
PULEZIDENTI Museveni alagidde ba ‘Crime Preventer’ batwalibwe mu UPDF. Yabayise ggye zzibizi ery’amagye n’awakanya abalitwala ng’eggye lya Gen. Kale Kayihura. Era yayogedde ku Kayihura nga Kaada wa NRM omuwulize. N’agamba nti Kayihura bwe yali avunaanyizibwa ku byobufuzi mu magye, baalina enteekateeka ya ‘ba Crime Preventer’, bwe yajja mu poliisi n’akuhhaanya ‘ba Crime Preventer’. “Ba Crime Preventer ggye ly’amagye ezzibizi. Kayihura yeebale okulitandikawo mu poliisi,” bwe yagambye ng’asisinkanye abakulembeze ba “ba Crime Preventers” 2,000 e Lugogo eggulo. Baavudde mu ggwanga lyonna. Kigambibwa nti ba Crime Preventers bali obukadde 12. Museveni yagambye nti ayagala Uganda ebe n’eggye ttono kyokka nga lya mulembe eririna ebikozesebwa ebyomulembe nga n’abajaasi batendeke bulungi. Eggye lino ettono lyetaaga eggye ezzibizi eddene y’ensonga lwaki kyetaagisa ba Crime Preventers abangi kubanga tebasasulwa. N’alagira abakulembeze baabwe okukwatagana n’abaduumizi b’amagye okuttaanya ensonga eyo. Wabula yagambye nti wadde tebasasulwa kyokka beetaaga ensimbi noolwekyo abakulembeze baabwe bajja kukwatagana n’abakulira enkola y’okweggya mu bwavu “Operation Wealth Creation” babayambe. Yasembye buli muluka muveemu Crime Preventer omu atandike faamu abalala kwe banaalabira. Uganda erimu emiruka 5,000. Ba Crime Preventer baava wa? Museveni yagambye nti nga bali mu nsiko baalina abalwanyi abaakubanga emmundu, ba ‘Militia’ abataabeeranga mu nsiko, baabeeranga bakuuma bantu; obukiiko obwakolanga emirimu egy’enjawulo n’abantu baabulijjo be baatendeka mchaka mchakabano baamalangawo obusambattuko. “Abaali ba “militia’ mu nsiko kati beeyubudde, be ba Crime Preventer. Abo tebayinza kuba ba Kayihura. Bantu ba UPDF”, bwe yagambye olwo ne basaakaanya nti “kyekyo Mzee, Paka lasiti”. Yababuulidde amakubo g’okugaggawala. Kuliko okulima ebintu eby’okutunda nga bataddemu ekibalo, amakolero, okukola abalala bye beetaaga (services) n’ebya tekinologiya. Yalagidde abakulembeze baabwe bakole ebibinja mwe banaafunira ensimbi bagule ebyuma bye banaakozesa mu bukolero obutono. ABASUUBIZZA OBUKADDE 1300 Akulira ba Crime Preventer mu Uganda, Blaise Kamugisha yategeezezza Museveni nti, balina SACCO yaabwe gye baatandikawo okwekulaakulanya, ebayambye okugula bye beetaaga mu mirimu gyabwe okukuuma emirembe n’okuziyiza obumenyi bw’amateeka. Museveni kino kyamusanyusizza n’abategeeza nti, mu July w’omwaka guno, agenda kuteeka akawumbi kalamba n’obukadde 300 mu SACCO eno n’agamba nti kino kiba kitegeeza nti, buli SACCO y’aba Crime Preventer ku mutendera gwa disitulikiti agenda kubawa obukadde 100. Nabo beeyamye nti bajja kufa n’omuntu yenna anaatambaala Museveni. “Okukola obwambega ku bazzi b’emisango ku kyalo temwetaaga kubeera nnamba nnene, mukimanyi bino mbimanyi bulungi. Munyweze obukulembeze ku byalo kubanga eyo y’esibuka obumenyi bw’amateeka ate temweraga, mukolerere nnyo okuweebwa ekitiibwa okusinga okubatya,” bwe yagambye. Yategeezezza nti, ennaku ezo yasomye amawulire nga bawandiise nti ebiseera bya ba Crime Preventer eby’omu maaso byesigamye ku mumyuka w’omuduumizi wa poliisi Brig. Sabiiti Muzeyi n’amutegeeza nti, tasaanye kweraliikirira ku nsonga yaabwe. Kamugisha yagambye nti, baakuuma akalulu ate nabo ne balonda n’ategeeza Museveni nti, akalulu bwe kaggwa, babadde bayamba poliisi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka era bangi ku bamenyi b’amateeka babakutte ne babawa poliisi.
Museveni awaanye kayihura: Alagidde ba ‘Crime Preventer’ batwalibwe mu UPDF || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 4 Likes | 4 Dislikes |
| 839 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 29 Mar 2018 |
trending ugandan celebrity news
trending ugandan movies
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube channel
trending ugandan hairstyles
trending ugandan entertainment news
trending ugandan videos
trending uganda music 2018
trending uganda youtube
trending ugandan music 2019
trending ugandan gospel music
trending ugandan gossip
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda inside story
trending ugandan music 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music this week
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music
trending ugandan artists
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét