
GEN. Kale Kayihura alwalidde mu kaduukulu k’amagye n’asaba bamutwale mu ddwaaliro erimu mu Kampala gy’abadde atera okujjanjabirwa amagye ne gagaana. Kino bwe kigaanyi n’asaba bakkirize omusawo we ajje mu kkomera gy’ali amujjanjabe. Okusaba kuno nakwo tekwayiseemu ne bamutegeeza nti amagye galina abasawo abalungi abasobola okumujjanjaba obulungi. Okusinziira ku nsonda e Makindye mu nkambi y’amagye Kayihura gye yaggalirwa, obulwadde bwamukutte ku Lwokutaano, nga kyasooka kuba kifuba ne ssenyiga oluvannyuma n’afuna okulumizibwa mu mubiri ne mu lubuto (Infections). Mu kaseera katono, yali atandise okusesema nga n’okulya takyalya bulungi. Omubiri gwanafuwa n’okwogera ng’ebigambo abiggya wala okubifulumya. Yasaba akulira enkambi atwalibwe mu ddwaaliro erimu mu Kampala afune obujjanjabi. Kigambibwa nti, akulira enkambi yategeeza bakama be ne bagaana. Kayihura kwe kusaba waakiri bakkirize omusawo we egende mu nkambi y’amagye e Makindye amujjanjabe era naye ne bamugaana. Baamutegeeza nti, amagye galina abasawo abakugu. “Omusajja embeera yabadde erabika nga mbi nnyo naye baamugaanyi okugenda ajjanjabibwe.” ensonda bwe zaategeezezza. Baamugambye nti, abasawo abasinga obukugu mu Uganda bali mu magye era alina okubeesiga kubanga tewali bulwadde bwe balemwa. Baamutwalidde abasawo okuva e Bombo bamukoleko n’omulala alina okumulabirira okutuusa lw’anaawona. Omwogezi w’amagye Brig. Richard Karemire bwe yaatuukiriddwa yagambye nti, Kayihura mulamu nnyo, okuva lwe yagenda e Makindye tafunangako bulwadde bwonna era bamulabirira bulungi. Karemire yagasseeko nti, lwe banaasalawo Kayihura okumuggya mu nkambi y’amagye terunnatuuka wabula bajja kutegeeza eggwanga ku binaaba biddirira. Kayihura okuva lwe yatwalibwa e Makindye, baali baamukkiriza okulaba abantu ba biti bisatu, omusawo we, bannamateeka n’aba famire ye. Omusawo abadde amwekebejja buli kiseera era ng’agendayo ne banyumya kyokka bwe yalwadde, baamulemesezza okumulaba. For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list... 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥
Kayihura alwalidde mu kaduukulu k’amagye e Makindye, baganye okumutwala mu dwaliro || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 14 Likes | 14 Dislikes |
| 2,624 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 6 Jul 2018 |
trending ugandan celebrity news
trending ugandan hairstyles
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube channel
trending ugandan music
trending uganda inside story
trending ugandan movies
trending ugandan music this week
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan entertainment news
trending uganda youtube
trending ugandan artists
trending ugandan music 2019
trending uganda music 2018
trending ugandan gossip
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan videos
trending ugandan gospel music
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét