
KABAKA asibuudde omugenyi ow’enjawulo Asantehene Otumfuo Nana Osei Tutu II nga amaze okujaguza amatikkira Jubireewo avudde mu ggwanga olw’eggulo lwa leero oluvanyuma lw’okwetaba ku bikujjuko by’okujjaguza emyaka 25 bukya Kabaka Mutebi II atikkirwa e Nnaggalabi. Tutu II nga tanagenda ku kisaawe e Ntebe asoose Bulange- Mmengo, Obwakabaka webutegese omukolo ogumusibula nga wano ayanjuliddwa Baminisita b’Obwakabaka n’Abataka saako abakungu abalala era wano Kabaka wamukwasiziriza ebimu ku birabo byamutonedde okuli ekifananyi okuli maapu ya Buganda, ebitabo okuli ebinyonyola ebyafaayo bya Kabaka Mwanga II ate n’ekirimu kalonda yenna akwata ku by’obulambuzi mu Bwakabaka. Oluvanyuma ebifananyi bikubiddwa olwo Katikkiro Charles Peter Mayiga nakulembera ekibinja ky’Obwakabaka okuwerekera Asantehene ku kisaawe e Ntebe ng’eno gyalinyidde e Nnyonyi etandise olugendo lw’okumuzaayo e Ghana. Asantehene yajjira mu nnyonyi y’Obwakabaka eyitibwa Platinum ng’ono yasoose kwekonako Kenya nga gyagenda okuva enkya addeyo e Kumasi- Ghana gyalamulira. Ku lw’Obwakabaka Katikkiro Mayiga yebazizza Tutu II n’ekibinja kye olw’okusalawo okujja mu Buganda era nategeza nti enkolagana y’Obwakabaka bwombi yakusigala ng’etinta. 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥 For more Click here - https://www.youtube.com/playlist?list...
KABAKA asibuudde Asantehene nga amaze okujaguza amatikkira Jubireewo - YouTube |
| 27 Likes | 27 Dislikes |
| 3,382 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 2 Aug 2018 |
trending ugandan music 2018
trending uganda inside story
trending ugandan gospel songs
trending ugandan movies
trending ugandan songs 2018
trending ugandan videos
trending ugandan gospel music
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan entertainment news
trending uganda youtube
trending ugandan music 2019
trending ugandan gossip
trending ugandan celebrity news
trending uganda youtube channel
trending uganda music 2018
trending ugandan celebrity gossip
trending ugandan music this week
trending ugandan artists
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét