
For more click here - https://www.youtube.com/playlist?list... Gen. Kale Kayihura alumirizza abamu ku banene mu Gavumenti nti, be baamusibisa olwa bwino gw’abalinako nga kati bamunyigiriza bamusirise. Kayihura ng’ayita mu bannamateeka be aba Kampala Associated Advocates (KAA), yalumirizza abanene okuli Lt. Gen. Henry Tumukunde ne Col. Frank Kaka Bagyenda owa ISO nti bano bazze beeyambisa ebifo byabwe okumulwanyisa. OLUTALO LWA TUMUKUNDE NE KAYIHURA Gen. Kayihura we yabeerera omuluhhamya w’eyobufuzi mu ggye lya UPDF, yakulembera ekibinja ky’abajaasi n’akwata Tumukunde n’amuggalira mu kifo ekimu e Kololo, Tumukunde kye yateeka ku Kayihura nti, yakikola mu ngeri emutyoboola olw’akakuku kaabwe ke baalina okuviira ddala mu nsiko. Tumukunde yasibwa okuva mu 2005 okutuuka mu 2013 lwe yasonyiyibwa kyokka ng’alumiriza nti ebyamutuukako Kayihura yabirinamu omukono ogw’amaanyi. Ku ludda lwa Kayihura, alumiriza nti Tumukunde bwe yasonyiyibwa n’ayingira mu Gavumenti, yakozesa ekifo kye ekya minisita w’obutebenkevu okumulemesa emirimu n’okumuggulako fayiro ku misango egitaliiwo. Tumukunde ekiseera kye yamala mu minisitule y’ebyobutebenkevu, yakyogera lunye nti, Kayihura emirimu gimulemye ng’akyesigamya ku byabangawo ng’okutta abakazi e Wakiso n’e Ntebe, abeebijambiya n’obubbi obususse byonna bye yateekanga ku kitongole kya poliisi nti kiraga bunabu bw’agikulembera. Wano Kayihura w’asinziira okulumiriza nti, Tumukunde yeeyambisa nnyo ekifo kye okumutema enteega naddala Tumukunde bwe yakitegeera nti Kayihura naye amulinako bwino era amunoonyerezaako ku nkola y’emirimu gye. EMPALANA YA KAYIHURA NE COL. KAKA Kayihura alumiriza Kaka nti yeerimbika mu kitongole kya ISO ky’akulira n’atandika okumunoonyerezaako ku bintu ebitaliiyo kyokka nga kino Kaka akikola kulemesa Kayihura kunoonyereza ku gimu ku mivuyo mu kitongole kya ISO wansi wa Kaka. Kayihura yakwata mutabani wa Kaka nga kigambibwa nti omuvubuka ono yatta muganziwe ayitibwa Enid Twijukye omulambo gwe n’agusuula e Mukono. Kaka yagezaako okutuukirira mukulu munne amuyambe ku misango guno guyimirire kyokka Kayihura n’ategeeza nti ye agoberera mateeka era omuvubuka n’okutuusa kati ali Luzira. Kayihura agamba nti ensonga eno n’endala nnyingi zaaletawo embiranye wakati we ne Kaka era nti Kaka bwe yategeera nti Kayihura si mwetegefu kumuyamba, kwe kusalawo okukozesa ekitongole kya ISO okulwanyisa poliisi, okulaba nga Kayihura alemererwa. EBY’OKUFA KW’ABAZUNGU Kigambibwa nti Gen. Kayihura n’akulira ekitongole kya ISO Col. Frank Bagyenda Kaka, baafunamu obutakwatagana nga kino kyajjawo oluvannyuma lwa poliisi eyali ekulirwa Kayihura okulaga nti Omuzungu munnansi wa Finland Trasvuori Tuomas Juha Petteri 42, eyafiira mu wooteeri a Pearl of Africa yalina ebbaluwa emuyita okujja mu Uganda nga yaliko omukono gwa Col. Kaka kyokka ye n’akiwakanya ng’agamba nti ebbaluwa eyogerwako yali njingirire. Kyokka wadde nga Kaka bw’atyo bwe yategeeza, Kayihura yalagira basajja be mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango okugya sitatimenti ku Col. Kaka annyonnyole ku by’ebbaluwa n’abamu ku bakozi be abaali bakwatiddwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe. Kyokka Kaka wadde yayitibwa emirundi mingi ku nsonga eno yennyonnyoleko ku poliisi, yeerema era Kayihura n’alumiriza nti Kaka okugaana okunnyonnyola ku nsonga zino mu butongole alina ky’akweka. Ensonda oluvannyuma zaalaga nti, eby’ebbaluwa okwali omukono gwa Col. Kaka eyasangibwa n’Omuzungu eyafiira mu wooteeri byali bijingiriddwa n’ekigendererwa eky’okukwata Kaka, kyokka ‘minsoni’ n’egaana. Obutakkaanya wakati wa Kaka ne Kayihura era bweragira ku lutalo olwaliwo wakati wa poliisi ne ISO ku ky’okukwata omukazi Omunyarwanda ayitibwa Muhoza Mbabazi ow’e Lungujja ebitongole byombi buli kimu bwe kyagezaako okumukwata ekyavaamu olutalo kakuzzi olwalimu n’amasasi. Omukazi ono kigambibwa nti alina bingi by’amanyi ku kufa kwa Felix Kaweesi era poliisi yagezaako okumukwata kyokka aba ISO ne bagiremesa nga bagamba nti, baali bagudde mu lukwe olw’okumutemula afe n’ebyama by’amanyi ku nfa ya Kaweesi. Wabula oluvannyuma eggye erikuuma pulezidenti lyayingira mu nsonga zino ne ligoba aba poliisi n’abaserikale ba ISO mu nnyumba Muhoza mwe yasibirwa abaserikale b’eggye erikuuma pulezidenti ne beddeza obuvunaanyizibwa obw’okumukuuma ne leero.
Kayihura aleese bwiino ku bamulwanyisa mu Gavumenti || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 13 Likes | 13 Dislikes |
| 3,808 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 21 Jul 2018 |
trending uganda youtube channel
trending ugandan entertainment news
trending uganda inside story
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan gossip
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music 2018
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music this week
trending uganda music 2018
trending ugandan gospel songs
trending ugandan movies
trending ugandan music
trending ugandan videos
trending ugandan gospel music
trending ugandan artists
trending ugandan celebrity news
trending uganda youtube
trending ugandan music 2019
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét