
Faaza Edward Muwanga, bw’abadde asoma Mmisa mu Eklezia y’e Ntinda awazziddwa Faaza Robert Ssemogerere, asabye Abakristu okubeera abakkakkamu wakati mu kusoomoozebwa okuliwo olw’ebyo ebyafulumye mu mawulire ku Faaza waabwe. “Nkimanyi bangi ku mmwe ebifulumye mu mpapula z’amawulire mubirabye era ne mubisoma. Siri mwogezi wa ssaza sisobola kubyogerako kisingawo. Kye mbasaba kiri kimu kyokka, mwongere okutusabira wamu n’Eklezia yaffe. Kati essaala y’erina okukola so si kintu kirala kyonna kuba kuno kusoomoozebwa kwa maanyi kwe tulimu,” bwatyo Fr. Muwanga bwe yategeezezza eggulo. Embeera ey’okwekuba obwama n’okwewuunaganya mu Bakristu teyakomye ku Eklezia ya St. Lwanga e Ntinda, Faaza Ssemogerere w’ali, wabula ne ku St. Andrew-Kigoowa, gye yava. Faaza Joseph Mukiibi, eyavudde ku kitebe kya Radio Maria ekikulu ye yabadde omutambizi omukulu. Wakati mu kusoma mmisa, Faaza Mukiibi yakubirizza Abakristu okwewala okukemebwa sitaani. Yategeezezza nti, kumpi buli muntu yali akemeddwaako n’akola ebitasaana mu maaso ga Katonda, nti naye bw’okanya okusaba, kikuyamba okukutula enjegere z’okukemebwa. Faaza Mukiibi ensonga y’okukemebwa yagitaddeko nnyo essira, ng’alinga alaga nti waabaddewo eyabadde akemeddwa. Yagenze mu maaso n’asaba atakemebwangako awanike emikono waggulu, abantu buli omu n’atandika okutunuulira munne ng’emikono gibalemye okuwanika. Bakira buli awaabadde abakkiriza ababiri, oba basatu, emboozi ya Faaza Ssemogerere okuzaala mu muwala atanneetuuka ye yabadde ku mimwa gyabwe. “Singa nze Joseph nkwatibwa nga mmenya ennyumba y’omuntu, ne nziba era ne banjogerako nga bwendi omubbi, bwe ntuuka ku katuuti okubuulira enjiri musobola okuddamu ne mu nzikiririzaamu nga mbuulira ku katuuti kano?” Fr. Mukiibi bwe yabuuzizza Abakristu. Oluvannyuma yabasabye bulijjo okwaniriza mwoyo mutukuvu mu buli kye bakola, ku mirimu, mu hhendo mu kwogera ne bwe kiba kituuse mu maka gaabwe nga bali mu bisenge. Omuwala Maureen Kisakye, ye yalumirizza Faaza Ssemogerere okumufunyisa olubuto n’atamuwa buyambi. For more click here - https://www.youtube.com/playlist?list...
Faaza Robert Ssemogerere eyazadde mu muwala aleeseewo akasattiro mu Klezia || BINSANGAWANO - YouTube |
| 5 Likes | 5 Dislikes |
| 1,835 views views | 85,279 followers |
| News & Politics | Upload TimePublished on 14 May 2018 |
trending ugandan hairstyles
trending uganda youtube channel
trending ugandan celebrity gossip
trending uganda youtube
trending ugandan gossip
trending ugandan music 2018
trending ugandan music 2019
trending ugandan videos
trending ugandan mp3 songs
trending ugandan songs 2018
trending ugandan movies
trending ugandan artists
trending ugandan music this week
trending uganda inside story
trending ugandan entertainment news
trending uganda music 2018
trending ugandan celebrity news
trending ugandan music
trending ugandan gospel music
trending ugandan gospel songs
Không có nhận xét nào:
Đăng nhận xét