattako abakozi b’awaka omuli hawusigaalo, shamba boy n’abalala abakola guno na guli. Ebitiibwa; Abadde tayazibwa mu bifo eby’olukale ayitawo buyisi ne ku kisaawe Entebbe. yita mu bifo bya kikungu (VVIP). Ebitiibwa bye mulimu ne bbendera ya poliisi n’eyeggwanga mu ofiisi ye, mu mmotoka, n’awalala gy’alaze ne bendera ya poliisi okwewuubira ku mmotoka ye nga mwali. Akubirwa saluti buli wa poliisi gw’akulira mu ggwanga ate nga bonna y’abakulira. N’abajaasi ba UPDF okugyako abali waggulu w’eddaala lya General oba abali ku ddala eryo, balina okumukubira saluti. Ekitiibwa kya General ky’ekisinga obunene mu Uganda essaawa eno ne Pulezidenti Museveni ky’aliko lwakuba ye y’akulira buli mukwatammundu mu ggwanga. Ekitiibwa kya General, Kayihura yakilinnyisibwako mu 2005 bwe yali alondebwa okusikira Gen. Katumba Wamala mu kifo ky’obuduumizi bwa poliisi n’aggyibwa ne mu UPDF n’azzibwa mu poliisi. Abadde afuna n’ebirala bingi nga bwe biragiddwa mu tteeka lya Police Act.
Obulamu Kale Kayihura bw’agenda okusubwa nga omuduumizi wa poliisi || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 6 Likes | 6 Dislikes |
| 2,897 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 6 Mar 2018 |
trending ugandan music 2019
trending ugandan artists
trending uganda music 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda youtube channel
trending uganda inside story
trending ugandan gospel music
trending ugandan gossip
trending ugandan hairstyles
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music this week
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music
trending ugandan mp3 songs
trending uganda youtube
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2018
trending ugandan videos
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét