
Eyali omubazi w'ebitabo mu monitor yattiddwa omulambo gwe ne gusuulibwa mu kabuyonjo OKUZUULA omulambo gw’eyali omubazi w’ebitabo mu Monitor, poliisi yeesigamye ku bujulizi bw’omwana ow’emyaka omusanvu. Abel Katende eyali omubazi w’ebitabo mu Monitor kyokka n’awummula n’atandika okwekozesa yekka ng’abadde asinga kwemalira ku byabulimi, yasooka kubuzibwawo wiiki ewedde, poliisi n’ebakana n’omuyiggo okutuusa lwe kyazuuliddwa nga yattmulwa mu ntiisa omulambo gwe ne gusuulibwa mu kaabuyonjo y’amaka ge e Wampeewo-Luteete. Omwana Kazibwe eyawulira Katende ng’alaajana, abatemu bamusanjaga ye yattottoleredde bambega ba Poliisi byonna bye yawulira olwo ne bagoba obuufu okutuusa lwe baazudde omulambo gwa Katende mu kaabuyonjo gye gwabadde gwasuulibwa nga gusibiddwa mu kkuyita ng’ekitereke. Kazibwe mwana wa mutuuze ku kyalo Busaawa -Mmanze mu ggombolola ya Masuulita mu disitulikiti ya Wakiso nga maama we yali yamukwasa Katende abeere naye ng’amuyambako okumukuuma awaka w’abadde abeera yekka. Katende abadde aludde nga yafuna obutakkaanya ne mukyala we ow’empeta Janet Namugenyi Katende n’amusindiikiriza n’amugoba mu maka ge e Luteete nga yamugobako n’abaana bonna 11 ng’abadde abeera yekka ku faamu ye e Busaawa, Mmanze mu ggombolola y’e Masuliita. Kigambibwa nti, Namugenyi n’abaana be Gideon Kaaya, Lillian Najjuma (baakwatiddwa) ne Charity Nabukalu eyaddukidde e Bungereza, baagenda ku ffaamu ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ne bamutta. Bano, basoose kwegaana nga bagamba nti, baamuleka mu kabuga k’e Kavule ku luguudo lwa Ssemuto kyokka oluvannyuma bakkiriza nti baamutta ne bamuziika mu kaabuyonjo. Abooluganda lwa Katende okuli Junior Emmamuel Katende baggulawo omusango gw’okubula kwa Katende ku fayiro SD:02/28/04/2018 ku poliisi y’e Masuliita poliisi n’ekwata maama n’abaana be oluvannyuma Flying Squad n’eyingira mu musango.KU Lwomukaaga ekiro, baapondoose ne basalawo okubuulira poliisi amazima ne bagitegeeza nti, omulambo baaguziika mu kaabuyonjo gye baali basimidde abapangisa e Luteete era omu ku baana n’abatwalayo n'abalagawo. Nnyaabwe yabadde ensonga zonna akyazeegaana abaana ne bamukaliramu nti, ‘maama tewali ky'otomanyi yogera amazima’. Yalabye takyalina kyakukola n’ayogera. Yagambye nti, ye okutta teyakwenyigiramu butereevu wabula muwala we, Nabukalu (eyadduse) ye yamukuba omuggo ku mutwe n’akalirawo ensonga ne zibasobera. Yagambye nti, baali tebalina kyakukola okuggyako okusala amagezi omulambo okuguziika mu kaabuyonjo. Kaaya agamba nti, "twakeera ku makya ku Lwokuna maama n’ahhamba nsime ngaziye omutuli mu kaabuyonjo z’ennyumba empya ezizimbibwa mu kikomera kyaffe. Twateeka ebiti mu mmotoka bye twakozesa okutta taata. Oluvannyuma twalinnya emmotoka yaffe ey'ekika kya Noah ne maama, Nabukalu ne Najjuma ne tugenda ewa taata e Busaawa- Mmanze. Twatema amatooke mu lusuku twajja nago nga ge g'okulya nga bulijjo bwe tubadde tukola nga tugenzeeyo era ne tufumba emmere ne tulya. Wabula ku ssaawa nga 7.00 ez’emisana Nabukalu yayita maama ne bannyinaze abalala ne bayingira ennyumba nga bagamba nti y'essaawa ey’okukola omulimu. Nabukalu yakuba taata ekiti ku mutwe emabega n'agwa wansi n'atandika okufuwa omusaayi. Wabula nali nkyatikka matooke mu mmotoka ne bampita mangu okuyingira ennyumba. Nali nkyesisiggiriza ne bahhamba nsitule mangu ne tufulumya omulambo gwa taata nga tuguyisa mu ggeeti eri ku mabbali g'ennyumba ne basembeza emmotoka ne tugalamiza omulambo wansi w’omutto ogusooka . Twasiimuula ebitaba by’omusaayi ogwali mu nnyumba oluvannyuma ne tulinnya emmotoka yaffe ne tubulawo. Maama ne bannyinaze bombi baatuula ne balinnya ku mulambo olwo nze ne nvuga. Twasibira mu maka gaffe e Luteete ku ssaawa nga 9.00 ez’emisana.
KITALO Abaana bekobaanye ne nyabwe ne batta eyali omubazi w'ebitabo mu Monitor || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 9 Likes | 9 Dislikes |
| 2,330 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 7 May 2018 |
trending ugandan artists
trending ugandan movies
trending ugandan videos
trending uganda youtube
trending ugandan gospel songs
trending ugandan music 2018
trending ugandan music 2019
trending uganda inside story
trending ugandan gossip
trending ugandan songs 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda music 2018
trending ugandan entertainment news
trending ugandan gospel music
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music
trending ugandan mp3 songs
trending uganda youtube channel
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music this week
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét