
Ensonga lwaki ISO yakutte omugagga wa Moviti n'emuggalira Ekitongole ekikessi ekya ISO kikutte omugagga w’ebizigo bya Movit okubaako bye kimubuuza ku bigambibwa nti waliwo abantu abaakwatibwa mu buzzi bw’emisango ne bakimuteekako nti ye yabapangisa. Twatuukiridde akulira ISO, Col. Frank Bagyenda Kaka, n’akakasa nti kituufu nnannyini Movit, Simpson Birungi bamulina mu kaduukulu kaabwe. N’agamba nti baliko obujulizi bwe bakung’aanya n’okwongera okwetegereza oba nga ddala aliko abamenyi b’amateeka be yapangisa. Ensonda zaategeezezza nti okukwatibwa kwa Birungi kiddiridde okukwata abagambibwa okutta Stephen Asaba eyali maneja we ne bategeeza nti omugagga ye yabawa omulimu ogwo. Ensonda zaategeezezza nti omu ku baakwatibwa (amannya galekeddwa) bwe yali e Luzira yawandiika akabaluwa n’akawa omu ku bakulira ekkomera bakawe omugagga amuggyeyo n’okubaako ensimbi z’awa famire y’omusibe. Omusajja omulala agambibwa nti yali mu butemu buno, kyokka nga yayimbulwa ku kakalu ka kkooti naye yayogera ekintu kye kimu. Wano poliisi ne ISO baatandika okubuuliriza. Kyategeezeddwa nti wiiki ewedde baakutte owa Movit bwe yabadde ku kisaawe e Ntebe ne balowooza nti waliwo eyabadde amubbiddeko nti baagala kumukwata ng’agezaako kuva mu ggwanga. ISO yamukutte n’emukwasa poliisi n’akola sitatimenti. Asaba yattibwa omulambo gwe ne gusuulibwa ku kkubo e Nakawuka mu Wakiso. Ensonda zaategeezezza nti bwe baabadde bakyamubuuza oba alina ky’amanyi ku kutemulwa kwa Asaba ate aba ISO ne basaba poliisi bamubuuze oba alina ky’amanyi ku kwokya essomero lya Budo Junior omwafiira abaana 20 mu April 2008. Ensonda zaategeezezza nti Birungi baamutadde, kyokka ku Lwokutaano ne baddamu okumukwata. Muka Movit, Sheila Birungi yategeezezza Bukedde nti kituufu omwami we ali mu mikono gya byakwerinda kyokka n’agamba nti byonna bipangiddwa kwonoona linnya lye kubanga tekuli kituufu. Abali emabega w’okukwata Birungi baagala kumulyako nsimbi. N’agattako nti abantu abenjawulo bamaze ekiseera nga batwalira bba ebiwandiiko n’obutambi okuli omusajja eyeeyita Moses Lumu n’abalala abawulikika nga bamulumiriza nti yabagulirira okubaako misoni ze bamukolera. Era abantu bano gye bikkira nga basaba ssente. ENGERI GYE BAAYINGIZA MOVIT MU BY’E BUDO Kigambibwa nti abasajja babiri, Yusuf Kiggundu, Ivan Musimenta Muleefu baliko ebiwandiiko n’akatambi bye baatwala mu b’ebyokwerinda nga bagamba nti Movit alina ky’amanyi ku by’okwokya Buddo. Akatambi n’ebiwandiiko kigambibwa nti byakolebwa Moses Lumu eyeeyogerako ng’omu ku baayokya Budo. Bonsatule baakwatibwa bali mu mikono gya ISO. Kyokka bambega baategeezezza Bukedde nti wadde Movit bamulina kyokka fayiro ye tennaggwa, ekitegeeza tannabaako musango gw’aggulwako. Baagambye nti kye bakolerako yakiyise kunoonyereza kwe bakyetaaga okwetegereza (intelligence), kuno kwe bajja okusinziira okugenda mu maaso n’omusango oba okuguleka. Baagambye nti bakyalina okubaako bye babuuza abasajja abana abaakwatibwa ku by’okwokya Budo abagambibwa nti omugagga ye yabassaamu ssente. “Tujja kukozesa obukugu okubuuza abasajja bano, n’okukakasa oba bye boogera bituufu tulabe oba birina akakwate konna ku Movit”, omu ku bambega bwe yagambye. Muka Movit yategeezezza Bukedde nti Lumu ayogerwako bamumanyi bulungi kyokka bamumanyidde mu bya ttaka. Era olumu yabaguzaako ettaka mu Lwera ku lw’e Masaka ne bamusasulako ku ssente obukadde 20. Kyokka oluvannyuma ettaka baalireka nga bazudde nti liri mu lutobazzi, ekyanyiiza ennyo Lumu era nga yandiba ensonga lwaki abayingiza mu by’e Buddo.
ISO ekutte Omugagga w’ebizigo bya Movit lwa kwokya baana ba Budo Junior School || AGOMUMPAPULA - YouTube |
| 59 Likes | 59 Dislikes |
| 10,519 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 12 Jun 2018 |
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda youtube
trending uganda music 2018
trending ugandan music 2018
trending ugandan hairstyles
trending ugandan music 2019
trending ugandan gossip
trending ugandan entertainment news
trending ugandan music
trending ugandan celebrity news
trending ugandan gospel music
trending ugandan songs 2018
trending ugandan movies
trending uganda inside story
trending ugandan mp3 songs
trending uganda youtube channel
trending ugandan music this week
trending ugandan videos
trending ugandan artists
trending ugandan gospel songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét