
OMUBAKA Nabilah Naggayi Sempala alumirizza Dr. Kizza Beigye okubeera embega w’emivuyo n’enjawukana eziri mu FDC. “ Tewali muntu asse demokulaase n’okutabulaatabula FDC nga Besigye. Ekibiina akitwala nga kkampuni ey’obwannannyini by’ayagala by’akola,” Nabilah bwe yamulumbye n’anenya Bannayuganda abamutiitiibya n’okumuwaana abamutuusizza okwefuula ow’ekitalo ennyo. Nabilah okugugumbula Besigye kiddiridde enkyukakyuka ezaakoleddwa Pulezidenti wa FDC, Patrick Oboi Amuliat mu bakulembeze b’oludda oluvuganya mu Palamenti kyokka Nabilah yagambye nti Besigye y’ali emabega olw’entalo ze ne Mugisha Muntu ne bammemba ba FDC abalala abatakkaanya n’enkola ze. Enkyukakyuka mu bifo, ne ofi isi, Nabilah yagambye nti ssi mbi kyokka waliwo okwekuba enkokola, okuwaayiriza n’entalo n’agamba nti omuntu atabulatabula si mulala wabula Besigye. Yagambye nti Pulezidenti wa FDC, Amuliat aliwo nga kisiikirize kya Besigye n’agattako nti entalo eziri ku kitebe e Najjanankumbi zitiisa nga buli muntu yeekengera munne. Yasiimye emirimu egikoleddwa Winnie Kizza abadde akulira oludda oluvuganya mu Palamenti n’amwebaza okukkiriza okuwaayo ofi isi eri Betty Achan naye akwate mu nkasi kyokka ne yeekokkola kye yayise obunnanfuusi, obulimba n’okweyisaako ebiri mu FDC n’agamba nti bye bisse ebyobufuzi mu Uganda. Yagambye nti mu FDC, omuntu ayogera amazima bamutwala ng’omulabe ate bw’oba olina obutakkaanya na Dr. Besigye olwo bakuyita mbega wa Museveni era ofuuka muyeekera wa kibiiina. Yategeezezza nti Gen. Muntu ye muntu asinze okulugwamu nga bamuyita mbega so nga ye mukulembeze (Muntu) agoberera n’okussa ekitiibwa mu nfuga ya demokulaase. “ Okuviira ddala mu 2008, Muntu lwe yasooka okuvuganya Besigye, bonna abaali ku ludda lwe (Muntu) baafuulibwa abayeekera era bambega n’okutuusa essaawa ya leero. Embeera eno y’etuusizza abakulembeze abamu okwabulira ekibiina kya FDC. “Mbadde nasirika kubanga ebiseera ebimu nneetaaga okusigala nga ndi mulamu naye bwe ndaba nga Bannayuganda babuzaabuziddwa era baliiriddwaamu olukwe, kinkakatako okutangaaza ekigenda mu maaso”, bwe yagambye. AKALULU KA ARUA Besigye ne Bobi Wine bagenda kuddamu okwegera eryanyi mu kalulu ak’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Arua Munisipaali ekyalimu omugenzi Col. Ibrahim Abriga eyatemulwa nga June 8, 2018. Abeesimbyewo bali 12 kyokka okuvuganya okw’amaanyi kuli wakati w’abantu basatu: Nusura Tiperu owa NRM, Bruce Musema owa FDC ne Kasiano Wadri atalina kibiina. Besigye ali ku Musema kyokka Mugisha Muntu, Bobi Wine n’abamu ku bakulembeze mu FDC n’ebibiina ebirala bali ku Wadri. Akalulu kakubwa ku Lwokusatu nga August 15. For more #BINSANGAWANO click here https://www.youtube.com/playlist?list... #FDC, #Besigye, #NabilahNaggayi
MP Nabilah Naggayi Sempala akunamidde Besigye || BINSANGAWANO - YouTube |
| 8 Likes | 8 Dislikes |
| 752 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 13 Aug 2018 |
trending uganda youtube channel
trending ugandan gossip
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music this week
trending ugandan music
trending uganda youtube
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan artists
trending ugandan music 2019
trending ugandan gospel music
trending ugandan entertainment news
trending ugandan songs 2018
trending uganda inside story
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan movies
trending uganda music 2018
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music 2018
trending ugandan celebrity news
trending ugandan videos
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét