
ABAKYALA abalala abalina abaana b’omugenzi ASP Muhammad Kirumira bakyesomba. Kati abaana baweze musanvu buli omu ne nnyina kw’ogatta abalala abana ab’omukyala wawaka Mariam Kirumira. Abubaker Kawooya Mulaalo, kitaawe wa Kirumira, yagambye nti mutabani we yabadde akisuubira nti ssaawa yonna baze Bamutta, wabula mu kiseera kino asinga kweraliikkirira w’agenda okuggya ssente okulabirira bazzukulu be. “Kirumira abadde alina abaana bangi naye ng’asobola bulungi okubalabirira era ng’abasomeseza mu masomero ag’ebbeeyi. Kati ne bano baakandeeterako musanvu bokka n’abalala bakyaliyo ate nga bonna kumpi bali mu myaka gye gimu” Bwatyo Muzeeyi Kawooya bwe yategeezezza. Yagambye nti, abaana bano be bamuleetedde bali wakati w’emyezi omukaaga n’emyaka ebiri wabula n’awa amagezi abakyala bonna abatannaba kuleeta baana ba mutabani we babaleete mu nnaku zino 40 nga tebannamulombera dduwa ate bwe wabaayo n’abali embuto bajje beeyanjule abamanye. Yasabye pulezidenti Museveni okumudduukirira ku baana bano okulaba nga basoma, gattako okubategekera ebintu ebikalu omunaava fiizi kubanga yali asuubira nti ajja kumuyamba amuwe obukuumi okusinziira ku bbanga ly’amaze ng’amulaajaanira nti bagenda ku mutta. ABAANA BA KIRUMIRA 1 Yasin Kalule myezi 6. 2 Baker Kawooya myezi mukaaga 6. 3 Shadia Nalukenge mwaka gumu n’ekitundu 4 Shahaz Nakawooya 1. 5 Hassan Jjungo 2. 6 Muhammad Kirumira 4. 7 Shira Nakawooya 4. Abaana b’omukyala ow’omu maka Mariam Kirumira kuliko; 8 Sophia Naggayi 10. 9 Sauda Nalukenge 6, 10 Sula Kigongo Kirumira 4 11 Shakuru Kaweesi Kirumira (myezi musanvu) era y’abadde akyasembyeyo mu mukyala ono. Buli mukyala olwamaze okwanjula omwana we ng’addayo era bajja kudda ku dduwa. Wabula tusangirizzaawo abakyalla babiri nga baleese abaana okuli, Provia Kahenda ow’e Ntebe akola mu minisitule y’ebyokwerinda era nga yagambye nti, amaze ne Kirumira ebbanga lya myaka munaana wabula okuzaala kwasooka ne kugaana. Wabula Katonda abadde yaakabawa omwana omu ayitiibwa Shahaz Nakawooya 1. Ne Saudia Karabia w’e Bwera ku booda ya Uganda ne Congo azaala Hassan Jjungo 2. OMULANGA ERI ABAGAGGA Muzeeyi Kawooya agamba nti, Kirumira abadde alina abagagga abamuyambako okumuwa ku ssente okuva lwe baamugoba ku mulimu n’abalala mikwano gye b’abadde akolagana nabo mu ngeri ey’enjawulo okuli Hajji Hamis Kigunddu [Ham] , Sofia Namutebi [Maama Fiina], Godfrey Kirumira n’abalala asabye baveeyo bamudduukirire waakiri buli omu aweerereko omwana omu asobole okulaba nga bazzukulu be basoma wano ne pulezidenti kw’anaatandikira. AMAZE WIIKI BBIRI NGA YEEKENGERA Nnamwandu Mariam Kirumira yategeezezza nti, bba amaze wiiki bbiri ng’akyuse nnyo mu nkola y’ebintu bye. Nga yatuuka n’okunnsyimiriza ne muwala waffe omukulu mu kiro ekyakeesa Olwokutaano okulaba oba amusinga obuwanvu era yakomekkerezza amukuutira kundabirira ne bato be ng’alinga atusiibula. “Afande wange feesi ye ebadde epeeruuse nnyo ennaku zino wabula nga nange sitegeera bigenda mu maaso”, Mariam bwe yategeezezza oluvannyuma lw’okukomawo mu maka gaabwe e Bulenga mu Gogonya Zooni B ku lw’e Mityana. Bwe yabuuziddwa ku by’abaana ab’ebbali, Mariam yagambye nti, takimanyi era abadde tabalabangako wabula n’agattako nti tabalinaako mutawaana kubanga bonna baana ate abatalina musango ekikulu kati kusalira wamu magezi ku nkuza yaabwe. PLEASE share & Subscribe to Trending Uganda For more Click here - https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥 #RIPKirumira, #MuhammadKirumira, #TrendingUganda
Kirumira: Abakazi be 7 baleese abaana 12 - YouTube |
| 146 Likes | 146 Dislikes |
| 43,741 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 12 Sep 2018 |
trending uganda youtube
trending ugandan songs 2018
trending ugandan celebrity news
trending ugandan hairstyles
trending ugandan videos
trending ugandan music 2019
trending uganda music 2018
trending ugandan entertainment news
trending uganda inside story
trending ugandan artists
trending ugandan music
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube channel
trending ugandan movies
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music this week
trending ugandan music 2018
trending ugandan gossip
trending ugandan gospel music
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét