
Stay updated! 🔔 Subscribe Now https://goo.gl/EgnKzy #Mugabe olwalabye omutwe gw’ekiwandiiko nga gwogera “KULEKULIRA” yagaanyi wadde okuddamu okutunula ku kiwandiiko ekyo n’asitukawo addeyo mu kisenge, kyokka Gen. Chiwenga n’amwesimba mu maaso nga bw’amugamba nti “Comrade Mugabe kino kirina okuggwa olwaleero era kati era wano kubanga kiyamba ggwe n’eggwanga lyaffe lyonna”. OKUVA amagye lwe gaasazeeko amaka ga Mugabe, ensiitaano eyaddiridde ya kumukkirizisa akole abajaasi bye baagala. Olwokuna lwonna, amagye gaalumazeeko nga gakyali mu kuyiiya ekiddako oluvannyuma lwa Pulezidenti Robert #GabrielMugabe 93, okugaana okusoma ekiwandiiko kye baabaadde bamutegekedde ng’alangirira nti alekulidde. Omuduumizi w’amagye, Gen. Constantino Guveya #Chiwenga eyakulidde okuwamba, ne ba Genero abalala okuli omuduumizi w’eggye ery’oku ttaka Gen. Phillip Valerio #Sibanda n’omuduumizi w’eggye ery’omu bbanga Air Marshal, Perrance Shiri beesitudde ne bagenda okusisinkana Mugabe mu maka ag’Obwapulezidenti agayitibwa ‘Blue Roof’. Bwe batuuse mu ‘Blue Roof’ mu kitundu eky’e Borrowadale Brook, ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro ku Lwokusatu ba Genero baagenze butereevu mu kisenge bya Mugabe gye baamusanze ng’atudde ku buliri. Omu ku bajaasi mu ggye eryawambye erya Zimbabwe Defence Forces (ZDF) yategeezezza munnamawulire w’olupapula lw’amawulire e Zimbabwe oluyitibwa Chronicle nti Mugabe akyabasobedde kubanga tebaagala kumutuusaako buzibu bwonna, wabula abaanukula n’ekkabyo ng’alinga alowooza nti akyalina obuyinza. Yagasseeko nti essaawa nnyingi azimala yeebase, era ne bwe bamugolokosa yeefuula atawulira n’abulizaako. ENGERI MUGABE GYE YAKAMBUWALIDDE ABAAMUWAMBYE Mu kugenda mu kisenge, Mugabe baamusanze ali mu birowoozo wabula bwe yalabye bayingidde ne yeekung’aanya n’adda ku buliri waggulu ne yeefuula abadde yeebase. Baamulemeddeko ne bamulagira atuule boogere era wakati mu kwekaka n’akkiriza babeeko bye boogera. Nga tebannatuuka mu kisenge, nti baasoose kumuyita mu ddiiro eddene kyokka n’agaanira mu kisenge, abajaasi kwe kumulumbayo. Nga bakyali mu ddiiro, yasoose kubaboggolera ng’ababuuza kye bamwagaza. Yabalagidde bave mu maka ge bagende kubanga talina ky’abeetaaza era kino ky’ekyabatanudde ne bagenda mu kisenge bamuggyeyo. Gen. Chiwenga bwe yalabye nga “Uncle Bob” (erinnya lye batera okumuyita) yeefudde wa ggume kwe kumugamba nti ensonga gye baliko nkulu ssi ya kusaaga ne Gen. Sibanda n’ajjuuliriza nti ensonga ebasitudde bonsatule ekwata ku ggwanga n’olwekyo alina okubawuliriza oba ayagala oba tayagala. Baamuwadde amagezi nti abeere mukkakkamu ng’ayogera nabo kubanga mu kiseera kino y’asinga okufuna mu kwogeraganya okusinga amagye. Baabadde boogerera kumukumu, olwo Mugabe kwe kubagamba nti eby’okumuleekaanira bakimanyi tabyagala era nti bwe babeera tebasobola kwogera omu kw’omu, bamuviira kubanga teyeewulira bulungi. Ekyaddiridde kaabadde kasiriikiriwo, Mugabe n’abasaba bafulume, abasange mu ddiiro n’agattako nti ate ne mu ddiiro, ajja kulaba omu kw’omu sso ssi kibinja ky’abantu. For more #Agomumpapula episodes https://www.youtube.com/playlist?list... #Kaweesi #AndrewFelixKaweesi #Uganda #TrendingUganda #Trending #ChristineMbabazi #Bobiwine #FrankGashumba #Amawulire Kamusungusungu, Agomumpapula agajjudde ebisoko, engero n'okugeraageranya. nyumirwa oluganda !! #GraceMugabe
Mugabe agaanyi okusoma ekiwandiiko ekirekulirai || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 6 Likes | 6 Dislikes |
| 2,383 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 17 Nov 2017 |
trending ugandan hairstyles
trending uganda music 2018
trending ugandan gossip
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube channel
trending ugandan songs 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan movies
trending uganda youtube
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda inside story
trending ugandan music
trending ugandan gospel songs
trending ugandan artists
trending ugandan music this week
trending ugandan celebrity news
trending ugandan videos
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gospel music
trending ugandan music 2019
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét