
MAAMA w’Omukama wa Toro, Best Kemigisha akatemye ab’olulyo olulangira abaamuloopa mu kakiiko k’ettaka okutunda ettaka lyabwe nti ssente Gavumenti ze yamusasula, looya we yazimuferako n'azibba. Kemigisha yagambye omulamuzi Catherine Bamugemereire nti yatunda yiika ezisoba 7,916 gavumenti n'emusasula obuwumbi buna n’obukadde 600 ng’eziyisa mu looya we Bob Kasango kyokka yamuwaako akawumbi kamu n’obukadde 300 n'akuuliita n’obuwumbi busatu n’ezigwamu. “Owekitiibwa oba akakiiko kano kazze kuyamba ffe bannamwandu, nnyamba kubanga ngezezzaako buli kimu okununula ssente zange naye bigaanyi nagenda mu kkooti ne ndoopa Kasango emisango gyonna ne ngiwangula naye ssente zinnemeddeyo,” Kemigisha bwe yayogedde ng’akaaba. Yagambye:olutalo lw’abannwaanyisa terutandise kati. Omwami wange Kaboyo yali tannafuuka Omukama baagezaako okumulwanyisa nga tebaagala abafuge nze nagenda okumufumbirwa ng'olukonko luno we luli. Bwe yafa baali tebaagala nze n’abaana bange tusigaze kintu kyonna era twagenda mu kkooti nga njagala obuyinza okuddukanya ebintu by’omugenzi. Bagamba nti omugenzi yaleka mpale n’amasaati zokka teyalina ttaka naye ne mbasinga. Mu kifo ky’okupaabira ne baanika obuziina bwaffe mu lujjudde, abannwanyisa bandibadde banneebaza olw’okubakuliza n’okusomesa Omukama Oyo ne mutuusa waali kati yadde ndi nnamwandu. Kitaawe yanfaako nga nkyali muto era saddamu kufumbirwa ne nsalawo okukuuma ekitiibwa ky’Obukama. Ab’olulyo olulangira abaakulembeddwaamu omulangira Patrick Alaari Kasagama n’abaana b'eyali Omukama George Rukidi 111 taata wa Kaboyo bawaaba Kemigisha mu kakiiko nga bagamba nti yatunda ettaka kitaabwe Rukidi lye yabalekera omuli n’ebifo ebyobuwangwa. Baawandiikira ne gavumenti nga bagisaba eteekewo akalulu k’ekikungu aba Toro balonde oba nga bakyetaaga Obukama ne bagisaba gavumenti egira erindako okubaddiza ebyabwe eby’obukulembeze bw'ennono okutuusa ng'obutakkaanya bwabwe bugonjoddwa. Bano bagamba nti emigabo gyabwe gyonna ku ttaka lye baasikira okuva ku kitaabwe Rukidi gyawandiikibwa mu mannya ga Kaboyo n'ekigendererwa ky’okulikuuma kyokka Kemigisha bwe yali atunda teyalowooza ku balala yakwata byapa olw’okuba byali mu mannya ga bba Kaboyo ng'ettaka lyonna alitunda ne ssente azeekomya. Kemigisha 51, yagambye nti yafumbirwa Kaboyo mu January 1987 ne babeera bombi okutuusa August 26, 1995 lwe yattibwa naye teyamugambako nti ku ttaka lyonna eriri mu mannya ge kuliko emigabo gya baganda be n’abantu abalala. "Kaboyo yannaambuzanga ettaka. Lwaki bandeka ne nkyusa ebyapa okuva mu mannya ga Kaboyo ne mbiteeka mu gange ng’amaze okufuna obuyinza." Yagambye nti ye ab’olulyo b'amanyi be baana Omukama. Abalala beerimbaka mu ky’okubeera abalangira n’abambejja kyokka si kituufu. Looya w'akakiiko John Bosco Suuza yamugambye nti: Bwe baba bagamba nti watunda ebintu byonna eby'Obukama nga bino byali mu mannya ga Kaboyo, waliwo ekintu kyonna ekyasigalawo ky'oyinza okugamba nti kino kya Bukama. Kemigisha: Nze bye natunda byali bya Kaboyo ng’omuntu so si Bukama. Katikkiro w’Obukama ne minisita w’ebyensimbi bamanyi ebintu by’Obukama we bisangibwa era bw'oba oyagala osobola okubabuuza gye biri. Suuza: Lwaki olowooza abantu bano tebakwagala okutuuka okuloopa mu kakiiko era osuubira tusobola okubatuuza mwenna? Kemigisha: Tebaakyawa nze nzekka, wabula n’omwami wange, buli lw’osoma amawulire oba n’ogenda ku mikutu gya yintanenti ng’onoonya erinnya lyange, abantu bansomako biswaza byokka era bano be bali emabega waabyo. Sirowooza nti tukyasobola okutuula kubanga ensonga ze twandibadde tumala nga tutudde ate be bazireeta mu lujjudde. Suuza yamuggyiddeyo ebbaluwa ezaawandiikibwa Kaboyo ng'annyonnyola emigabo baganda be gye balina ku ttaka naye Kemigisha yagambye nti ebbaluwa zino njingirire kubanga amanyi engeri omwami we gye yali awandiikamu. Wano akakiiko we kaamutumidde aleete ebiwandiiko by'alina omwami we bye yawandiikako bageraageranya kyokka n'agamba nti tasuubira nti gye biri kubanga byabbibwa mu biseera by’entalo. Kemigisha era bamulumiriiza nti alina ekitabo ekimanyiddwa nga “Kyebambe lijesita” kyasirikidde nga muno mwe muli engabanya n’obuwandiike bwonna obukwata ku by’ettaka n’engabanya yaalyo. For more click here - https://www.youtube.com/playlist?list...
MAAMA w’Omukama wa Toro, Best Kemigisha akabye amaziga mu kakiiko k’ettaka || BINSANGAWANO - YouTube |
| 3 Likes | 3 Dislikes |
| 997 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 24 Apr 2018 |
trending uganda youtube
trending ugandan gospel music
trending ugandan music
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music this week
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2019
trending uganda music 2018
trending ugandan videos
trending ugandan songs 2018
trending ugandan artists
trending ugandan movies
trending uganda inside story
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube channel
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét