
Amabugo ga Moze amalala gazuuse gye gali Abayimbi bangi kigambibwa nti tebaawaayo ssente zitegeerekeka. FAMIRE ya Moze etegeezezza nti waliwo ssente z’amabugo endala ze batafunanga ezaasoloozebwa Mesach Ssemakula, Dr. Hilderman, Silver Kyagulanyi n’abayimbi abalala abeegattira mu kibiina kya Uganda Musicians Association. “Balaam yaweebwa ssente nnyingi. Kyokka waliwo n’amabugo amalala ge tutafunanga,” aba famire bwe baategeezezza Bukedde eggulo. Kino kyongedde okuwanvuya eby’amabugo ga Moze naddala bwe kitegeerekese nti mikwano gye okuli abayimbi abaasimba ennyiriri okuwaayo ssente z’okuyamba bamulekwa e Kololo baawaayo binusu bya 500/-! Kamera ya yakutte abayimbi Winnie Nwagi ng’asuula mu kabokisi 2,000/-, Michael Kinene bba wa Doreen Mutiibwa aba Golden Band yawaddeyo 2,000/-, Maama Sam ne Taata Sam bakazannyirizi ba ‘Katusekemu’ baasuddemu 1,000/- buli omu. Moze bwe yamaze okuziikibwa nga February 3, famire ye yakitadde ku Balaam nti yabuzaabuzizza amabugo okuli ne ssente obukadde 10 ezaaweebwayo Bryan White. Kyokka Balaam yatangaazizza nti tewali ssente zaabuze n’awa n’ensaasaanya. Kati bagamba nti ng’oggyeeko Balaam, abayimbi abalala okuli Mesach, Dr. Hilderman ne Kyagulanyi baalabibwa nga basolooza amabugo nga bagawandiika mu bitabo. Twayogedde ne Hilderman n’akkiriza bwe baasolooza amabugo ng’ali ne Mesach n’abalala. Kyokka n’agamba nti ssente baaziwa nnamwandu Lillian Mbabazi kubanga muyimbi ate bali naye mu kibiina kya Uganda Musicians Association. Wabula Lillian tetwasobodde kumufuna kutangaaza ku nsonga eyo. Hilderman bwe yabuuziddwa ssente ze baawaddeyo, yajulizza Julius Kyazze akulira ekibiina ky’abayimbi ekya Swangz omuyimbira Nwagi n’abalala. KYAZZE AYOGEDDE Kyokka Kyazze bwe yatuukiriddwa ku ssimu eggulo, yeebuuzizza lwaki buli omu ayagala kwogera ku bya mabugo mu kifo ky’okwogera ku birala okuli okuyamba bamulekwa. Yagaanyi okwogera ssente ze baawa Lilian era tayagala kudda mu ndooliito za mabugo. Ssente endala ab’ekika ze balowooza okubbibwa zaaweebwayo mu kabookisi e Kololo, nga bagamba nti okusinziira ku bantu abangi abaasonda nga n’abasinga baali basereebu, tekisoboka kubeera nga mwavaamu 5,000,000/- zokka. Kyokka abayimbi bangi kigambibwa nti tebaawaayo ssente zitegeerekeka. David Lutalo agambibwa nti yawaayo busente butono yagambye: Nze nzikiririza mu Bayibuli egamba nti omukono ogwa ddyo bwe guwa ogwa kkono guleme okumanya ogwa ddyo kye guwaddeyo. Eddy Kenzo: Nawaayo ebimu ku byuma ebyayamba mu lumbe naddala ebivuga. Bebe Cool: Toyinza kummanja mabugo nga nze ne Balaam ffe twakuba amasimu ewa Pulezidenti Museveni eyawaayo ssente ezaakola ku bujjanjabi. Dr. Jose Chameleone eyali asuubirwa okuyamba, kyategeezeddwa nti tewali we yawandiikibwa mu kitabo ky’amabugo. Kyokka twategeezeddwa nti ali Congo ne tutasobola kumufuna ku nsonga eno. Abamu ku bayimbi baategeezezza nti baali tebayinza kuwa mabugo nga baasula mu mpewo e Kololo nga bayimba ate ku bwereere noolwekyo ago ge mabugo ge baawa. 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥 For more Ebibadde mu #Ggwanga episodes click here https://www.youtube.com/playlist?list... #Kaweesi #AndrewFelixKaweesi #Uganda #UgandaPolice #Police #TrendingUganda #Trending #ChristineMbabazi #Bobiwine !! #SaveUgMusic #SaveUgandaMusic #TaataSam #MaamaSam #Katusekemu #MathiasWalukagga #Walukagga #SaveUgMusic #SaveUgandaMusic, #SaveUgandanMusic #TrendinginUganda #EddySendi #EdwardSendi #MosesRadio #MozeRadio #Kasuku #TalkandTalk #RadioandWeasle #DjMichael #EddyKenzo #Kasuku #Wolokoso #Gossip, #UgandanGossip, #Olugambo, #EbibaddemuGgwanga, #Kogikuteko
Mesach Ssemakula ne Hilderman babulankanya amabugo ga Moze Radio || Ebibadde mu Ggwanga - YouTube |
| 10 Likes | 10 Dislikes |
| 2,624 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 13 Feb 2018 |
trending ugandan gospel music
trending ugandan hairstyles
trending ugandan songs 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube channel
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2019
trending uganda music 2018
trending ugandan movies
trending uganda inside story
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda youtube
trending ugandan music
trending ugandan music this week
trending ugandan gossip
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity news
trending ugandan videos
trending ugandan gospel songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét