
Amagye gakutte Enock Buntu musajja wa Kayihura omulala: Ebizibiti ebyetaagisa ku misango egivunaanibwa Kayihura bikukunuddwa mu siiringi AMAGYE okuzinda amaka ga musajja wa Gen. Kale Kayihura e Mbalwa-Namugongo gaamaze kutemezebwako nti ekwekeddwaayo ebizibiti ebyetaagibwa ennyo okuggula ku Kayihura emisango. Kyategeezeddwa nti amaka gano gaayaziddwa mu bisenge n’ennyumba entono ez’abakozi eziri mu kikomera. Kyokka ebizibiti byasoose kubabula okutuusa lwe baalinnye waggulu mu siiringi gye baabisanze. Enoch Buntu, abeera e Mbawa -Namugongo era omuwanika w’abavubuka ba NRM mu ggwanga, akuumibwa mu kifo ekyekusifu oluvannyuma lw’amagye nga gali ne bambega ba ISO ne CMI okumukwata nga July 9, 2018. Buntu abadde ku lusegere lwa Kayihura era nga y’asasula n’okutambuza ensimbi mu bavubuka mu ggwanga lyonna. ENGERI BUNTU GYE YAKWATIDDWA Ensonda zaategeezezza nti abaserikale baalumbye amaka ga Buntu ku ssaawa 7:00 mu ttumbi ne bageetooloola. Ku ssaawa 11 nga busaasaana, baalagidde omukuumi okuggulawo era olwalabye nga kuliko abaamagye n’abaggulira. Baakutte Buntu ne bamulagira abawe essimu ze, kyokka n’asooka agaana. Oluvannyuma yakkirizza n’abawa essimu. Oluvannyuma lw’okufuuza ebisenge byonna, baalinnye waggulu mu siiringi. Kigambibwa nti baliko ebintu bye baggye mu siiringi. Kyategeezeddwa nti ebintu ebyabadde mu bitereke, bizibiti ebyetaagisa okunyweza obujulizi ku misango egivunaanibwa Kayihura. Buntu yassiddwa mu mmotoka Toyota Ipsum ne bamutwala ng’ebintu ebigambibwa okuba ebizibiti byassiddwa mu bbuutu ne bagenda nabyo. Famire yeemulugunya nti tennamanya muntu waabwe gy’ali nga buli we bamuteebereza okuba bagamba batuuseeyo ne babategeeza nga bwe batamanyi gy’ali. Wabula oluvannyuma, ensonda mu beebyokwerinda zaategeezezza nti akuumirwa ku kitebe kya CMI e Mbuya. For more #BINSANGAWANO click here https://www.youtube.com/playlist?list... #Kayihura, #EnockBuntu,#Museveni, #bebecool,#Bobiwine, #Trending, #TrendingUganda, #Gossip, #Wolokoso, #Olugambo, #News, #Politics, #Uganda, #Kampala
KAWEDEMU - Engeri Amagye gye gakutte Enock Buntu musajja wa Kayihura n'Ebizibiti || BINSANGAWANO - YouTube |
| 27 Likes | 27 Dislikes |
| 7,386 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 7 Aug 2018 |
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music
trending ugandan artists
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music this week
trending ugandan movies
trending ugandan celebrity news
trending uganda youtube channel
trending ugandan songs 2018
trending uganda youtube
trending uganda inside story
trending ugandan videos
trending ugandan hairstyles
trending uganda music 2018
trending ugandan gospel songs
trending ugandan gossip
trending ugandan gospel music
trending ugandan music 2019
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét