
Okumpi ne we battira Andrew Felix Kaweesi, waaliwo emmotoka eyali efiiridde ku kkubo nga bamakanika babiri bagikanika. Ebyaliwo byonna baabiraba era ne bakuba ebifaananyi ebyakwatiramu n’abatemu. Wabula oluvannyuma baali badduka baveewo, abatemu ne babalaba kyokka ne batasobola kubakwata. Bamakanika bano baalondoolwa era omu n’asalibwako omutwe, omulambo gwe ne bagusuula e Masaka. Obujulizi buno bwazuuliddwa bambega ba ISO ne CMI abeefunyiridde okuzuula ekituufu ku nfa ya Kaweesi. Kaweesi yatemulwa nga March 17, 2017 e Kulambiro okumpi n’amaka ge. Yatemulwa ne ddereeva we Godfrey Mambewa n’omukuumi we Kenneth Erau. Bamakanika okuli eyakazibwako erya Mukwasi baali bakolera ku galagi emu e Kabowa - Ndeeba. Waliwo kasitoma eyakuba essimu ku galagi ku Lwokuna nga March 16, ekiro ng’ayita bamakanika kubanga emmotoka ye Toyota Harrier yali efiiridde ku kkubo e Kulambiro. Baakeera ku Lwokutaano, Kaweesi lwe yattibwa, okukanika emmotoka eyo. Bano baalaba buli kintu okuva ku muserikale wa poliisi agambibwa okuba Abel Kitagenda (yakwatibwa) eyavuga pipikipi okugenda ku geeti ewa Kaweesi n’alabibwa ng’ayogera n’abaserikale. Baakozesa essimu ne bakuba ebifaananyi, era abatemu oluvannyuma baalaba bamakanika kyokka ne batasobola kubakwata. Ebintu byaboonoonekera luvannyuma lwa poliisi kussaawo kirabo kya bukadde 100 eri oyo anaawa amawulire amatuufu agatuusa poliisi ku kukwata abatemu. Abavubuka beetwala ku kitebe kya poliisi e Naguru era baasobola okulaba omu ku boofiisa. Ofiisa yalagira omuyambi we ayitibwa Silas abatwale mu woteeri emu baweebwe obukuumi. Kyokka bamakanika byabasobera abaserikale bwe baatandika okubatulugunya nga babuuza gye baggye obujulizi. Baabaggyako essimu zaabwe okuli ebifaananyi. Makanika omu Mukwasi yafuna omwagaanya w’atolokera n’agenda yeekukuma mu kyalo e Mbale. Wabula we yaddukira yali amaze okuwa abaserikale byonna ebimukwatako okuli ne gy’akolera (Kabowa), gy’asula e Kawaala – Kasubi ne gy’ava e Mbale. Abaserikale baamunoonya okutuuka e Mbale mu Bugisu gye baamuggya. Okuddayo okuwuliza Mukwasi ng’attiddwa omulambo gwe ne gusuulibwa e Masaka. Gwasangibwa gusaliddwaako omutwe. Munne (amannya galekeddwa) yatulugunyizibwa nnyo kyokka ng’akyaliyo mulamu. ISO NE CMI BAFUNA EBIFAANANYI Amagye gaayazizza amaka g’omu ku baserikale abaakwatiddwa ku by’okutemula Kaweesi. Mu bye baasanzeeyo kwabaddeko essimu bbiri okuli eya Mukwasi ne munne. Ku ssimu kuno munne wa Mukwasi yabadde amaze okutegeeza bambega nti kuliko ebifaananyi ebyakubwa abatemu nga batta Kaweesi ne byonna ebyaliwo. Kyokka ebifaananyi byali byasangulwako. Bambega baatutte essimu ne bakozesa tekinologiya okukomyawo byonna ebyali ku ssimu. Ebifaananyi byonna ne baddamu okubifuna. Kyategeezeddwa nti ebifaananyi byalaze abamu ku baserikale abaakwatibwa kyokka birimu n’abantu abalala abatannakwatibwa. Munne wa Mukwasi ali mu mikono gy’abebyokwerinda ajja kukozesebwa ng’omu ku bajulizi mu musango guno.For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥
KITALO : Makanika eyalaba nga batta Kaweesi baamunoonya ne bamusalako omutwe || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 37 Likes | 37 Dislikes |
| 12,662 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 27 Jun 2018 |
trending ugandan music
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube
trending ugandan music this week
trending uganda inside story
trending ugandan videos
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gospel music
trending ugandan hairstyles
trending ugandan songs 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music 2019
trending ugandan gossip
trending ugandan celebrity news
trending uganda music 2018
trending ugandan movies
trending ugandan entertainment news
trending uganda youtube channel
trending ugandan artists
trending ugandan music 2018
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét