
Stay updated! 🔔 Subscribe Now https://goo.gl/EgnKzy Palamenti ya Zimbabwe eyitiddwa bukubirire enkya ku Lwokubiri, ababaka okuyisa ekiteeso ekiggyamu Pulezidenti Mugabe obwesige. Mugabe azize okunywa n’okulya n’agamba nti waakiri okufa okusinga okuswala mu bantu abaamulonda ng’asuulawo obuyinza bwe baamuwa. Kiddiridde olukiiko olufuzi olw’ekibiina kye ekya ZANU PF okumugoba ku Ssande ne bamusikiza Emmerson Mnangagwa gw’abadde yaakagoba mu kifo eky’omumyuka wa Pulezidenti, ekifo ng’ateekateeka okukironderamu mukyala we Grace Mugabe. Teyakomye awo, wabula yagaanye n’okuddamu okwogera ekikalubizza n’enteeseganya ezaabadde zitegekeddwa. “Pulezidenti azize buli kyakulya na buli kyakunywa era agaanyi okwogera n’omuntu yenna nti waakiri k’afe naye tajja kukkiriza kumuswazaswaza” Munisita w’abakozi ba Gavumenti, Patrick Zhuwao bwe yategeezezza eggulo. Minisita Zhuwao nga kizibwe wa Mugabe (mutabani w’eyali mwannyina wa Mugabe omugenzi Sabina Mugabe) yasinzidde mu South Afrika gye yaddukidde ng’amagye gawambye Gavumenti ya kkojjaawe. Yagambye nti yayogeddeko n’aba famire yaabwe abali ne Mugabe mu maka ge agayitibwa “Blue Roof” w’akuumirwa mu kitundu ky’e Borrowdale Brook mu kibuga Harare ne bamutegeeza nti Pulezidenti yagaanyi okulya oba okunywa oba okubimuliraanya era akeediimo kano yakatandise ku makya ga Ssande. Ensonda mu kibiina kya ZANU PF zaategeezezza nti Mugabe yali yakisalawo dda nti waakufiira ku Bwapulezidenti y’ensonga lwaki yagaanyi ddiiru zonna Bannamagye ze baamuwadde akkirize okuva mu buyinza mu mirembe kuba ye kyamuyingira mu bwongo nti okuva ku Bwapulezidenti ng’amaze kufa. Olumu yagamba nti ne Katonda ayinza okumunyiigira ng’avudde ku Bwapulezidenti bwa Zimbabwe! Ky’asinga obutaagala, kwe kubeera mu Zimbabwe ng’efugibwa omusajja Mnangagwa era mu nteeseganya ezaasoose ng’ali ne Bagenero yababuuzizza oba tebalinaayo muntu mulala gwe basobola kuleeta ku Bwapulezidenti nga si Mnangagwa; kyokka ne bamutegeeza nti oyo Bammemba b’ekibiina kya ZANU PF gwe baagala. Ensonda mu magye zitegeezezza nti Gen. Constantino Chiwenga eyakulidde okuwamba ateekateeka okuwaliriza Mugabe okulya nti era waakiri ebyokulya banaabiyisa mu bupiira naye nga tebakkirizza by’asaba era tebajja kumukkiriza kutondoka njala kuba kiyinza okuleetawo akavuyo akalala. Minisita Zhuwao yagambye nti okuva ku Lwokubiri amagye lwe gaawamba obuyinza, Mugabe takyebaka, ali mu birowoozo ng’oluusi n’amaziga gamuyitamu olw’engeri gye baamusuuzizza obuyinza. AMAGYE GAZZEEMU OKUSISINKANA MUGABE Omuduumizi w’amagye ga Zimbabwe, Gen. Constantino Chiwenga ne bannamagye ab’oku ntikko bazzeeyo mu maka g’Obwapulezidenti okusisinkana Mugabe okuddamu okumumatiza akkirize okulekulira mu mirembe. Akafubo kaabadde kaakutambula ekiro kya Ssande kyonna nga kakubirizibwa Faaza Fidelis Mukonori. Mugabe n’okutuusa ku Ssande yabadde akyawera nti si waakulekulira, Gen. Chiwenga ne bw’anaawanula enjuba mu ggulu era nti ye mwetegefu okufiira ku kituufu. Amagye gaabadde gaperereza Mugabe akkirize okulekulira, obuyinza bukwasibwe Mnangagwa asseewo gavumenti ey’ekiseera okutuuka mu kulonda okwa 2018 kyokka Mugabe byonna yabigaanyi ng’agamba nti Konsitityusoni ya Zimbabwe y’erina okugobererwa mu kukyusa obukulumbeze era ayagala bamuleke amaleko ekisanja kye ekiggwaako mu 2018. For more #Agomumpapula episodes https://www.youtube.com/playlist?list... #Kaweesi #AndrewFelixKaweesi #Uganda #TrendingUganda #Trending #ChristineMbabazi #Bobiwine #FrankGashumba #Amawulire Kamusungusungu, Agomumpapula agajjudde ebisoko, engero n'okugeraageranya. nyumirwa oluganda !! #GraceMugabe
MUGABE bamugonzezzza, azize emmere n’ebyokunywa || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 7 Likes | 7 Dislikes |
| 2,024 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 20 Nov 2017 |
trending ugandan music
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2019
trending ugandan music 2018
trending ugandan gospel music
trending ugandan gossip
trending uganda music 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan videos
trending ugandan artists
trending ugandan gospel songs
trending uganda inside story
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music this week
trending uganda youtube channel
trending ugandan movies
trending uganda youtube
trending ugandan hairstyles
trending ugandan mp3 songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét