
BAMBEGA bongedde okukunya Benz nga bamubuuza enkolagana ye ne SSP Nixon Agasirwe. Kigambibwa nti mu kumulinnya akagere nga bagenda okumukwata kyazuulwa nga Benz yali agenda nnyo mu maka ga Agasirwe e Mbalwa Namugongo. “Komanda Benz” nga banne bwe batera okumuyita yakwatiddwa abaserikale b’ekitongole kya ISO nga bagamba nti alina ky’amanyi ku kutemula Andrew Felix Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi. Baakwatiddeko n’abantu abalala basatu okuli n’agambibwa nti ye yavuga pikipiki abatemu kwe baatambulira. Benz ayogerwako ng’omusajja atali mwangu era akozesa amannya agawerako omuli Ashiraf Mushabe, Oris Tushabe ne Christ Tushabe ne Christ Tumushabe. We baamukwatidde yabadde akozesa lya Kuraish Tushabe Munyangondo. Yasooka mu ADF wabula bwe yaweebwa ekisonyiwo n’aweebwa n’emmundu okumukuuma, ate nti n’atandika okugikozesa okuteega abantu okubba era emisango bwe gyamusinga n’asindikibwa e Luzira gye yavudde mu 2014 nti n’atandika okukola ne poliisi. Ensonda mu ISO zaategeezezza nti Benz baamubuuzizza nnyo ku ngeri gye yakwataganamu ne Agasirwe eyali akulira ekitongole kya poliisi ekya Special Operations Unit kyokka nga kati ali mu kuttunka n’emisango gye baamuggulako mu kkooti y’amagye. Aba ISO era banoonyereza ne ku ngeri gy’abadde akolagana ne boofiisa abalala n’emirimu gye babadde bamutuma. Abaserikale ba ISO bagamba nti omusajja ono abadde yayingizibwa mu poliisi mu ngeri ey’ekimpatiira era nga baamuteeka ku ddaala lya Police Constable ng’akola mu bikwekweto eby’amaanyi. Bamukunyizza ku ttemu lya Joan Kagezi ne Maj. Kiggundu Bamubuuzizza ne ku ttemu eddala lye bamuteebereza okwenyigiramu okuli okutta Joan Kagezi ne Maj. Mohammed Kiggundu. Ensonda zaategeezezza nti fayiro ku bye bakung’aanyizza ku Benz ne banne be baamukutte nabo yaweerezeddwa ewa Dayirekita wa ISO Col. Kaka Bagyenda agiyitemu era oluvannyuma asalewo ekiddako. Wabula muganda wa Benz ayitibwa Deus Mwebaze omutuuze w’e Kasokoso nga muvuzi wa bodaboda agamba nti omuntu waabwe azze alondoolwa okuva lwe yayimbulwa e Luzira. Yagambye nti bwe yawulidde nti bamutaddeko eby’okutta Kaweesi yakyewuunyizza kubanga okuva lwe yava mu kkomera abadde mukkakkamu nnyo, nga teyeeriraanya bamenyi b’amateeka. Wabula ISO eteebereza nti Benz y’omu ku bantu abaakubira ddala Kaweesi amasasi agaamutta nga March 17, 2017 ne gatwaliramu n’omukuumi we ne ddereeva we e Kulambiro.
ISO ekunyizza KOMANDA Benz ku nkolagana ne Nixon Agasirwe ku kutemula Kaweesi || BINSANGAWANO - YouTube |
| 24 Likes | 24 Dislikes |
| 7,006 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 20 Mar 2018 |
trending ugandan gospel music
trending ugandan hairstyles
trending uganda music 2018
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan music this week
trending uganda inside story
trending ugandan music
trending ugandan movies
trending ugandan music 2019
trending ugandan songs 2018
trending ugandan music 2018
trending uganda youtube
trending ugandan artists
trending ugandan gossip
trending ugandan celebrity news
trending ugandan entertainment news
trending ugandan gospel songs
trending uganda youtube channel
trending ugandan videos
trending ugandan celebrity gossip
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét